bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Haggai 1
Haggai 1
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 2 →
1
Mu mwaka ogwokubiri ogwa Daliyo kabaka w'e Buperusi, mu mwezi ogw'omukaaga, ku lunaku olw'omwezi olwolubereberye, ekigambo kya Mukama ne kijja okuyita mu Kaggayi nnabbi, eri Zerubbaberi mutabani wa Seyalutyeri owessaza lya Yuda n'eri Yosuwa mutabani wa Yekozadaaki kabona asinga obukulu nga kyogera nti,
2
Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti, “Abantu bano boogera nti ekiseera tekinnatuuka okuzimba ennyumba ya Mukama.”
3
Awo ekigambo kya Mukama ne kijja eri nnabbi Kaggayi nga kyogera nti,
4
“Kye kiseera mmwe bennyini okubeera mu nnyumba zammwe ezibikiddwako, ennyumba eno n'ebeererawo mu matongo?”
5
Kale nno bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti, “ Mulowooze amakubo gammwe.
6
Mwasiga bingi, ne mukungula bitono; mulya naye temukkuta; munywa naye temukkuta bye munywa; mwambala naye tewali abuguma; n'oyo afuna empeera agifuna okugiteeka mu nsawo eyawummukawummuka.”
7
Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti, “Mulowooze amakubo gammwe.
8
Mulinnye ku lusozi, muleete emiti, muzimbe ennyumba; nange ndigisanyukira, era ndigulumizibwa,” bw'ayogera Mukama.
9
“Mwasuubira bingi, kale laba ne biba bitono; era bwe mwabireeta eka, ne mbifuumuula. Lwaki?” Bw'ayogera Mukama w'eggye. “Ogw'ennyumba yange ebeererawo mu matongo, nammwe muddukira buli muntu mu nnyumba ye.
10
Kale ku lwammwe eggulu kyerivudde liziyizibwa okuleeta omusulo, n'ettaka liziyizibwa okubala ebibala byalyo.
11
Ne mpita ekyanda okujja ku nsi, ne ku nsozi, ne ku ŋŋaano, ne ku mwenge ne ku mafuta, ne ku ebyo ettaka bye libala, ne ku bantu, ne ku nsolo ne ku mirimu gyonna egy'engalo.”
12
Awo Zerubbaberi mutabani wa Seyalutyeri ne Yoswa mutabani wa Yekozadaaki kabona asinga obukulu wamu n'abantu bonna abafisseewo, ne bagondera eddoboozi lya Mukama Katonda waabwe n'ebigambo bya Kaggayi nnabbi nga Mukama Katonda waabwe bwe yamutuma; abantu ne batya mu maaso ga Mukama.
13
Awo Kaggayi omubaka wa Mukama n'agamba abantu ng'asinziira mu bubaka bwa Mukama nti, “ Nze ndi wamu nammwe,” bw'ayogera Mukama.
14
Awo Mukama n'akubiriza omwoyo gwa Zerubbaberi mutabani wa Seyalutyeri owessaza lya Yuda, n'omwoyo gwa Yoswa mutabani wa Yekozadaaki kabona asinga obukulu, n'omwoyo gw'abantu bonna abaali bafisseewo, ne bajja ne bakola omulimu mu nnyumba ya Mukama w'eggye Katonda waabwe,
15
Ku lunaku olw'omwezi olw'abiri mw'ennya, mu mwezi ogw'omukaaga mu mwaka ogwokubiri, ogwa Daliyo kabaka.
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 2 →
All chapters:
1
2