bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Jude 1
Jude 1
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Jump to:
Chapter 1
1
Yuda, omuddu wa Yesu Kristo, era muganda wa Yakobo, eri abo abayitibwa, abaagalwa mu Katonda Kitaffe, era abakuumirwa Yesu Kristo,
2
okusaasira n'emirembe n'okwagala byongerwengako gye muli.
3
Abaagalwa, bwe nnali nga nfuba okubawandiikira ku bulokozi bwaffe fenna, nnalaba nga nteekwa okubawandiikira nga mbakubiriza okulwanirira ennyo okukkiriza, abatukuvu kwe baaweebwa omulundi ogumu.
4
Kubanga waliwo abantu abayingira nga basensera abaawandiikirwa edda omusango guno, abatatya Katonda, abakyusa ekisa kya Katonda waffe, ne basinziira mu kyo okukola obukaba, ne beegaana Omukulu waffe omu yekka era Mukama waffe, Yesu Kristo.
5
Naye njagala okubajjukiza, newakubadde nga mwali mwabitegezebwa dda, nga Mukama, bwe yamala okulokola abantu mu nsi y'e Misiri, oluvannyuma n'azikiriza abatakkiriza.
6
Ne bamalayika abataakuuma bukulu bwabwe bo, naye ne baleka ekifo kyabwe, ya basiba n'enjegere ez'ennaku zonna, n'abassa eri ekizikiza ekikutte gye balindiririra okusalirwa omusango ku lunaku olukulu.
7
Nga Sodomu ne Ggomola n'ebibuga ebyali bibiriraanye, nabyo bwe byayendera ddala okwenkana nabo ne bikolanga eby'okwegomba okw'obuwemu, byafuuka kyakulabirako nga bibonerezebwa mu muliro ogutaggwaawo.
8
Mu ngeri y'emu abantu abo mu kulootaloota kwabwe boonoona omubiri gwabwe, bagaana obuyinza ne bavvoola ne bamalayika ab'ekitiibwa.
9
Olaba ne Mikaeri, malayika omukulu, bwe yali akaayana ne Setaani ku mubiri gwa Musa, teyayaŋŋaanga ku muvuma, naye yagamba nti, “ Mukama akunenye.”
10
Naye abo bye byonna bye batategeera babivvoola, era ebyo bye bamanyi mu ngeri y'obutonde, okufaanana ng'ensolo, bibaleetedde okuzikirira.
11
Zibasanze! kubanga batambulira mu kkubo lya Kayini, olw'okwagala okufuna bakoze nga Balamu, bakuzikirira mu bujeemu nga Koola.
12
Abo baba nga amabala amabi ku mbaga zammwe ez'okwagalana, nga tebatya kwerigomba, nga beefaako bokka, nga bali ng'ebire ebitaliimu mazzi ebitwalibwa empewo; emiti egiwaatula, egitalina bibala, egyafa emirundi ebiri, egyakuuliibwa n'emirandira;
13
bali ng'amayengo ag'ennyanja esiikuuse, bye bakola biswaza. Era balinga emmunyeenye eziva mu kkubo lyazo, eziterekeddwa ekizikiza ekikutte ennyo emirembe n'emirembe.
14
Era abo Enoka, eyaliwo ku mulembe ogw'omusanvu okuva ku Adamu, yaboogerako nti, “Laba, Mukama yajja n'abatukuvu be kakadde (1,000,000),
15
okusalira bonna omusango, n'okusinza omusango bonna abatatya Katonda olw'ebikolwa byabwe byonna bye bakoledde mu butatya Katonda, n'olw'ebigambo byabwe byonna ebikakanyavu aboonoonyi abatatya Katonda bye bamwogeddeko.”
16
Abo be beemulugunya, be banyiiga, abatambula ng'okwegomba kwabwe bwe kuli, era aboogerera waggulu ebigambo eby'okwewaana, era olaba bassaamu abantu ekitiibwa nga balina kye babagalako.
17
Naye mmwe, abaagalwa, mujjukirenga ebigambo ebyayogerwa edda abatume ba Mukama waffe Yesu Kristo;
18
bwe baabagamba nti, “Mu biro eby'oluvannyuma walibaawo abantu abalibasekerera, nga batambulira mw'ebyo bye beegomba, era nga tebatya Katonda.”
19
Abo be bavako okwawula, abantu ab'omubiri, abatalina Mwoyo.
20
Naye mmwe, abaagalwa, bwe mwezimba ku kukkiriza kwammwe okutukuvu ennyo, nga musaba mu Mwoyo Omutukuvu,
21
mwekuumirenga mu kwagala kwa Katonda, nga mulindirira okusaasira kwa Mukama waffe Yesu Kristo olw'obulamu obutaggwaawo.
22
Ababuusabuusa mubasaasirenga;
23
era abalala mubalokolenga, nga mubakwakkula okubaggya mu muliro; era abalala mubasaasirenga mu kutya; nga mukyawa ekyambalo omubiri kye gwasiiga amabala.
24
Naye oyo ayinza okubakuuma obuteesittala, n'okubayimiriza mu maaso g'ekitiibwa kye nga temuliiko bulema mu kujaguza,
25
Katonda omu yekka Omulokozi waffe, ku bwa Yesu Kristo Mukama waffe, aweebwenga ekitiibwa, obukulu, amaanyi n'obuyinza, okuva mu mirembe gyonna egyayita, ne kaakano era ne mu emirembe egitaliggwaawo. Amiina.
Jump to:
Chapter 1
All chapters:
1