bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Obadiah 1
Obadiah 1
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Jump to:
Chapter 1
1
Okwolesebwa kwa Obadiya. Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda ebikwata ku Edomu nti, Tuwulidde ebigambo ebiva eri Mukama, n'omubaka atumiddwa eri amawanga nga agamba nti, “ Musituke! Tusituke tumulwanyise mu lutalo!”
2
Laba, ndikufuula eggwanga ettono, erinyoomebwa ennyo mu mawanga.
3
Amalala ag'omu mutima gwo gakulimbye, ggwe abeera mu mpampagama ez'olwazi, ggwe abeera eyo waggulu; ayogera mu mutima gwe nti, “Ani alimpanulayo eno n'anzisa wansi?”
4
Newakubadde ng'otuumbiira waggulu ng'empungu era ekisu kyo ne kiba ng'ekiri wakati mu munnyeenye, n'eyo ndikuwanulayo ne nkussa wansi, bw'ayogera Mukama.
5
Singa ababbi bajja gyoli, singa abanyazi bajja ekiro, nga wandibadde ozikirizibbwa! Tebandibbyeko ebyo ebibamala? Singa abakuŋŋanya ezabbibu bajja gyoli, tebandireseeko ezimu?
6
Ebya Esawu nga binyagiddwa! Eby'obugagga bwe nga bivumbuddwa!
7
Abantu bonna abaakolagananga naawe bakugobedde ku nsalo; abo bemukkanya nabo bakuwangudde; mikwano gyo beewesiga bakutegedde akatego, tewali kutegeragana.
8
Ku lunaku luli, bw'ayogera Mukama sigenda kuzikiriza abagezigezi okuva mu Edomu, n'okutegeera okuva mu lusozi lwa Esawu?
9
Era abasajja bo abazira, bagenda kwewuunya, ggwe Temani, era abantu bonna okuva ku lusozi lwa Esawu bagenda kuggibwawo ne kitala.
10
Olw'obukambwe obwakolebwa ku muganda wo Yakobo, olijjula ensonyi era oliggibwawo emirembe gyonna.
11
Ku lunaku lwe wayimirira ku mabbali, ku lunnaku abayise lwe baanyaga ebintu bye, ne bannamawanga ne baayingira mu nzigi ze eza wankaaki, ne bakuba akalulu ku Yerusaalemi, naawe wafaanana ng'omu ku abo.
12
Naawe tewanditunuulidde na ssanyu lunaku lwa mugandawo, olunaku olw'okugwirwako akabi, era tewandisanyukidde lunaku olw'okuzikirira kw'abantu ba Yuda; tewandikudaalidde lunaku olw'obuyinike bwabwe.
13
Tewandiyingidde mu luggi olwa wankaaki olw'abantu bange ku lunaku lwe balabiramu ennaku; so naawe tewandikudaalidde kubonaabona kwabwe lunaku kwe balabira ennaku, era tewandinyazze bintu byabwe ku lunaku lwe balabiramu ennaku.
14
Tewandiyimiridde mu masaŋŋanzira okuzikiriza abantu be abawonawo; era tewandiwaddeyo bantu be abasigalawo ku lunaku olw'akabi.
15
Kubanga olunaku lwa Mukama lusemberedde amawanga gonna, nga bwe wakola bwe kityo naawe bwe kirikukolebwa; byonna by'okola biridda ku mutwe gwo.
16
Kubanga nga bwe mwanyweranga ku lusozi lwange olutukuvu, bwe kityo amawanga gonna bwe ganaanywanga; weewaawo, ganaanywanga ne gatagatta era galiba ng'agatabangawo.
17
Naye ku lusozi Sayuuni kulibaako abaliwona, era luliba lutukuvu; n'ennyumba ya Yakobo ery'etwalira ebintu byalyo.
18
Era ennyumba ya Yakobo eriba muliro n'ennyumba ya Yusufu eriba lulimi olw'omuliro; n'ennyumba ya Esawu eriba ssubi; baalibokya nabo balyaka, balibazikiririza ddala; so tewaliba muntu wa mu nnyumba ya Esawu alisigalawo; kubanga Mukama ye akyogedde.
19
Abo abe Negebu balyetwalira olusozi, nabo abe Sefala balitwala ensi y'Abafirisuuti; balitwala ensi ya Efulayimu, n'ensi ey'e Samaliya era Benyamini alitwala Gireyaadi.
20
N'abo ab'eggye lino ery'abaana ba Isiraeri abawaŋŋangukira mu Bakanani, balidda ne bawangula ensi ya Fonisiya okutuuka ku Zalefaasi; n'abo ab'omu ggye ly'abo abawaŋŋangukira mu Yerusaalemi abali mu Sefalaadi, baliwamba ebibuga eby'obukiikaddyo obwa Yuda.
21
Era abanunuzi balirinnya ku lusozi Sayuuni bafuge olusozi lwa Esawu; n'obwakabaka buliba bwa Mukama.
Jump to:
Chapter 1
All chapters:
1