bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Philemon 1
Philemon 1
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Jump to:
Chapter 1
1
Pawulo, omusibe wa Kristo Yesu ne Timoseewo ow'oluganda, eri Firemooni omwagalwa era mukozi munnaffe,
2
ne Apofiya ow'oluganda ne Alukipo mulwanyi munnaffe, n'ekkanisa eri mu nnyumba yo.
3
Ekisa n'emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe ne Mukama waffe Yesu Kristo bibeerenga nammwe.
4
Nneebaza Katonda wange bulijjo, bwe nkujjukira mu kusaba kwange,
5
kubanga mpulira okwagala kwo n'okukkiriza kw'olina eri Mukama waffe Yesu n'eri abatukuvu bonna;
6
era nsaba nti okutegeeza abalala okukkiriza kwo kuleetere okumanya ebirungi bye tulina mu Kristo.
7
Kubanga nfunye essanyu lingi, n'okuwummuzibwa mu mutima, ebiva mu kwagala kwo, ow'oluganda, kubanga emyoyo gy'abatukuvu giziddwa buggya ku lulwo.
8
Kale, newakubadde nga nnina obuvumu bwonna mu Kristo okukulagira okukola ekyo ekisaana,
9
naye olw'okwagala nkwegayirira bwegayirizi, nze, Pawulo, omubaka era kaakano omusibe olwa Kristo Yesu;
10
nkwegayirira olw'omwana wange, Onnessimo, gwe nfukidde kitaawe mu busibe bwange,
11
ataakugasanga edda, naye kaakano atugasa ffembi, ggwe nange,
12
gwe nkomyawo gy'oli, ye gwe mutima gwange gwe nkuweerezza.
13
Nnandibadde musanyufu okumusigaza, alyoke ampeerezenga mu kifo kyo mu kiseera eky'okusibibwa kwange olw'Enjiri,
14
naye ssaagadde kukikola nga tonzikirizza, obulungi bwo buleme okubeera mu kuwalirizibwa, wabula mu kwagala.
15
Kubanga mpozzi kyeyava ayawukana naawe ekiseera, olyoke obeerenga naye emirembe n'emirembe;
16
nga takyali muddu buddu, naye ng'asingako awo, ng'afuuse ow'oluganda omwagalwa, na ddala gye ndi, naye era okusingira ddala eri ggwe mu mubiri ne mu Mukama waffe.
17
Kale oba ng'ondowooza nze okubeera munno, musembeze nga bwe wandinsembezeza.
18
Naye oba nga alina kye yakusobya, oba ng'omubanja ekintu kyonna, kibalire nze.
19
Nze Pawulo mpandiise n'omukono gwange, nze ndisasula, sijja kukugamba nti nkubanja, era naawe wekka.
20
Kale, ow'oluganda, onsanyuse mu Mukama waffe, owummuze omwoyo gwange mu Kristo.
21
Nkuwandiikidde nga nneesiga obuwulize bwo, nga mmanyi ng'ojja kukikola oba n'okusinga wo.
22
Ate ekirala, ntegekera we ndisula, kubanga nsuubira olw'okusaba kwammwe muliweebwa okundaba.
23
Epafula musibe munnange mu Kristo Yesu, akulamusizza;
24
ne Makko, Alisutaluuko, Dema, Lukka, bakozi bannange.
25
Ekisa kya Mukama waffe Yesu Kristo kibeerenga n'omwoyo gwammwe.
Jump to:
Chapter 1
All chapters:
1