bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Psalms 119
Psalms 119
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 118
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 53
Chapter 54
Chapter 55
Chapter 56
Chapter 57
Chapter 58
Chapter 59
Chapter 60
Chapter 61
Chapter 62
Chapter 63
Chapter 64
Chapter 65
Chapter 66
Chapter 67
Chapter 68
Chapter 69
Chapter 70
Chapter 71
Chapter 72
Chapter 73
Chapter 74
Chapter 75
Chapter 76
Chapter 77
Chapter 78
Chapter 79
Chapter 80
Chapter 81
Chapter 82
Chapter 83
Chapter 84
Chapter 85
Chapter 86
Chapter 87
Chapter 88
Chapter 89
Chapter 90
Chapter 91
Chapter 92
Chapter 93
Chapter 94
Chapter 95
Chapter 96
Chapter 97
Chapter 98
Chapter 99
Chapter 100
Chapter 101
Chapter 102
Chapter 103
Chapter 104
Chapter 105
Chapter 106
Chapter 107
Chapter 108
Chapter 109
Chapter 110
Chapter 111
Chapter 112
Chapter 113
Chapter 114
Chapter 115
Chapter 116
Chapter 117
Chapter 118
Chapter 119
Chapter 120
Chapter 121
Chapter 122
Chapter 123
Chapter 124
Chapter 125
Chapter 126
Chapter 127
Chapter 128
Chapter 129
Chapter 130
Chapter 131
Chapter 132
Chapter 133
Chapter 134
Chapter 135
Chapter 136
Chapter 137
Chapter 138
Chapter 139
Chapter 140
Chapter 141
Chapter 142
Chapter 143
Chapter 144
Chapter 145
Chapter 146
Chapter 147
Chapter 148
Chapter 149
Chapter 150
Chapter 120 →
1
Balina omukisa abo abatambulira mu butuukirivu, Abatambulira mu mateeka ga Mukama.
2
Balina omukisa abo abeekuuma bye yategeeza, Abamunoonya n'omutima gwabwe gwonna.
3
era abatasobya, Naye abatambulira mu makubo ge.
4
Watukuutira ebiragiro byo, Tubikwatenga n'obwegendereza.
5
Singa amakubo gange ganywedde Mu kukwata ebiragiro byo!
6
Bwe ntyo bwe siikwatibwenga nsonyi, Bwe nnaalowoozanga bye walagira byonna.
7
Nnaakutenderezanga n'omutima omulungi, Bwe ndiba nga njize emisango gyo egy'ensonga.
8
Nnaakwatanga amateeka go; Nkwegayiridde, tondekera ddala. BEESI
9
Omuvubuka anaalongoosanga atya ekkubo lye? Nga yeegendereza ng'ekigambo kyo bwe kiri.
10
N'omutima gwange gwonna nkunoonya; Tonzikiriza okukyama okuva ku mateeka go.
11
Ntadde ekigambo kyo mu mutima gwange, Nneme okwonoona mu maaso go.
12
Weebazibwa, Ayi Mukama; Onjigirizenga amateeka go.
13
N'emimwa gyange mbuulidde Emisango gyonna egy'akamwa ko.
14
Nsanyukidde ekkubo ly'ebyo bye wategeeza, Nga asanyukira obugagga bwonna.
15
Nnaafumiitirizanga ebiragiro byo. Era nnaalowoozanga amakubo go.
16
Nnaasanyukiranga amateeka go: Seerabirenga kigambo kyo. GIMERI
17
Onkolere omuddu wo eby'ekisa ekingi, mbeerenga omulamu; Bwe ntyo bwe nnaakwatanga ekigambo kyo.
18
Onzibule amaaso gange, ndabe Eby'ekitalo ebiva mu mateeka go.
19
Nze ndi mutambuze mu nsi: Tonkisa bye walagira.
20
Emmeeme yange ekutuse olw'okuyaayaana Kw'eyaayaanira emisango gyo ebiro byonna.
21
Onenyezza ab'amalala abakolimirwa, Abakyama okuleka bye walagira.
22
Onzigyeko okuvumibwa n'okunyoomebwa; Kubanga nneekuumye bye wategeeza.
23
Era n'abalangira batuula ne banjogerako obubi: Naye omuddu wo nnafumiitiriza amateeka go. DALESI
24
Era bye wategeeza bye nsanyukira, Era ebyo be bantu be nteesa nabo.
25
Emmeeme yange yeegasse n'enfuufu: Onzuukize ng'ekigambo kyo bwe kiri.
26
Nnayatula amakubo gange, naawe n'onziramu: Onjigirize amateeka go.
27
Ontegeeze ntegeere ekkubo ery'ebiragiro byo: Ne ndyoka nfumiitiriza emirimu gyo egy'ekitalo.
28
Emmeeme yange esaanuuse olw'okunyiikaala: Ompe amaanyi ng'ekigambo kyo bwe kiri.
29
Onziggyeeko ekkubo ery'obulimba: Era ompe amateeka go n'ekisa.
30
Nneerobozezza ekkubo ery'obwesigwa: Emisango ngitadde mu maaso gange.
31
Nneegatta n'ebyo bye wategeeza: Ayi Mukama, tonkwasa nsonyi.
32
Nnaddukiranga mu kkubo ly'ebyo bye walagira, Bw'oligaziya omutima gwange. HE
33
Onjigirize, Ayi Mukama, ekkubo ery'amateeka go; Nange nnaalyekuumanga okutuusa enkomerero.
34
Ompe amagezi, nange nneekuumanga amateeka go; Weewaawo, nnaagakwatanga n'omutima gwange gwonna.
35
Ompise mu kkubo ly'ebyo bye walagira: Kubanga mu eryo mwe nsanyukira.
36
Okyuse omutima gwange eri ebyo bye wategeeza, So si eri kwegomba.
37
Owunjule amaaso gange galemenga okulaba ebitaliimu, Era onzuukize mu makubo go.
38
Onyweze ekigambo kyo eri omuddu wo, Ky'eky'okutyanga ggwe.
39
Ompunjulire ekivume kye ntya; Kubanga emisango gyo mirungi
40
Laba, nneegombanga ebiragiro byo: Onzuukirize mu butuukirivu bwo. VAWU
41
Era n'okusaasira kwo kutuuke gye ndi, Ayi Mukama, Bwe bulokozi bwo, ng'ekigambo kyo bwe kiri.
42
Bwe ntyo bwe ndiba n'eky'okuddamu eri oyo anvuma; Kubanga nneesiga ekigambo kyo.
43
So toggiramu ddala kigambo kya mazima mu kamwa kange; Kubanga nnaasuubiranga emisango gyo.
44
Bwe ntyo bwe nnaakwatanga amateeka go ennaku zonna Emirembe n'emirembe.
45
Era nnaatambulanga nga nneeyabya; Kubanga nnoonyezza ebiragiro byo.
46
Era nnaayongeranga ku ebyo bye wategeeza mu maaso ga bakabaka, Ne ssikwatibwa nsonyi.
47
Era nnaasanyukiranga ebyo bye walagira, Bye nnaayagalanga.
48
Era nnaayimusanga engalo zange eri ebyo bye walagira, bye nnaayagalanga: Era nnaafumiitirizanga amateeka go. ZAYINI
49
Ojjukire ekigambo eri omuddu wo, Kubanga wansuubiza.
50
Eryo lye ssanyu lyange bwe mbonyaabonyezebwa: Kubanga ekigambo kyo kinzuukizizza.
51
Ab'amalala bansekeredde nnyo: Naye ne sseekooloobyanga okuva mu mateeka go.
52
Njijukidde emisango gyo egy'edda, Ayi Mukama, Ne nneesanyusa.
53
Obusungu obubuubuuka bunkutte, Olw'ababi abaleka amateeka go.
54
Amateeka go ge nnyimbirako Mu nnyumba ey'okutambula kwange.
55
Nnajjukiranga erinnya lyo ekiro, Ayi Mukama, Era nnakwatanga amateeka go.
56
Ekigambo kino kyange, Okukuumanga ebiragiro byo. KEESI
57
Mukama gwe mugabo gwange: N'ayogera nga nnaakwatanga ebigambo byo.
58
N'asaba ekisa kyo n'omutima gwange gwonna: Onsaasire ng'ekigambo kyo bwe kiri.
59
Nnalowooza amakubo gange, Ne nkyusa ebigere byange eri ebyo bye wategeeza.
60
N'ayanguwa ne sirwawo, Okukwata ebyo bye walagira.
61
Emigwa egy'ababi gimbisse; Naye sseerabidde mateeka go.
62
Mu ttumbi nnaagolokokanga okukwebaza Olw'emisango gyo egy'ensonga.
63
Nze ndi munne w'abo bonna abakutya, N'abo abakwata ebiragiro byo.
64
Ayi Mukama, ensi ejjudde okusaasira kwo: Onjigirize amateeka go. TEESI
65
Okoledde ebirungi omuddu wo, Ayi Mukama, ng'ekigambo kyo bwe kiri.
66
Onjigirizenga okusala emisango egy'ensonga n'okutegeera; Kubanga nnakkirizanga ebyo bye walagira.
67
Nga ssinnabonyaabonyezebwa, nnakyama; Naye kaakano nkwata ekigambo kyo.
68
Oli mulungi, era okola ebirungi; Onjigirizenga amateeka go.
69
Ab'amalala banjiiyirizzaako eky'obulimba: N'omutima gwange gwonna nneekuumanga ebiragiro byo.
70
Omutima gwabwe gugezze ng'amasavu; Naye nze nsanyukira amateeka go.
71
Kwangasa okubonyaabonyezebwa; Ndyoke njige amateeka go.
72
Amateeka g'akamwa ko gampoomera nze Okusinga ebitundu eby'ezaabu n'effeeza enkumi n'enkumi. YODI
73
Engalo zo ze zankola, ze zammumba: Ompe amagezi, njigenga ebyo bye walagira.
74
Abakutya banandabanga ne basanyuka; Kubanga nnaasuubiranga ekigambo kyo.
75
Mmanyi, Ayi Mukama, ng'emisango gyo gya nsonga, Era nga wambonyaabonya olw'obwesigwa.
76
Nkwegayiridde, ekisa kyo ekirungi kinsanyuse, Ng'ekigambo kyo bwe kiri eri omuddu wo.
77
Okusaasira kwo okulungi kujje gye ndi, mbeerenga omulamu: Kubanga amateeka go ge gansanyusa.
78
Ab'amalala bakwatibwe ensonyi; kubanga bammegga awatali nsonga. Naye nnaafumiitirizanga ebiragiro byo.
79
Abakutya bankyukire, Era balitegeera bye wategeeza.
80
Omutima gwange gutuukirire mu mateeka go; Nnemenga okukwatibwa ensonyi. KAFU
81
Emmeeme yange ezirise olw'obulokozi bwo: Naye nsuubira ekigambo kyo.
82
Amaaso gange gakulukuse olw'ekigambo kyo, Nga njogera nti Olinsanyusa ddi?
83
Kubanga nfuuse ng'eddiba eriwanikibwa mu mukka; Naye sseerabira mateeka go.
84
Ennaku ez'omuddu wo ziri mmeka? Olituukiriza ddi omusango ku abo abanjigganya?
85
Ab'amalala bansimidde obunnya Abatagoberera mateeka go.
86
Bye walagira byonna bya bwesigwa: Banjigganya awatali nsonga: ggwe onnyambe.
87
Baabulako katono banzikirize ku nsi; Naye ne sireka biragiro byo.
88
Onzuukize ng'ekisa kyo ekirungi bwe kiri; Bwe ntyo bwe nnaakwatanga akamwa ko bye kategeeza. LAMEDI
89
Emirembe gyonna, Ayi Mukama, Ekigambo kyo kinyweredde mu ggulu.
90
Obwesigwa bwo bubeerera emirembe gyonna: Wanyweza ensi, n'ebeererawo.
91
Bikyaliwo leero nga bwe walagira; Kubanga ebintu byonna baddu bo.
92
Singa amateeka go si ge gansanyusa, Nnandizikiridde bwe nnabonyaabonyezebwa.
93
Sseerabirenga biragiro byo ennaku zonna; Kubanga wanzuukiza n'ebyo.
94
Nze ndi wuwo, ondokole; Kubanga nnaanoonyanga ebiragiro byo.
95
Ababi bannindiridde okunzikiriza; Naye nze nnaalowoozanga bye wategeeza.
96
Ndabye ebintu byonna ebyatuukirira gye bikoma; Naye ekiragiro kyo kigazi nnyo. MEMU
97
Amateeka go nga ngaagala! Ago ge nfumiitiriza okuzibya obudde.
98
Bye walagira bingeziwaza okusinga abalabe bange; Kubanga bali wamu nange ennaku zonna.
99
Nnina okutegeera okusinga abayigiriza bange bonna; Kubanga bye wategeeza bye ndowooza.
100
Ntegeera okukira abakadde, Kubanga nneekuumanga ebiragiro byo.
101
Nnaaziyizanga ebigere byange obutatambula mu kkubo ebbi lyonna, Ndyoke nkwatenga ekigambo kyo.
102
Seekooloobyanga kuleka misango gyo; Kubanga ggwe wanjigirizanga.
103
Ebigambo byo nga bimpoomera mu kibuno kyange! Bisinga omubisi gw'enjuki mu kamwa kange!
104
Ebiragiro byo bye bindetera okutegeera: Kyenvudde nkyawa buli kkubo ery'obulimba. NUUNI
105
Ekigambo kyo ye ttabaaza eri ebigere byange, N'omusana eri ekkubo lyange.
106
Nnalayira, era nkikakasizza kino, Nga nnaakwatanga emisango gyo egy'ensonga.
107
Mbonyaabonyezebwa nnyo; Onzuukize, Ayi Mukama, ng'ekigambo kyo bwe kiri.
108
Okkirize, nkwegayiridde, ebyo akamwa kange bye kaakuwa, Ayi Mukama, nga tekaawalirizibwa, Era onjigirizenga emisango gyo.
109
Emmeeme yange eri mu mukono gwange ennaku zonna; Naye sseerabira mateeka go.
110
Ababi bantegedde omutego; Naye ssikyamanga kuleka biragiro byo.
111
Bye wategeeza mbitutte okuba obusika obutaliggwaawo; Kubanga ebyo bye binsanyusa omutima gwange.
112
Mpese omutima gwange okutuukiriza amateeka go, Emirembe gyonna, okutuusa enkomerero. SAMEKI
113
Nkyaye abo abalina emyoyo egy'obulimba; Naye amateeka go ge njagala.
114
Ggwe oli kifo kyange kye nneekwekamu, n'engabo yange: Nsuubira ekigambo kyo.
115
Mugende mumbeere wala, mmwe abakozi b'obubi; Ndyoke nneekuumenga Katonda wange bye yalagira.
116
Ompanirire ng'ekigambo kyo bwe kiri, mbeerenga omulamu; Nneme okukwatibwanga ensonyi olw'essuubi lyange.
117
Ggwe ompanirire, nange nnaabeerangawo mirembe, Era nneegenderezanga amateeka go ennaku zonna.
118
Onyoomye abo bonna abakyama okuleka amateeka go; Kubanga obukuusakuusa bwabwe bulimba.
119
Omalawo ababi bonna ab'ensi ng'amasengere: Kyenvudde njagala ebyo bye wategeeza.
120
Omubiri gwange gukankana olw'okukutya; Era ntya emisango gyo. AYINI
121
Nkoze eby'omusango n'eby'obutuukirivu: Tondekera abo abanjooga.
122
Weeyimirire omuddu wo olw'obulungi: Ab'amalala baleme okunjooganga.
123
Amaaso gange ganzibye olw'obulokozi bwo, N'olw'ekigambo kyo ekituukirivu.
124
Okole omuddu wo ng'okusaasira kwo bwe kuli, Era onjigirizenga amateeka go.
125
Nze ndi muddu wo, ompe okutegeera; Ndyoke mmanye ebyo bye wategeeza.
126
Obudde butuuse Mukama okukola emirimu; Kubanga badibizza amateeka go.
127
Kyenvudde njagala ebyo bye walagira Okusinga ezaabu, weewaawo, okusinga ezaabu ennungi.
128
Kyenvudde ndowooza ebiragiro byo byonna eby'ebigambo byonna nga bya nsonga; Era nkyaye buli kkubo ery'obulimba. PE
129
Bye wategeeza bya kitalo: Emmeeme yange kyeva ebyekuuma.
130
Ebigambo byo nga bigguliddwawo bireeta omusana; Biwa okutegeera abatalina magezi.
131
Nnayasama nnyo akamwa kange ne mpeevuuma; Kubanga nnayaayaanira ebyo bye walagira.
132
Onkyukire, onsaasire, Nga bw'oyisa okusaasira abo abaagala erinnya lyo.
133
Oluŋŋamizenga ebigere byange mu kigambo kyo; So obutali butuukirivu bwonna buleme okunfuganga.
134
Onnunule nneme okujoogebwanga abantu: Bwe ntyo bwe nnaakwatanga ebiragiro byo.
135
Oyaakize amaaso go omuddu wo; Era onjigirizenga amateeka go.
136
Amaaso gange gakulukuta emigga gy'amazzi, Kubanga tebakwata mateeka go. TIZADDE
137
Oli mutuukirivu, Ayi Mukama, N'emisango gyo gya nsonga.
138
Walagira bye wategeeza mu butuukirivu Ne mu bwesigwa ddala ddala.
139
Obuggya bwange bunzikirizza, Kubanga abalabe bange beerabidde ebigambo byo.
140
Ekigambo kyo kirongoofu nnyo; Omuddu wo kyava akyagala.
141
Nze ndi muto, nnyoomebwa: Naye sseerabira biragiro byo.
142
Obutuukirivu bwo bwe butuukirivu obw'emirembe gyonna, N'amateeka go ge mazima.
143
Ennaku n'okulumwa bindabye: Naye bye walagira bye binsanyusa.
144
Bye wategeeza bya butuukirivu emirembe gyonna: Ompe okutegeera, nange nnaabeeranga mulamu. KOOFU
145
Nkoowodde n'omutima gwange gwonna; ompitabe, Ayi Mukama: Nnaakuumanga amateeka go.
146
Nkukoowodde; ondokole, Nange nnaakwatanga ebyo bye wategeeza.
147
Nnakeera emmambya nga tennasala, ne nkoowoola: Nnasuubira ebigambo byo.
148
Amaaso gange gaasooka ebisisimuka by'ekiro, Nfumiitirize ekigambo kyo.
149
Owulire eddoboozi lyange ng'ekisa kyo bwe kiri: Onzuukize, Ayi Mukama, ng'emisango gyo bwe giri:
150
Basembera abagoberera obubi; Bali wala amateeka go.
151
Ggwe oli kumpi, Ayi Mukama; Ne byonna bye walagira ge mazima.
152
Edda n'edda nnamanyanga olw'ebyo bye wategeeza, Nga wabinyweza emirembe gyonna. REESI
153
Olowoozenga okubonaabona kwange, omponye; Kubanga seerabira mateeka go.
154
Ompolereze ensonga yange, onnunule: Onzuukize ng'ekigambo kyo bwe kiri.
155
Obulokozi buba wala ababi; Kubanga tebanoonya mateeka go.
156
Okusaasira kwo okulungi kungi, Ayi Mukama: Onzuukize ng'emisango gyo bwe giri.
157
Abanjigganya n'abankyawa bangi: Naye sseekooloobyanga kuleka bye wategeeza.
158
Nnalaba abo abakola eby'enkwe, ne nnakuwala; Kubanga tebakwata kigambo kyo.
159
Olowooze bwe njagala ebiragiro byo: Onzuukize, Ayi Mukama, ng'ekisa kyo bwe kiri.
160
Ekigambo kyo kyonna kyonna mazima; N'emisango gyo egy'ensonga gyonna gyonna gibeerera emirembe gyonna. SINI
161
Abalangira banjigganyizza awatali nsonga; Naye omutima gwange gutya nnyo ebigambo byo.
162
Nsanyukira ekigambo kyo, Ng'alaba omunyago omungi.
163
Nkyaye obulimba, mbutamwa; Naye amateeka go ge njagala.
164
Emirundi musanvu buli lunaku nkutendereza; Olw'emisango gyo egy'ensonga.
165
Abaagala amateeka go balina emirembe mingi; So tebaliiko kibeesittaza.
166
Nsuubidde obulokozi bwo, Ayi Mukama, Era nkoze bye walagira.
167
Emmeeme yange yakwatanga bye wategeeza; Era mbyagala kitalo.
168
Nnaakwatanga ebiragiro byo n'ebyo bye wategeeza; Kubanga amakubo gange gonna gali mu maaso go. TAWU
169
Okukaaba kwange kusemberenga mu maaso go, Ayi Mukama: Ompe okutegeeranga ng'ekigambo kyo bwe kiri.
170
Okwegayirira kwange kujjenga mu maaso go: Omponye ng'ekigambo kyo bwe kiri.
171
Emimwa gyange gyogere ettendo; Kubanga onjigiriza amateeka go.
172
Olulimi lwange luyimbe ku kigambo kyo; Kubanga bye walagira byonna bwe butuukirivu.
173
Omukono gwo gube nga gweteeseteese okunnyamba; Kubanga nneerobozza ebiragiro byo.
174
Njaayaanidde obulokozi bwo, Ayi Mukama; Era amateeka go ge gansanyusa.
175
Emmeeme yange ebeerenga ennamu, era eneekutenderezanga; N'emisango gyo ginnyambenga,
176
Nnakyama ng'endiga ebuze; noonya omuddu wo; Kubanga sseerabira bye walagira.
← Chapter 118
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 53
Chapter 54
Chapter 55
Chapter 56
Chapter 57
Chapter 58
Chapter 59
Chapter 60
Chapter 61
Chapter 62
Chapter 63
Chapter 64
Chapter 65
Chapter 66
Chapter 67
Chapter 68
Chapter 69
Chapter 70
Chapter 71
Chapter 72
Chapter 73
Chapter 74
Chapter 75
Chapter 76
Chapter 77
Chapter 78
Chapter 79
Chapter 80
Chapter 81
Chapter 82
Chapter 83
Chapter 84
Chapter 85
Chapter 86
Chapter 87
Chapter 88
Chapter 89
Chapter 90
Chapter 91
Chapter 92
Chapter 93
Chapter 94
Chapter 95
Chapter 96
Chapter 97
Chapter 98
Chapter 99
Chapter 100
Chapter 101
Chapter 102
Chapter 103
Chapter 104
Chapter 105
Chapter 106
Chapter 107
Chapter 108
Chapter 109
Chapter 110
Chapter 111
Chapter 112
Chapter 113
Chapter 114
Chapter 115
Chapter 116
Chapter 117
Chapter 118
Chapter 119
Chapter 120
Chapter 121
Chapter 122
Chapter 123
Chapter 124
Chapter 125
Chapter 126
Chapter 127
Chapter 128
Chapter 129
Chapter 130
Chapter 131
Chapter 132
Chapter 133
Chapter 134
Chapter 135
Chapter 136
Chapter 137
Chapter 138
Chapter 139
Chapter 140
Chapter 141
Chapter 142
Chapter 143
Chapter 144
Chapter 145
Chapter 146
Chapter 147
Chapter 148
Chapter 149
Chapter 150
Chapter 120 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50
51
52
53
54
55
56
57
58
59
60
61
62
63
64
65
66
67
68
69
70
71
72
73
74
75
76
77
78
79
80
81
82
83
84
85
86
87
88
89
90
91
92
93
94
95
96
97
98
99
100
101
102
103
104
105
106
107
108
109
110
111
112
113
114
115
116
117
118
119
120
121
122
123
124
125
126
127
128
129
130
131
132
133
134
135
136
137
138
139
140
141
142
143
144
145
146
147
148
149
150