bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
/
1 Corinthians 5
1 Corinthians 5
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 6 →
1
N'okugamba bagamba nga mu mmwe mulimu obwenzi, era obwenzi bwe butyo obutali ne mu b'amawaaga, omuntu okubeera ne mukazi wa kitaawe.
2
Nammwe mwegulumizizza; so temwanakuwala bunakuwazi, oyo eyakola ekikolwa ekyo alyoke aggibwe wakati mu mmwe.
3
Kubanga nze bwe ssibaayo mu mubiri naye nga ndiyo mu mwoyo; mmaze okusalira omusango oyo eyayonoona ekyo bw'atyo,
4
mu linnya lya Mukama waffe Yesu, mmwe nga mukuŋŋaanye n'omwoyo gwange awamu n'amaanyi ga Mukama waffe Yesu,
5
okuwaayo ali bw'atyo eri Setaani omubiri okuzikirizibwa, omwoyo gulyoke gutokoke ku lunaku lwa Mukama waffe Yesu.
6
Okwenyumiriza kwammwe si kulungi: Tetumanyi ng'ekizimbulukusa ekitono kizimbulukusa ekitole kyonna?
7
Muggyeemu ekizimbulukusa eky'edda, mulyoke mubeere ekitole ekiggya, nga temuliimu kizimbulukusa. Kubanga era n'Okuyitako kwaffe kwattibwa, ye Kristo:
8
kale tufumbe embaga, si na kizimbulukusa eky'edda, newakubadde n'ekizimbulukusa eky'ettima n'obubi, wabula n'ebitazimbulukuswa eby'obutali bukuusa n'amazima.
9
Nnabawandiikira mu bbaluwa yange obuteegattanga na benzi;
10
so si kwewalira ddala abenzi ab'omu nsi muno, oba abeegombi n'abanyazi, oba abasinza ebifaananyi: kubanga bwe kiba kityo kyandibagwanidde okuva mu nsi:
11
naye kaakano mbawandiikira obuteegattanga naye, omuntu yenna ayitibwa ow'oluganda bw'aba nga mwenzi, oba mwegombi, oba asinza ebifaananyi, oba muvumi, oba mutamiivu, oba munyazi; ali bw'atyo n'okulya temulyanga naye.s
12
Kubanga nfaayo ki okusalira omusango abali ebweru? Mmwe temusalira musango ba munju?
13
Naye ab'ebweru Katonda ye abasalira omusango. Omubi oyo mumuggye mu mmwe.
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 6 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16