bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
/
1 Thessalonians 1
1 Thessalonians 1
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 2 →
1
Pawulo ne Sirwano ne Timoseewo eri ekkanisa ey'Abasessaloniika eri mu Katonda Kitaffe ne Mukama waffe Yesu Kristo: ekisa kibeerenga gye muli n'emirembe.
2
Twebaza Katonda ku lwammwe mwenna ennaku zonna, nga tuboogerako mu kusaba kwaffe;
3
nga tujjukira bulijjo omulimu gwammwe ogw'okukkiriza, n'okufuba okw'okwagala, n'okugumiikiriza okw'essuubi lya Mukama waffe Yesu Kristo, mu maaso ga Katonda era Kitaffe;
4
nga tumanyi, ab'oluganda abaagalwa Katonda, okulondebwa kwammwe,
5
kubanga enjiri yaffe teyajja gye muli mu kigambo bugambo, wabula era ne mu maanyi, ne mu Mwoyo Omutukuvu, ne mu kutegeerera ddala okungi; nga bwe mumanyi bwe twali gye muli ku lwammwe.
6
Nammwe ne mutugoberera ffe ne Mukama waffe, bwe mwatoolera ekigambo mu kubonaabona okungi, n'essanyu ery'Omwoyo Omutukuvu;
7
mmwe n'okuba ne muba ekyokulabirako eri abakkiriza bonna mu Makedoni ne mu Akaya.
8
Kubanga gye muli ye yava eddoboozi ly'ekigambo kya Mukama waffe, si mu Makedoni ne mu Akaya yokka, naye mu buli kifo okukkiriza kwammwe eri Katonda kwabuna; bwe tutyo ne tutabaako kigambo kye twetaaga okwogera.
9
Kubanga bo bokka babuulira ebyaffe okuyingira kwaffe gye muli bwe kwali; era ne bwe mwakyukira Katonda okuleka ebifaananyi, okuweerezanga Katonda omulamu ow'amazima,
10
n'okulindiriranga Omwana we okuva mu ggulu, gwe yazuukiza mu bafu, Yesu, atulokola mu busungu obugenda okujja.
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 2 →
All chapters:
1
2
3
4
5