bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
/
2 Corinthians 9
2 Corinthians 9
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
← Chapter 8
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 10 →
1
Kubanga eby'okuweereza abatukuvu tekinneetaagisa kubibawandiikira:
2
kubanga mmanyi okwagala kwammwe, kwe nneenyumiririzaamu eri ab'e Makedoni ku lwammwe, nga Akaya yaakamala omwaka gumu okweteekateeka; n'okunyiikira kwammwe kwakubiriza bangi mu bo.
3
Naye ntuma ab'oluganda, okwenyumiriza kwaffe ku lwammwe kuleme okuba okw'obwereere mu kigambo ekyo; nga bwe njogedde, mulyoke mweteeketeeke:
4
mpozzi ab'e Makedoni abalala bwe balijja nange, bwebalibasanga nga temweteeseteese, ffe (obutoogera mmwe) tuleme okukwatibwa ensonyi mu kusuubira okwo.
5
Kyenvudde ndowooza nga kiŋŋwanidde okwegayirira ab'oluganda, bankulembere: okujja gye muli, basooke balongoose omukisa gwammwe gwe mwasuubiza edda, gulyoke gweteeketeeke, ng'omukisa, so si ng'ekisoloozebwa.
6
Naye kye njogedde kino nti Asiga entono, alikungula ntono; era asiga ennyingi, alikungula nnyingi.
7
Buli muntu akolenga nga bw'amaliridde mu mutima gwe; si lwa nnaku, newakubadde olw'okuwalirizibwa: kubanga Katonda ayagala oyo agaba n'essanyu.
8
Era Katonda ayinza okwaza ekisa kyonna gye muli mmwe nga mulina ebibamala byonna ennaku zonna mu bigambo byonna mulyoke musukkirirenga mu bikolwa byonna ebirungi:
9
nga bwe kyawandiikibwa nti Yasasaanya, yagabira abaavu; Obutuukirivu bwe bwa lubeerera emirembe gyonna.
10
Era oyo awa ensigo omusizi n'emmere ey'okulya, anaabawanga, anaabongerangako ensigo zammwe; era anaayazanga ebibala eby'obutuukirivu bwammwe:
11
nga mugaggawazibwa mu byonna mukolenga obugabi bwonna, obwebazisa Katonda mu ffe.
12
Kubanga okugaba okw'okuweereza okwo tekujjula bujjuzi ekigera ky'ebyo abatukuvu bye beetaaga, era naye kusukkirira olw'okwebaza okungi eri Katonda;
13
kubanga olw'okukemebwa kwammwe mu kuweereza kuno batendereza Katonda olw'okugonda okw'okwatula kwammwe eri enjiri ya Kristo, n'olw'obugabi bw'okugabana kwammwe eri bo n'eri bonna;
14
era bo bokka nga balumirwa mmwe emyoyo mu kubasabira olw'ekisa kya Katonda ekitasingika mu mmwe:
15
Katonda yeebazibwe olw'ekirabo kye ekitayogerekeka.
← Chapter 8
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 10 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13