bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
/
3 John 1
3 John 1
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Jump to:
Chapter 1
1
Nze omukadde mpadiikira Gayo omwagalwa, gwe njagala mu mazima.
2
Omwagalwa, nsaba obeerenga bulungi mu bigambo byonna era obeerenga n'obulamu, ng'omwoyo gwo bwe gubeera obulungi.
3
Kubanga nnasanyuka nnyo ab'oluganda bwe bajja ne bategeeza amazima go, nga ggwe bw'otambulira mu mazima.
4
Ssirina ssanyu lingi erisinga lino, okuwulira abaana bange nga batambulira mu mazima.
5
Omwagalwa, gya bwesigwa emirimu gyo gyonna gyonna gy'okolera ab'oluganda era abagenyi;
6
abaategeeza okwagala kwo mu maaso g'ekkanisa; abo bw'onoobatambuzanga nga Katonda bw'asaanira, onookolanga bulungi:
7
kubanga baavaayo olw'Erinnya nga tebaweereddwa kintu ba mawanga.
8
Kale kitugwanidde okusembezanga abali ng'abo tulyoke tukolenga omulimu gumu n'amazima.
9
Nnawandiikira ekkanisa ekigambo: naye Diyotuleefe ayagala okubeera omukulu waabwe tatukkiriza.
10
Bwe ndijja kyendiva njijukiza abantu ebikolwa bye by'akola ng'ayogera ku ffe ebigambo ebibi ebitaliimu: so ebyo tebimumala, naye era ye yennyini tasembeza ba luganda, era n'abaagala okubasembeza abaziyiza n'abagoba mu kkanisa.
11
Omwagalwa, togobereranga kibi, wabula ekirungi. Akola obulungi ye wa Katonda: akola obubi nga talabanga Katonda.
12
Demeteriyo asiimibwa bonna, era n'amazima gennyini: era naffe tutegeeza; naawe omanyi ng'okutegeeza kwaffe kwa mazima.
13
Nnalina ebigambo bingi okukuwandiikira, naye saagala kukuwandiikira na bwino na kkalaamu:
14
naye nsuubira okukulaba amangu, tulyogera akamwa n'akamwa. Emirembe gibenga gy'oli. Ab'omukwano bakulamusizza. Lamusa ab'omukwano ng'amannya gaabwe bwe gali.
Jump to:
Chapter 1
All chapters:
1