bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
/
Ecclesiastes 10
Ecclesiastes 10
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
← Chapter 9
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 11 →
1
Ensowera enfu ziwunyisa ekivundu amafuta ag'omugavu ag'omufumbi wa kalifuwa: bwe kityo obusirusiru obutono bumalawo amagezi n'ekitiibwa.
2
Omutima gw'omugezigezi guba ku mukono gwe ogwa ddyo; naye omutima gw'omusirusiru guba ku mukono gwe ogwa kkono.
3
Era, weewaawo, omusirusiru bw'aba nga atambulira mu kkubo, okutegeera kwe ne kumuggwaako, n'agamba buli muntu nga musirusiru.
4
Omwoyo gw'omukulu bwe gukugolokokerako, tovanga mu kifo kyo; kubanga okwemenya kukkakkanya okunyiiga okungi.
5
Waliwo ekibi kye nnalaba wansi w'enjuba, ekiri ng'okusobya okuva eri omukulu:
6
obusirusiru aga butuuzibwa awali ekitiibwa ekinene, abagagga ne batuula mu kifo ekya wansi
7
Nalaba abaddu nga beebagadde embalaasi, n'abalangira nga batambula ng'abaddu ku ttaka.
8
Asima obunnya aiibugwamu; era awagula olukomera, omusota gulimuluma.
9
Buli asimula amayinja galimuluma; n'oyo ayasa enku zimuleetera akabi.
10
Ekyuma bwe kikoŋŋontera, n'olema okuwagala omumwa gwakyo, kale kikugwanira okweyongera okussaako amaanyi: naye amagezi gagasa okuluŋŋamya.
11
Omusota bwe guluma nga tegunnalogebwa, kale omulogo taliiko ky'agasa.
12
Ebigambo eby'akamwa k'omugezigezi bya kisa; naye emimwa gy'omusirusiru girimira ye yennyini.
13
Okusooka kw'ebigambo eby'omu kamwa ke busirusiru: n'enkomerero y'okwogera kwe ddalu erireeta akabi.
14
Era omusirusiru ayongerayongera ebigambo: naye omuntu tamanyi ebiribaawo; n'ebiribaawo oluvannyuma lwe ani ayinza okumubuulira?
15
Okutegana kw'abasirusiru kubakooyesa bonna kinnoomu, kubanga tamanyi w'aba ayita okugenda mu kibuga.
16
Zikusanze, ggwe ensi, kabaka wo bw'aba nga ye mwana muto, abakulu bo ne balya enkya!
17
Olina omukisa, ggwe ensi, kabaka wo bw'aba nga ye mwana w'abakungu, abakulu bo baliira, mu ntuuko olw'okufuna amaanyi so si lwa kutamiira!
18
Olw'obugayaavu akasolya kabotoka; era olw'okugayaala kw'emikono ennyumba etonnya.
19
Embaga bagifumbira kuleeta nseko, n'omwenge gusanyusa obulamu: ne ffeeza eyanukulira byonna.
20
Tokolimiranga kabaka, newakubadde mu kulowooza kwo; so tokolimiranga mugagga mu nju yo mw'osula: kubanga ennyonyi ey'omu bbanga eritwala eddoboozi, n'ekirina ebiwaawaatiro kiribuulira ekigambo ekyo.
← Chapter 9
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 11 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12