bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
/
Judges 12
Judges 12
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
← Chapter 11
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 13 →
1
Abasajja ba Efulayimu ne bakuŋŋaana ne bayita okugenda mu nsi ey'obukiika obwa kkono; ne bagamba Yefusa nti Kiki ekyakusomosa okugenda okulwana n'abaana ba Amoni, n'ototuyita ffe okugenda naawe? tulikwokerera ennyumba yo omuliro.
2
Yefusa n'abagamba nti Nze n'abantu bange twali tulwana nnyo n'abaana ba Amoni; awo bwe nnabayita ne mutandokola mu mukono gwabwe.
3
Awo bwe nnalaba nga temundokodde, obulamu bwange ne mbuteeka mu ngalo zange, ne nsomoka okulwana n'abaana ba Amoni, Mukama n'abagabula mu mukono gwange: kale, kiki ekibalinnyisa leero gye ndi okulwana nange?
4
Awo Yefusa n'alyoka akuŋŋaanya abasajja bonna ab'e Gireyaadi n'alwana ne Efulayimu: abasajja ab'e Gireyaadi ne bakuba Efulayimu, kubanga baayogera nti Muli badduse ba Efulayimu mmwe ab'e Gireyaadi, wakati mu Efulayimu (ne) wakati mu Manase.
5
Ab'e Gireyaadi ne beekwata emisomoko gya Yoludaani okuteega Abaefulayimu: awo olwatuuka (omuntu yenna) ku badduse ba Efulayimu bwe yayogera nti Nsomoke, ab'e Gireyaadi ne bamugamba nti Oli Mwefulayimu? Bwe yayogera nti Nedda;
6
ne balyoka bamugamba nti Kale nno yogera Shibbolesi; n'ayogera nti Sibbolesi; kubanga teyayinza kukiruŋŋamya kukituusa bulungi; ne balyoka bamukwata, ne bamuttira ku misomoko gya Yoludaani; ne bafa ku Efulayimu mu biro ebyo obukumi buna mu enkumi bbiri.
7
Yefusa n'alamulira Isiraeri emyaka mukaaga. Yefusa Omugireyaadi n'alyoka afa, ne bamuziika mu kibuga kimu ku by'omu Gireyaadi.
8
Awo oluvannyuma lwe Ibuzaani ow'e Besirekemu n'alamula Isiraeri.
9
Era yalina batabani be asatu, era yasindika abawala be asatu okugenda mu nsi endala, n'aggya abawala asatu mu nsi endala n'abawasiza batabani be. N'alamulira Isiraeri emyaka musanvu.
10
Ibuzaani n'afa, ne bamuziika mu Besirekemu.
11
Awo oluvannyuma lwe Eroni Omuzebbulooni n'alamula Isiraeri; n'alamulira Isiraeri emyaka kkumi.
12
Eroni Omuzebbulooni n'afa, ne bamuziika mu Ayalooni mu nsi ya Zebbulooni.
13
Awo oluvannyuma lwe Abudoni mutabani wa Kireri Omupirasoni n'alamula Isiraeri.
14
Era yalina batabani be ana n'abazzukulu be asatu, abeebagalanga ku baana b'endogoyi nsanvu: n'alamulira Isiraeri emyaka munaana.
15
Abudoni mutabani wa Kireri Omupirasoni n'afa, ne bamuziika mu Pirasoni mu nsi ya Efulayimu, mu nsi ey'Abamaleki ey'ensozi.
← Chapter 11
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 13 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21