bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
/
Nahum 3
Nahum 3
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
1
Zikisanze ekibuga eky'omusaayi! kyonna kijjudde eby'obulimba n'eby'amaanyi; ekitaagulwataagulwa tekivaamu.
2
Okuvuuma kw'olukoba n'okuvuuma kwa bannamuziga abayiringita; n'embalaasi nga zinyirira n'amagaali nga gabuukabuuka;
3
n'abo abeebagala nga balinnya n'okumasamasa kw'ekitala n'okumyansa kw'amafumu; era abafu bangi n'emirambo entuumo nnene; so n'emirambo tegiriiko we gikoma; beesittala ku mirambo gyabwe.
4
Kubanga okwenda kw'omwenzi omulungi kungi nnyo nnyini, omukulu w'obulogo, atunda amawanga n'eby'obwenzi bye, era enda n'obulogo bwe.
5
Laba, ndi mulabe wo bw'ayogera Mukama w'eggye; nange ndibikkula ebirenge byo ku maaso go; nange ndirabisa amawanga obwereere bwo, n'obwakabaka ndibulabisa ensonyi zo.
6
Era ndikusuulira ebyenyinyalwa, era ndikuggyako ekitiibwa, era ndikussaawo okuba ekyerolerwa.
7
Awo olulituuka bonna abalikutunuulira balikudduka ne boogera nti Nineeve kyonoonese; ani anaakikubira ebiwoobe? ndinoonyeza wa abo abalikukubagiza?
8
Osinga Nowamoni obulungi, ekyakubibwa awali emigga, ekyalina amazzi amangi enjuyi zonna; era olukomera lwakyo nnyanja: n'ennyanja yabeera bbugwe waakyo?
9
Obuwesiyopya ne Misiri maanyi gaakyo so tegasingika; aba Puti n'Abalubi be baali ababeezi bo.
10
Naye kyatwalibwa, kyagenda mu buddu; n'abaana baakyo abato baatandaggirwa ku masaŋŋanzira g'enguudo zonna n'ab'ekitiibwa baabakubirako akalulu, n'abakulu be bonna baasibibwa mu njegere.
11
Era naawe olitamiira, olikwekebwa; era naawe olinoonya ekigo ku lw'abalabe.
12
Ebigo byo byonna biriba nga mitiini egibaako ettiini ezisooka okwengera: bwe zikunkumuka, zigwa mu kamwa k'omuli.
13
Laba, abantu bo wakati wo bakazi; enzigi eza wankaaki ez'ensi yo ziggulirwa ddala eri abalabe bo; omuliro ne gulya emikiikiro gyo.
14
Weesenere amazzi olw'okuzingizibwa, nyweza ebigo byo, linnya ku ttaka, samba ebbumba, nyweza ekyokero ky'amatoffaali.
15
Omuliro gulikwokera eyo; ekitala kirikuzikiriza, kirikulya nga kalusejjera; weeyaze nga kalusejjera, weeyaze ng'enzige.
16
Wayaza abasuubuzi bo okusinga emmunyeenye ez'omu ggulu obungi; kalusejjera koonoona ne kabuuka ne kagenda.
17
Ababo abatikkiddwa engule baali ng'enzige; abagabe bo ng'ebifuko by'amayanzi agabeera mu bisagazi ku lunaku lw'empewo, naye enjuba bw'evaayo zidduka, n'ekifo we zibeera tekimanyibwa.
18
Abasumba bo babongoota, ggwe kabaka w'e Bwasuli; abakulu bo ab'ekitiibwa bawummula; abantu bo basaasaanira ku nsozi, so tewali wa kubakuŋŋaanya.
19
Tewali kya kukkakkanya bulumi bwo; ekiwundu kyo kinene; bonna abawulira ebigambo byo bakukubira mu ngalo; kubanga muntu ki obubi bwo gwe butatuukako ennaku zonna?
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
All chapters:
1
2
3