bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
/
Psalms 78
Psalms 78
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
← Chapter 77
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 53
Chapter 54
Chapter 55
Chapter 56
Chapter 57
Chapter 58
Chapter 59
Chapter 60
Chapter 61
Chapter 62
Chapter 63
Chapter 64
Chapter 65
Chapter 66
Chapter 67
Chapter 68
Chapter 69
Chapter 70
Chapter 71
Chapter 72
Chapter 73
Chapter 74
Chapter 75
Chapter 76
Chapter 77
Chapter 78
Chapter 79
Chapter 80
Chapter 81
Chapter 82
Chapter 83
Chapter 84
Chapter 85
Chapter 86
Chapter 87
Chapter 88
Chapter 89
Chapter 90
Chapter 91
Chapter 92
Chapter 93
Chapter 94
Chapter 95
Chapter 96
Chapter 97
Chapter 98
Chapter 99
Chapter 100
Chapter 101
Chapter 102
Chapter 103
Chapter 104
Chapter 105
Chapter 106
Chapter 107
Chapter 108
Chapter 109
Chapter 110
Chapter 111
Chapter 112
Chapter 113
Chapter 114
Chapter 115
Chapter 116
Chapter 117
Chapter 118
Chapter 119
Chapter 120
Chapter 121
Chapter 122
Chapter 123
Chapter 124
Chapter 125
Chapter 126
Chapter 127
Chapter 128
Chapter 129
Chapter 130
Chapter 131
Chapter 132
Chapter 133
Chapter 134
Chapter 135
Chapter 136
Chapter 137
Chapter 138
Chapter 139
Chapter 140
Chapter 141
Chapter 142
Chapter 143
Chapter 144
Chapter 145
Chapter 146
Chapter 147
Chapter 148
Chapter 149
Chapter 150
Chapter 79 →
1
Muwulire, mmwe abantu bange, okulagira kwange: Mutege amatu gammwe eri ebigambo eby'akamwa kange.
2
Naayasama akamwa kange mu lugero: Naayogera ebigambo eby'ekyama eby'edda:
3
Bye twawuliranga, bye twamanyanga, Era bajjajjaffe bye baatubuuliranga.
4
Tetuubikisenga baana baabwe, Nga tubuulira emirembe egijja amatendo ga Mukama, N'amaanyi ge, n'eby'amagero bye bye yakola.
5
Kubanga yanyweza obujulirwa mu Yakobo, Era yalagira etteeka mu Isiraeri, Lye yakuutira bajjajjaffe, Babitegeezenga abaana baabwe:
6
Emirembe egijja gibimanye, be baana abaali bagenda okuzaalibwa; Abaali bagenda okugolokoka n'okubibuulira abaana baabwe:
7
Balyoke basuubirenga Katonda, So balemenga okwerabira emirimu gya Katonda, Naye bakwatenga amateeka ge:
8
So balemenga okuba nga bajjajjaabwe, Emirembe emikakanyavu, emijeemu; Emirembe egitalongoosa bulungi omutima gwagyo, N'omwoyo gwagyo nga tegunywera eri Katonda.
9
Abaana ba Efulayimu, nga balina ebyokulwanyisa n'emitego, Ne bakyuka ennyuma ku lunaku olw'olutalo.
10
Tebaakwata ndagaano ya Katonda, Ne bagaana okutambulira mu mateeka ge;
11
Ne beerabira ebikolwa bye, N'eby'amagero bye bye yabalaga.
12
Yakolera eby'ekitalo mu maaso ga bajjajjaabwe, Mu nsi y'e Misiri, mu nnimiro ya Zowaani.
13
Yayasa mu nnyanja, n'abayisa wakati; N'ayimiriza amazzi ng'entuumo.
14
Era emisana yabakulemberanga n'ekire, N'ekiro kyonna n'omumuli ogw'omuliro.
15
Yayasa amayinja mu ddungu, N'abanywesa amazzi amangi nga gava mu buziba.
16
Era yaviisa ensulo mu jjinja, N'akulukusa amazzi ng'emigga.
17
Naye ne banyiikira nate okumwonoona, Okujeemera oyo ali waggulu ennyo mu ddungu.
18
Ne bakema Katonda mu mutima gwabwe Nga basaba emmere olw'okwegomba kwabwe.
19
Era naye baayogera obubi ku Katonda; Baagamba nti Katonda ayinza okuteekateeka emmeeza mu ddungu?
20
Laba, yakuba ejjinja amazzi ne gatiiriika, Emigga ne gikulukuta; Era ayinza okuwa n'omugaati? Alirabira ennyama abantu be?
21
Mukama kyeyava awulira, n'asunguwala: Omuliro ne gwaka ku Yakobo, Era n'obusungu ne bunyooka ku Isiraeri:
22
Kubanga tebakkiriza Katonda, So tebeesiga bulokozi bwe.
23
Naye n'alagira eggulu waggulu, N'aggulawo enzigi ez'omu ggulu;
24
N'abatonnyesezanga maanu okulya, N'abawanga emmere ey'omu ggulu.
25
Abantu ne balyanga emmere ey'abakulu: Yabaweerezanga ebyokulya n'abakkusa.
26
N'akunsa empewo eziva ebuvanjuba mu ggulu: Era n'aluŋŋamya n'obuyinza bwe empewo eziva obukiika obwa ddyo.
27
Era n'abatonnyeseza ennyama ng'enfuufu, N'ennyonyi ezibuuka ng'omusenyu ogw'ennyanja:
28
N'abigwisa wakati mu lusiisira lwabwe, Okwetooloola ennyumba zaabwe.
29
Awo ne balya, ne bakkuta nnyo; N'abawa kye baali beegomba.
30
Baali nga tebannayawukana n'okwegomba kwabwe, Emmere yaabwe yali ng'ekyali mu bumwa bwabwe,
31
Obusungu bwa Katonda ne bulinnya ku bo, Ne bubattamu abasinga obunene, Ne buzikiriza abavubuka ba Isiraeri.
32
Era naye ebyo byonna bwe byababaako ne boonoona nate, Ne batakkiriza bya magero bye.
33
Kyeyava amalawo ennaku zaabwe okuzifuula obutaliimu, N'emyaka gyabwe mu kutya.
34
Bwe yabatta, bwe baabuuzabuuza okumunoonya: Ne bakomawo ne bakeeranga okunoonya Katonda.
35
Ne bajjukira nga Katonda lwe lwazi lwabwe, Era nga Katonda ali waggulu ennyo ye yabanunula.
36
Naye baamunyumiriza na kamwa kaabwe, Ne bamulimbalimba n'olulimi lwabwe.
37
Kubanga omutima gwabwe tegwalongooka gy'ali, So tebaali beesigwa mu ndagaano ye.
38
Naye ye, kubanga yajjula okusaasira, n'asonyiwa obutali butuukirivu bwabwe, n'atazikiriza: Weewaawo, emirundi emingi yabayisaako obusungu bwe, N'atakubiriza busungu bwe bwonna.
39
Naye n'ajjukira nga bo mubiri bubiri; Empewo eziyita ne zitadda nate.
40
Emirundi nga mingi gye baakamujeemera mu ddungu, Ne bamunakuwaliza mu lukoola!
41
Ne bakyuka nate ne bakema Katonda, Ne banyiiza Omutukuvu wa Isiraeri.
42
Tebajjukira mukono gwe, Newakubadde olunaku lwe yabanunuliramu eri omulabe.
43
Bwe yateeka obubonero bwe mu Misiri, N'eby'amagero bye mu nnimiro ya Zowaani;
44
N'afuula emigga gyabwe omusaayi, N'enzizi zaabwe ne batayinza kunywa.
45
N'atuma mu bo ebitole by'ensowera, ezaabaluma; N'ebikere, ebyabazikiriza.
46
Era n'awa obuwuka ekyengera kyabwe, N'emirimu gyabwe eri enzige.
47
N'atta emizabbibu gyabwe n'omuzira, N'emisukomooli gyabwe n'empeke ennene ez'omuzira.
48
Yawaayo n'ente zaabwe eri omuzira, N'endiga zaabwe eri enjota ezaaka.
49
Yabakasukako obusungu bwe obukambwe, N'okunyiiga, n'okunyiikaala, n'okunakuwala, Ekibiina kya bamalayika abaleeta obubi.
50
Yakubira obusungu bwe ekkubo, Teyasaasira mmeeme zaabwe okufa, Naye n'awaayo obulamu bwabwe eri olumbe;
51
N'akuba ababereberye bonna abaali mu Misiri, Abaasinga amaanyi mu weema za Kaamu:
52
Naye n'aggyamu abantu be ye ng'endiga, N'abaluŋŋamiza mu ddungu ng'ekisibo.
53
N'abakulembera mu mirembe bw'ati n'okutya ne batatya: Naye ennyanja n'esuulira ddala abalabe baabwe.
54
N'abaleeta ku nsalo ey'awatukuvu we, Ku lusozi luno omukono gwe ogwa ddyo lwe gwagula.
55
Era n'agobamu amawanga mu maaso gaabwe, N'agabawa okuba obusika ng'abagerera, N'atuuza ebika bya Isiraeri mu weema zaago.
56
Naye ne bakema Katonda ali waggulu ennyo ne bamujeemera, Ne batakwata bye yategeeza;
57
Naye ne bakyuka ennyuma ne bakuusakuusa nga bajjajjaabwe: Ne bakyama ng'omutego ogw'obulimba.
58
Kubanga baamusunguwazanga n'ebifo byabwe eby'oku nsozi Ne bamukwasanga obuggya n'ebifaananyi byabwe ebyole.
59
Katonda bwe yawulira bw'atyo n'asunguwala, N'atamwa nnyo Isiraeri:
60
N'afuluka mu weema ey'omu Siiro, Eweema gye yali ateese mu bantu;
61
N'awaayo amaanyi ge mu busibe, N'ekitiibwa kye mu mukono gw'omulabe.
62
Era n'agabula abantu be eri ekitala; N'asunguwalira obusika bwe:
63
Omuliro ne gulya abavubuka baabwe; N'abawala baabwe ne batab na luyimba lwa kufumbirwa.
64
Bakabona baabwe ne bafa ekitala; Ne bannamwandu baabwe ne batakuba biwoobe.
65
Mukama n'alyoka azuukuka ng'azuukuka mu tulo, Ng'omuzira ayogerera waggulu ng'anywedde omwenge.
66
N'akuba abalabe be ne baddayo ennyuma: N'abakwasa ensonyi ezitaggwaawo.
67
Era n'agaana eweema ya Yusufu, N'atalonda kika kya Efulayimu;
68
Naye n'alonda ekika kya Yuda, Olusozi Sayuuni lwe yayagala.
69
N'azimba awatukuvu we okufaanana ng'ensozi, Ng'ensi gye yanyweza emirembe gyonna.
70
Era n'alonda Dawudi omuddu we, N'amuggya mu bisibo by'endiga:
71
Mu kugoberera endiga eziyonsa mwe yamuggya, Okulundanga Yakobo be bantu be, ne Isiraeri bwe busika bwe.
72
Awo n'abalundanga mu butuukirivu obw'omutima gwe; N'abaluŋŋamyanga n'amagezi g'emikono gye.
← Chapter 77
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 53
Chapter 54
Chapter 55
Chapter 56
Chapter 57
Chapter 58
Chapter 59
Chapter 60
Chapter 61
Chapter 62
Chapter 63
Chapter 64
Chapter 65
Chapter 66
Chapter 67
Chapter 68
Chapter 69
Chapter 70
Chapter 71
Chapter 72
Chapter 73
Chapter 74
Chapter 75
Chapter 76
Chapter 77
Chapter 78
Chapter 79
Chapter 80
Chapter 81
Chapter 82
Chapter 83
Chapter 84
Chapter 85
Chapter 86
Chapter 87
Chapter 88
Chapter 89
Chapter 90
Chapter 91
Chapter 92
Chapter 93
Chapter 94
Chapter 95
Chapter 96
Chapter 97
Chapter 98
Chapter 99
Chapter 100
Chapter 101
Chapter 102
Chapter 103
Chapter 104
Chapter 105
Chapter 106
Chapter 107
Chapter 108
Chapter 109
Chapter 110
Chapter 111
Chapter 112
Chapter 113
Chapter 114
Chapter 115
Chapter 116
Chapter 117
Chapter 118
Chapter 119
Chapter 120
Chapter 121
Chapter 122
Chapter 123
Chapter 124
Chapter 125
Chapter 126
Chapter 127
Chapter 128
Chapter 129
Chapter 130
Chapter 131
Chapter 132
Chapter 133
Chapter 134
Chapter 135
Chapter 136
Chapter 137
Chapter 138
Chapter 139
Chapter 140
Chapter 141
Chapter 142
Chapter 143
Chapter 144
Chapter 145
Chapter 146
Chapter 147
Chapter 148
Chapter 149
Chapter 150
Chapter 79 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50
51
52
53
54
55
56
57
58
59
60
61
62
63
64
65
66
67
68
69
70
71
72
73
74
75
76
77
78
79
80
81
82
83
84
85
86
87
88
89
90
91
92
93
94
95
96
97
98
99
100
101
102
103
104
105
106
107
108
109
110
111
112
113
114
115
116
117
118
119
120
121
122
123
124
125
126
127
128
129
130
131
132
133
134
135
136
137
138
139
140
141
142
143
144
145
146
147
148
149
150