bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
/
Revelation 4
Revelation 4
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 5 →
1
Oluvannyuma lw'ebyo ne ndaba, era, laba, oluggi olugguddwawo mu ggulu, n'eddoboozi lye nnasooka okuwulira, ng'ery'akagombe, nga lyogera nange, ng'ayogera nti Linnya okutuuka wano, nange nnaakulaga ebigwanira okubeerawo oluvannyuma lw'ebyo.
2
Amangu ago nnali mu Mwoyo: era, laba, entebe ey'obwakabaka yali ng'eteekeddwawo mu ggulu, era nga waliwo eyali atudde ku ntebe;
3
naye eyali atudde yali afaanana ng'ejjinja erya yasepi n'erya sadio okulabika: era nga waliwo ne musoke okwetooloola entebe eyali afaanana nga zumaliidi okulabika.
4
Entebe ey'obwakabaka yali yeetooloddwa entebe ez'obwakabaka amakumi abiri mu nnya: ne ku ntebe kwaliko abakadde amakumi abiri mu bana nga batudde, nga bambadde engoye enjeru; ne ku mitwe gyabwe engule eza zaabu.
5
Ne ku ntebe nga kuvaako okumyansa n'amaloboozi n'okubwatuuka. N'ettabaaza omusanvu ez'omuliro nga zaaka mu maaso g'entebe, gye myoyo omusanvu egya Katonda;
6
ne mu maaso g'entebe ng'ennyanja ey'endabirwamu, efaanana nga kulusitalo; ne wakati w'entebe n'okwetooloola entebe ebiramu bina ebijjudde amaaso mu bwenyi n'ennyuma.
7
N'ekiramu eky'olubereberye kyali kifaanana ng'empologoma, n'ekiramu eky'okubiri, ng'ennyana, n'ekiramu eky'okusatu kyalina amaaso ng'ag'omuntu, n'ekiramu eky'okuna kyali kifaanana ng'empungu ebuuka.
8
N'ebiramu ebina, nga birina buli kimu ebiwaawaatiro mukaaga, bijjudde amaaso enjuyi zonna ne munda: so tebiriiko kuwummula emisana n'ekiro nga byogera nti Omutukuvu, Omutukuvu, Omutukuvu, Mukama Katonda Omuyinza w'ebintu byonna, eyabaawo era abaawo era ajja okubaawo.
9
Era ebiramu bwe birimuwa ekitiibwa n'ettendo n'okwebaza oyo atudde ku ntebe, omulamu emirembe n'emirembe,
10
abakadde amakumi abiri mu bana balivuunama mu maaso g'oyo atudde ku ntebe, era balisinza oyo omulamu emirembe n'emirembe, era balisuula engule zaabwe mu maaso g'entebe, nga boogera nti
11
Osaanidde ggwe, Mukama waffe, Katonda waffe, okuweebwanga ekitiibwa n'ettendo n'obuyinza: kubanga ggwe wabitonda byonna, era byabaawo lwa kusiima kwo, era byatondebwa.
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 5 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
Recommended Reading
Commentary
Revelation Commentaries
→
Devotional
Revelation Devotional Guide
→
Get This Bible
Luganda (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya) Study Bible
→