bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
2 Peter 2
2 Peter 2
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 3 →
1
Nga bwe waaliwo abalanzi ab'obulimba mu bantu ba Katonda, ne mu mmwe bwe walibaawo abayigiriza ab'obulimba. Balireeta mu nkiso okuyigiriza okukyamu okuzikiriza. Era balyegaana Mukama waabwe eyabanunula, ne beereetera okuzikirizibwa amangu.
2
Bangi baligoberera empisa zaabwe embi ez'obukaba, ne bavumaganya Ekkubo ery'amazima.
3
Olw'omululu gwabwe, balifuna amagoba mu mmwe, nga bakozesa ebigambo eby'obulimba. Omulamuzi yamala dda okwetegeka okubasalira omusango okubasinga era oyo ow'okubazikiriza, tasumagira.
4
Katonda teyasaasira bamalayika abaayonoona, wabula yabasuula mu lukonko emagombe, n'abasibira eyo mu kizikiza, okutuusa lwe balisalirwa omusango.
5
Era teyasaasira nsi ey'edda, wabula yaleeta omujjuzo ku nsi y'abatamussaamu kitiibwa. Noowa eyakubirizanga abantu okuyisa obulungi, Katonda gwe yawonyaawo, n'abalala musanvu.
6
Katonda yasalira ebibuga Sodoma ne Gomora omusango, n'abizikiriza n'omuliro, n'abifuula ekyokulabirako eri abo abatalimussaamu kitiibwa.
7
Yawonya Looti eyali akola ebituufu, era eyali asobeddwa ennyo olw'empisa ez'obukaba ez'abantu ababi.
8
Omuntu oyo eyali akola ebituufu, ebikolwa byabwe eby'obujeemu bye yalabanga ne bye yawuliranga ng'ali mu bo, buli lunaku byamuleeteranga okunyolwa mu mwoyo gwe omulungi.
9
Mukama amanyi okuggya mu buzibu abo abassaamu Katonda ekitiibwa, n'okukuuma ababi okutuusa ku lunaku olw'okusalirwako omusango babonerezebwe,
10
naddala abo abagoberera okwegomba okubi okw'omubiri ne banyooma okufugibwa Katonda. Abayigiriza ab'obulimba abo tebaliiko kye batya. Beefaako bokka, tebakwatibwa nsonyi kuvuma baakitiibwa.
11
Sso newaakubadde nga bamalayika be basinga abantu bano amaanyi n'obuyinza, tebabawawaabira mu maaso ga Mukama nga babavuma.
12
Abantu bano bali ng'ensolo obusolo ezitalina magezi, ezizaalibwa okukwatibwa zittibwe. Bavuma ebintu bye batategeera. Nabo balizikirizibwa ng'ensolo ezo,
13
baboneebone, nga ye mpeera y'ebibi byabwe. Essanyu lyabwe, kwe kumala olunaku lwonna mu bisanyusa emibiri gyabwe. Be bantu abakwasa ensonyi, era abaswaza, bwe beegatta mu mmwe okulya, sso nga batiguka mu masanyu gaabwe.
14
Amaaso gaabwe gajjudde obwenzi. Tebakkuta kibi. Basendasenda abantu abatali banywevu. Emitima gyabwe gijjudde omululu. Ba kuzikirira.
15
Baaleka ekkubo ettuufu, ne bawaba, ne bakwata ekkubo lya Balamu omwana wa Bewori, eyayagala okukola ekibi alyoke afune empeera,
16
kyokka n'anenyezebwa olw'ekibi kye, endogoyi eteyogera, bwe yayogera ng'omuntu, n'eziyiza eddalu ly'omulanzi oyo.
17
Abantu abo, bali ng'enzizi ezitaliimu mazzi, era ng'ebire ebitwalibwa embuyaga. Ekifo ekibakuumirwa, kya kizikiza ekikutte zzigizigi.
18
Boogera ebigambo eby'okwekuza era ebitaliimu makulu, ne basendasenda mu kwegomba okubi okw'omubiri ne mu bukaba, abo abaakava mu bantu abali mu nsobi.
19
Babasuubiza eddembe, sso nga bo bennyini empisa embi zibafuga buddu, kubanga omuntu aba muddu w'ekyo ekimuwangudde.
20
Abo abadduka obugwagwa bw'ensi, olw'okumanya Mukama waffe era Omulokozi Yesu Kristo, ate ne baddamu okubwesibamu ne bubawangula, embeera yaabwe ey'oluvannyuma, eba mbi okusinga eyasooka.
21
Abantu abo, ekyandibasingidde obulungi, bwe butamanya kkubo lya butuukirivu, okusinga lwe bamala okulimanya ne balivaamu, era ne bava ku biragiro ebitukuvu ebyabaweebwa.
22
Ekyabatuukako kikakasa nti olugero lutuufu olugamba nti: “Embwa eddidde ebisesemye byayo.” Era nti: “Embizzi enaaziddwa, ezzeemu okwekulukuunya mu bitosi.”
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 3 →
All chapters:
1
2
3