bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
2 Peter 3
2 Peter 3
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
1
Abaagalwa, kaakano eno ye bbaluwa yange eyookubiri gye mbawandiikira. Mu bbaluwa zombi ngezezzaako okubakubiriza okuba n'endowooza eteriimu bukuusa,
2
mulyoke mujjukire ebigambo ebyayogerwa edda abalanzi abatukuvu, n'ebiragiro bya Mukama era Omulokozi, ebyabaweebwa abatume bammwe.
3
Okusookera ddala, mumanye kino nti mu nnaku ez'oluvannyuma, walibaawo abantu abagoberera okwegomba kwabwe okubi. Abantu abo balibasekerera mmwe,
4
nga bagamba nti: “Eyasuubiza nti alijja aluwa? Kasookedde bajjajjaffe bafa, ebintu byonna bikyali nga bwe byali okuviira ddala ku kutondebwa kw'ensi!”
5
Kino bakyeyisaako bweyisa. Bamanyi nti edda Katonda yayogera bwogezi, eggulu n'ensi ne bitondebwa, ensi n'ekolebwa ng'eggyibwa mu mazzi, era n'eteekebwa wakati waago.
6
Amazzi ago era ge gaasaanyaawo ensi ey'edda, n'ezikirira.
7
Ekigambo kya Katonda ekyo kyennyini, kye kibeesaawo eggulu n'ensi ebiriwo kaakano, ne kibikuuma okutuusa lwe biryokebwa omuliro ku lunaku olw'okusalirako omusango, n'okuzikirira kw'abantu abatassaamu Katonda kitiibwa.
8
Abaagalwa, kino temukyerabiranga nti eri Mukama, olunaku olumu kye kimu n'emyaka olukumi, n'emyaka olukumi kye kimu n'olunaku olumu.
9
Mukama talwawo kutuukiriza kye yasuubiza ng'abamu bwe balowooza, kyokka abagumiikiriza mmwe, nga tayagala wabeewo azikirira, wabula bonna beenenye.
10
Naye Olunaku Mukama lw'alisalirako omusango lulijja ng'omubbi. Ku olwo eggulu lirivaawo nga liwuuma nnyo, n'ebiririko birisaanuusibwa omuliro, era ensi n'ebigikolerwako birisirikka.
11
Oba ng'ebintu ebyo byonna bigenda kuzikirizibwa bwe bityo, mugwanidde kubeera mutya? Mu bulamu bwammwe mugwanidde kuba batukuvu era abassaamu Katonda ekitiibwa,
12
nga mulindirira era nga mwegomba nnyo Olunaku Katonda lw'alisalirako omusango lutuuke. Ku lunaku olwo, eggulu lirikoleera omuliro ne liggya, n'ebiririko birisaanuusibwa omuliro.
13
Kyokka nga Katonda bwe yatusuubiza, tulindirira eggulu eriggya n'ensi empya, omuli obutuukirivu.
14
Kale abaagalwa, nga bwe mulindirira ebyo, mufube, Mukama abasange nga muli mirembe mu maaso ge, nga temuliiko bbala wadde akamogo.
15
Mumanye nti okugumiikiriza kwa Mukama waffe, gwe mukisa gwammwe ogw'okulokolebwa. Ne muganda waffe omwagalwa Pawulo bw'atyo bwe yabawandiikira mu magezi Katonda ge yamuwa.
16
Ebyo abyogerako mu bbaluwa ze zonna. Mu zo mulimu ebimu ebizibu okutegeera, abantu abatamanyi n'abatali banywevu, bye bakyamya, nga bwe bakola ne ku byawandiikibwa ebirala, ne kibaviiramu okuzikirira.
17
Kale nno mmwe abaagalwa, nga ebyo bwe mubitegedde nga bukyali, mwerinde muleme kubuzibwabuzibwa bukyamu bw'ababi, ne muva we munyweredde.
18
Naye mukule nga muyambibwa Mukama waffe era Omulokozi Yesu Kristo, nga mweyongera okumumanya. Yennyini aweebwenga ekitiibwa, kaakano n'emirembe gyonna. Amiina.
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
All chapters:
1
2
3