bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Titus 1
Titus 1
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 2 →
1
Nze Pawulo omuweereza wa Katonda, era omutume wa Yesu Kristo. Natumibwa nnyongere mu balondemu ba Katonda okukkiriza, era mbamanyise amazima g'eddiini yaffe,
2
ageesigamye ku kusuubira obulamu obutaggwaawo, Katonda atayinza kulimba bwe yatusuubiza okuva edda n'edda lyonna.
3
Ekiseera bwe kyatuuka, obulamu obwo n'abulagira mu bigambo, bye yankwasa mbitegeeze abantu, nga Katonda Omulokozi waffe bwe yalagira.
4
Nkuwandiikira ggwe Tito omwana wange ddala, mu kukkiriza kwaffe ffenna. Katonda Kitaffe ne Yesu Kristo Mukama waffe bakukwatirwe ekisa, era bakuwe emirembe.
5
Nakuleka mu Kureete, olyoke otereeze ebyo ebyetaaga okutereezebwa, era oteekewo abakulembeze b'ebibiina by'abakkiriza Kristo, mu buli kibuga, nga bwe nakulagira.
6
Oyo gw'olonda, asaanye okuba nga taliiko ky'anenyezebwamu, era ng'alina omukazi omu. Abaana be bateekwa okuba nga bakkiriza, era nga tebabalirwa mu balalulalu, wadde mu batali bawulize,
7
kubanga omulabirizi nga bw'ali omuweereza wa Katonda, ateekwa okuba nga taliiko ky'anenyezebwamu, nga teyeekulumbaza, nga tasunguwala mangu, nga tatamiira, nga si mukambwe, era nga talulunkanira byakufuna.
8
Wabula ateekwa okuba ng'amanyi okwaniriza abagenyi, era ng'ayagala obulungi, nga mwegendereza, nga mwenkanya, nga mutukuvu, era ng'amanyi okwefuga.
9
Ateekwa okuba omuntu anywerera ku bigambo eby'amazima, nga bwe yabiyigirizibwa, alyoke asobole okunnyonnyola abantu enjigiriza entuufu, era n'okulaga obukyamu bw'abo abagiwakanya.
10
Waliwo bangi abajeemu, naddala abamu ku bakomole, aboogera ebitaliimu era abalimba.
11
Abo basaanye okusirisibwa, kubanga boonoona buli maka, nga bayigiriza ebitasaana, balyoke beefunire amagoba amabi.
12
Omu mu bo, era omulanzi yagamba nti: “Ab'e Kureete bulijjo balimba; zensolo embi, ze mbuto engayaavu!”
13
Kye yagamba kya mazima. N'olwekyo, oteekwa okubanenyanga n'amaanyi, balyoke babe n'okukkiriza okutuufu.
14
Balemenga okussa omutima ku nfumo ez'obulimba ez'Ekiyudaaya, wadde ku biragiro, abantu abagaana amazima bye bagunja.
15
Eri abalongoofu, ebintu byonna biba birongoofu. Naye eri abo abatali balongoofu n'abatakkiriza, tewaba kirongoofu, kubanga amagezi gaabwe n'ebirowoozo byabwe byayonooneka.
16
Bagamba nti bamanyi Katonda, naye mu bikolwa byabwe bamwegaana. Bagwenyufu era bajeemu; tebasaanira mulimu mulungi na gumu.
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 2 →
All chapters:
1
2
3