bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Titus 2
Titus 2
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 3 →
1
Naye ggwe yigirizanga ebyo ebitabagana n'enjigiriza entuufu.
2
Kubirizanga abasajja abakulu babenga bateefu, abassibwamu ekitiibwa, abeegendereza, abatuukiridde mu kukkiriza, mu kwagala, ne mu kugumiikiriza.
3
Abakazi abakulu nabo bakubirizenga bw'otyo, babenga n'empisa ezisaanira abantu ba Katonda, nga tebawaayiriza, era nga tebatamiira. Bateekwa okuyigirizanga ebirungi,
4
balyoke bagunjule abakazi abato okwagalanga babbaabwe n'abaana baabwe.
5
Era babenga beegendereza, abakola obulungi emirimu mu maka gaabwe; ab'ekisa era abawulize eri babbaabwe, ekigambo kya Katonda kiremenga kuvvoolebwa.
6
N'abavubuka bakubirizenga babenga beegendereza.
7
Era ggwe oteekwa okuba ekyokulabirako ekirungi mu byonna by'okola, ng'oli mwesimbu era ow'amazima mu kuyigiriza kwo.
8
Buli ky'oyogera kiteekwa okuba ekituufu, era nga tekiriiko kye kinenyezebwamu, oyo akiwakanya alyoke aswale, olw'obutaba na kibi ky'atwogerako.
9
Kubirizanga abaddu bawulirenga bakama baabwe, era babasanyusenga mu byonna, nga tebabawakanya,
10
wadde okubabbako ebyabwe. Naye balagenga obwesigwa obw'amazima mu byonna, abantu balyoke basiime enjigiriza ya Katonda Omulokozi waffe.
11
Kubanga ekisa kya Katonda ekireetera abantu bonna okulokolebwa kirabise.
12
Era kituyigiriza okulekayo obutassaamu Katonda kitiibwa, n'okulekayo okwegomba kw'ensi, tulyoke tube bateefu, abeesimbu, era abassaamu Katonda ekitiibwa nga tuli ku nsi kuno,
13
era tube nga tulindirira olunaku olw'omukisa lwe tusuubira, era nga tulindirira okulabika kw'ekitiibwa kya Katonda omukulu era Omulokozi waffe Yesu Kristo.
14
Kristo oyo yeewaayo ku lwaffe, alyoke atununule mu bibi byaffe byonna, atufuule abantu be abalongoofu, abanyiikirira okukola ebirungi.
15
Ebyo by'obanga oyogera ng'obuulirira, era ng'onenya abantu bo n'obuyinza bwonna. Tewabangawo akunyooma.
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 3 →
All chapters:
1
2
3