bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Haggai 1
Haggai 1
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 2 →
1
Mu mwaka ogwokubiri ogwa kabaka Dariyo, ku lusooka mu mwezi ogwomukaaga ekigambo ky'Omukama kyajja nga kiyita mu Aggayi omulanzi eri Zerubabbeli mutabani wa Seyalutyeli owessaza mu Yuda, n'eri Yoswa mutabani wa Yozadaki kabona omukulu, nga kibagamba nti:
2
“Omukama w'Amagye kino ky'agamba: Abantu bano bagamba nti: ‘Obudde tebunnatuuka kuzimba Kiggwa kya Mukama.’ ”
3
Awo ekigambo ky'Omukama ne kijja nga kiyita mu Aggayi omulanzi nti:
4
“Kano ke kadde mmwe okusula mu mayumba amatindire kyo Ekiggwa ky'Omukama nga kikyali matongo?
5
Kale nno Omukama w'Amagye kino ky'agamba: Mwekkaanye amakubo gammwe.
6
Mwasiga bingi naye mukungudde katono; mulya naye temukkuta; munywa naye temumatira; mwambala engoye naye temubuguma; musasulibwa empeera naye mugissa mu nsawo za bituli.
7
Omukama w'Amagye kino ky'agamba: Mwekkaanye amakubo gammwe.
8
Mwambuke mu nsozi, muleete emiti, muzimbe Ekiggwa kinsanyuse ate nange ngulumizibwe, Omukama y'agamba.
9
Mwalindirira bingi, naye ekizze kitono; kye mwaleeta eka nakifuuwa eri. Lwaki? Omukama w'Amagye y'agamba. Kubanga Ekiggwa kyange kikyali matongo, sso nga mmwe buli omu yeefunyiridde ku nnyumba ye.
10
Olw'okubeera mmwe, eggulu kyerivudde lisiba omusulo gwalyo n'ettaka ekibala kyalyo.
11
Ne mpita ekyeya kijje ku ttaka, ku nsozi, ku ŋŋano, ku vviini ensu, ku muzigo, ku buli kyonna ettaka kye libaza, ku bantu, ku nsolo na ku byonna emikono gyammwe bye gikola.”
12
Awo Zerubabbeli mutabani wa Seyalutyeli ne Yoswa mutabani wa Yozadaki kabona omukulu n'abaasigalawo bonna mu bantu ne bawulira eddoboozi ly'Omukama Katonda waabwe n'ebigambo bya Aggayi Omulanzi ng'Omukama Katonda waabwe bwe yali amubatumidde; abantu ne batya Omukama.
13
Aggayi omubaka w'Omukama n'agamba abantu obubaka bw'Omukama nti: “Ndi nammwe, Omukama y'agamba.”
14
Omukama n'asiikuula omwoyo gwa Zerubabbeli mutabani wa Seyalutyeli owessaza mu Yuda n'omwoyo gwa Yoswa mutabani wa Yozadaki kabona omukulu n'omwoyo gw'abaasigalawo bonna mu bantu, ne bajja ne batandika okukola ku Kiggwa ky'Omukama w'Amagye, Katonda waabwe,
15
ku lunaku olw'amakumi abiri mu ennya olw'omwezi ogwomukaaga, mu mwaka ogwokubiri ogwa Kabaka Dariyo.
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 2 →
All chapters:
1
2