bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Haggai 2
Haggai 2
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
1
Mu mwezi ogwomusanvu, ku lunaku olwabiri mu olumu, ekigambo ky'Omukama ne kijja nga kiyita mu Aggayi omulanzi nti:
2
“Yogera eri Zerubabbeli mutabani wa Seyalutyeli owessaza mu Yuda n'eri Yoswa mutabani wa Yozadaki kabona omukulu n'eri abaasigalawo mu bantu obabuuze nti:
3
‘Mu mmwe ani akyasigaddewo eyalaba ku Kiggwa kino mu kitiibwa kyakyo ekyasooka? Ate kati mukiraba mutya? Tekibafaananira ng'omutali kantu?
4
Naye nno kati guma, Zerubabbeli, Omukama y'agamba. Guma, Yoswa mutabani wa Yozadaki kabona omukulu. Mugume nammwe abantu ab'omu ggwanga, Omukama w'amagye y'agamba. Mukole, kubanga ndi nammwe, Omukama w'Amagye y'agamba.
5
Kino kye nalagaana nammwe lwe mwali mu nsi y'e Misiri; Mwoyo wange ali mu mmwe; muleke kutya.
6
Omukama w'Amagye kino ky'agamba: Mu kabanga katono nzija kuyuuguumya eggulu n'ensi n'ennyanja n'olukalu.
7
Nzija kunyeenya amawanga gonna, awo obugagga bw'amawanga gonna bujja kujja, nzija kujjuza Ekiggwa kino n'ekitiibwa, Omukama w'Amagye y'agamba.
8
Ffeeza wange ne zaabu wange, Omukama w'Amagye y'agamba.
9
Ekitiibwa eky'oluvannyuma eky'Ekiggwa kino kirikira wala ekyasooka, Omukama w'Amagye y'agamba. Mu kifo kino nzija kuweerangamu emirembe, Omukama w'Amagye y'agamba.’ ”
10
Ku lunaku olwabiri mu ennya olw'omwezi ogwomwenda, mu mwaka ogwokubiri ogwa kabaka Dariyo ekigambo ky'Omukama ne kijjira Aggayi omulanzi nti:
11
“Omukama w'Amagye kino ky'agamba: Buuza bakabona etteeka kye ligamba nti:
12
‘Singa omuntu atwala ennyama emponge mu kikondoolo ky'ekyambalo kye, ne kimala kikoona ku mugaati oba ku nva, oba ku vviini oba ku muzigo oba ku mmere endala yonna, kye kikoonyeeko kifuuka kiwonge?’ ” Bakabona ne baddamu nti: “Nedda.”
13
Aggayi n'agamba nti “Oli atali mulongoofu olw'okukwata ku mulambo, bw'akwata ku kimu ku ebyo nakyo kifuuka kitali kirongoofu?” Bakabona ne baanukula nti: “Kiba si kirongoofu.”
14
Aggayi n'ayanukula n'agamba nti: “Bwe kityo nno n'abantu bano, eggwanga lino, bwe bali mu maaso gange, Omukama y'agamba. Buli kyonna kye bakola n'emikono gyabwe na byonna bye baweerereza wano si birongoofu!
15
“Okuva n'olwa leero n'okweyongerayo kino mukyekkaanye: Ejjinja bwe lyali terinnassibwa ku linnaalyo ku Kiggwa ky'Omukama,
16
mwali muli mutya? Oli bwe yajjanga ku ntuumu y'ebipimo amakumi abiri, kwalingako kkumi. Bwe yagendanga ku ttogero ly'omwenge aseneko ebipimo amakumi ataano, mwabangamu amakumi abiri.
17
Byonna bye mwakola nabikuba ne nnabbambula, okugengewala, n'omuzira, naye era temwakomawo gye ndi, Omukama y'agamba.
18
Okuva n'olwa leero n'okweyongerayo, okuva ku lw'abiri mu ennya olw'omwezi ogwomwenda, mwekkaanye olunaku Ekiggwa ky'Omukama lwe kyabangibwa. Mwekkaanye.
19
Ensigo ekyalimu mu kyagi? N'okutuusa kati omuzabbibu, omukunyu, ekkomamawanga n'oliva tebinnaleeta kibala? Okuva n'olwa leero n'okweyongerayo nzija kubawanga omukisa.”
20
Ate ekigambo ky'Omukama ne kijjira Aggayi omulundi ogwokubiri, ku lunaku olwabiri mu ennya olw'omwezi nti:
21
“Gamba Zerubabbeli owessaza mu Yuda nti: ‘Nzija kuyuuguumya eggulu n'ensi.
22
Nzija kusuula nnamulondo za bakabaka, nseseggule amaanyi g'obwakabaka mu mawanga; nzija kuvuunika ebigaali n'abagoba baabyo; embalaasi zijja kugwa n'abeebagazi baakwo, buli omu attibwe ekitala kya munne.
23
Ku olwo, Omukama w'Amagye y'agamba, nzija kuddira ggwe Zerubabbeli omuweereza wange mutabani wa Seyalutyeli, Omukama y'agamba, nkuteekewo ng'akabonero k'empeta yange, kubanga nkulonze, y'agamba Omukama w'Amagye.’ ”
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
All chapters:
1
2