bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
2 Thessalonians 1
2 Thessalonians 1
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 2 →
1
Pawulo ne Sirwano ne Timoseewo eri ekkanisa ey'Abasessaloniika mu Katonda Kitaffe ne Mukama waffe Yesu Kristo;
2
ekisa kibeerenga gye muli n'emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe ne Mukama waffe Yesu Kristo.
3
Kitugwanidde okwebazanga Katonda ennaku zonna ku lwammwe, ab'oluganda, nga bwe kisaana, kubanga okukkiriza kwammwe kukula nnyo, n'okwagalana kwa buli muntu kw'alina eri munne kweyongera.
4
Naffe bennyini n'okwenyumiriza ne twenyumiririzanga mu mmwe mu kkanisa za Katonda olw'okugumiikiriza kwammwe n'okukkiriza mu kuyigganyizibwa kwammwe kwonna n'okubonaabona bye mugumira.
5
Ebyo ke kabonero k'omusango gwa Katonda ogw'ensonga; mulyoke musaanyizibwe obwakabaka bwa Katonda, n'okubonaabona bwe mubonaabonera.
6
Kuba ddala kya nsonga eri Katonda okubasasula okubonaabona abo abababonyaabonya,
7
era nammwe ababonyaabonyezebwa okubasasula okuwummula awamu naffe, mu kubikkulibwa kwa Mukama waffe Yesu okuva mu ggulu awamu ne bamalayika be ab'obuyinza mu muliro ogwaka.
8
Aliwalana eggwanga ku abo abatamanyi Katonda, n'abo abatagondera njiri ya Mukama waffe Yesu.
9
Balibonerezebwa, n'okuzikirira okw'emirembe n'emirembe, n'okugobebwa okuva mu maaso ga Mukama waffe ne mu kitiibwa ky'amaanyi ge.
10
Bw'alijja ku lunnaku olwo okuweebwa ekitiibwa mu batukuvu be, n'okwewuunyizibwa mu bonna abakkiriza (kubanga okutegeeza kwaffe gye muli kwakkirizibwa) ku lunaku luli.
11
Kyetuva tubasabira ennaku zonna, Katonda waffe abasaanyize okuyitibwa kwammwe, era atuukirize buli kye mwagala eky'obulungi na buli mulimu gwe mukola olw'okukkiriza mu maanyi ge.
12
Bwerityo erinnya lya Mukama waffe Yesu liryoke liweebwe ekitiibwa mu mmwe, era nammwe mu ye ng'ekisa kya Katonda waffe ne Mukama waffe Yesu Kristo bwe kiri.
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 2 →
All chapters:
1
2
3