bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
2 Thessalonians 2
2 Thessalonians 2
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 3 →
1
Kaakano ebikwata ku kujja kwa Mukama waffe Yesu Kristo, n'olw'okukuŋŋaana kwaffe okumusisinkana, tubeegayirira ab'oluganda,
2
obutasagaasagana mangu mu magezi gammwe, newakubadde okweraliikirira newakubadde olw'omwoyo, newakubadde olw'ebbaluwa efaanana ng'evudde gyetuli, nti olunaku lwa Mukama waffe lutuuse.
3
Omuntu yenna tabalimbanga mu kigambo kyonna kyonna; kubanga olunaku olwo terulijja wabula ng'okwawukana kuli kumaze kubaawo, era omuntu oli ow'okwonoona nga alimala okubikkulwa, omwana w'okuzikirira,
4
aziyiza era eyeegulumiza okusinga buli kintu ekiyitibwa Katonda oba ekisinzibwa, n'okutuula n'atuula mu Yeekaalu ya Katonda, nga yeeraga yekka nti ye Katonda.
5
Temujjukira, nga bwe nnali nga nkyali gye muli, nnababuulira ebyo?
6
Era ne kaakano ekirobera mukimanyi, alyoke abikkulwe mu ntuuko ze.
7
Kubanga ne kaakano ekyama eky'obujeemu weekiri kikola, wabula kyokka aziyiza kaakano okutuusa lw'aliggibwawo.
8
Awo omujeemu oli n'alyoka abikkulwa, Mukama waffe Yesu gw'alitta n'omukka ogw'omu kamwa ke, era gw'alizikiriza n'okulabisibwa kwe n'okujja kwe.
9
Naye okujja kw'oyo atakwata mateeka, olw'okukola kwa Setaani kulijja n'amaanyi gonna n'obubonero n'eby'amagero eby'obulimba,
10
n'okukyamya kwonna okutali kwa butuukirivu eri abo ababula; kubanga bagaana okwagala amazima, balyoke balokoke.
11
Katonda kyava abasindikira okukyamya okw'amaanyi, bakkirize eby'obulimba,
12
bonna balyoke basalirwe omusango abatakkiriza mazima naye abasanyukira obutali butuukirivu.
13
Naye kitugwanidde ffe okwebazanga Katonda ennaku zonna ku lwammwe, ab'oluganda abaagalwa Mukama waffe, kubanga Katonda yabalondera obulokozi okuva ku lubereberye mu kutukuzibwa Omwoyo n'okukkiriza amazima.
14
Kino yakibayitira okuyita mu njiri yaffe, mulyoke mufune ekitiibwa kya Mukama waffe Yesu Kristo.
15
Kale nno, ab'oluganda, muyimirirenga, era munywezenga bye mwaweebwa ne muyigirizibwa, oba mu kigambo oba mu bbaluwa yaffe.
16
Naye Mukama waffe Yesu Kristo yennyini, ne Katonda Kitaffe, eyatwagala n'atuwa okusanyusa okutaggwaawo n'essuubi eddungi mu kisa,
17
abasanyuse emitima gyammwe aginywezenga mu buli kikolwa n'ekigambo ekirungi.
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 3 →
All chapters:
1
2
3