bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Lamentations 1
Lamentations 1
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 2 →
1
Ekibuga nga kitudde kyokka ekyajjulanga abantu! Nga kifuuse okuba nga nnamwandu, Ekyabanga omukulu mu mawanga! Ekyali omumbejja mu bibuga, Kifuuse twale.
2
Kikaaba nnyo nnyini ekiro, n'amaziga, gali ku matama gaakyo; Mu baganzi baakyo bonna tewali n'omu wa ku kisanyusa; Mikwano gyakyo gyonna bakiriddemu olukwe, Bafuuse balabe baakyo.
3
Yuda agenze mu busibe, olw'okubonyaabonyezebwa n'olw'obuddu obuzito; Kaakano abeera mu mawanga, naye talaba kiwummulo. Abamugoba bonna bamuyisizza wakati mu bulumi bwe.
4
Amakubo ga Sayuuni gakaaba, kubanga tewali n'omu ajja ku mbaga ezaateekebwawo; Emiryango gye gyonna girekeddwawo, bakabona be basinda. Bawala be bawaluddwa ne bagyibwawo, naye yennyini abonaabona nnyo.
5
Abalabe be bafuuse omutwe, abamukyawa balabye omukisa; Kubanga Mukama amubonyabonyezza olw'olufulube lw'ebyonoono bye; Abaana be abato bagenze mu kusibibwa mu maaso g'omulabe.
6
Era omuwala wa Sayuuni afiiriddwa obukulu bwe bwonna. Abakungu be bafuuse ng'ennangaazi ezitalaba muddo, Era ezidduka nga tezirina maanyi mu maaso g'oyo azigoba.
7
Yerusaalemi ajjukirira mu nnaku ez'okulabiramu ennaku n'obuyinike, Ebintu bye byonna ebisanyusa ebyabangawo okuva mu nnaku ez'edda. Abantu be bwe baagwa mu mukono gw'omulabe, so nga tewali amuyamba, Abalabe bamulaba ne bakudaalira okugwa kwe.
8
Yerusaalemi yayonoona nnyo nnyini, kyavudde afuuka ng'ekintu ekitali kirongoofu. Bonna abaamussangamu ekitiibwa bamunyoomye, kubanga balabye ensonyi ze. Weewaawo, ye kennyini asinda, era n'akyusa amaaso ge n'agatunuza eri.
9
Empitambi ye yali mu birenge bye; teyalowooza ku kuzikirira kwe; Kyavudde akkakkanyirizibwa ddala; talina amusanyusa. Ayi Mukama, tunuulira okubonyaabonyezebwa kwange; kubanga omulabe yeegulumizizza.
10
Omulabe agolodde omukono gwe, ku bintu bye byonna eby'obugagga. Kubanga alabye nga amawanga bayingidde mu kifo kye ekitukuvu. Abo beewagaana okuyingiranga mu kibiina kyo.
11
Abantu be bonna bassa ebikkowe, nga banoonya emmere; Bawaddeyo ebintu byabwe eby'obugagga, okugula emmere okuweezaweeza emmeeme yaabwe. “Tunula ayi Mukama, olabe; kubanga nfuuse ataliiko ky'agasa.”
12
“Temufaayo, mmwe mwenna abayitawo?” Mutunule mulabe oba nga waliwo obuyinike bwonna obwenkana obuyinike bwange obukoleddwa nze, Mukama bw'ambonyabonyezezza ku lunaku olw'ekiruyi kye.
13
Yaweereza omuliro mu magumba gange ng'asinziira waggulu, ne gugawangula. Ategedde ebigere byange ekitimba, anzizizza emabega, Andeeseeko okuwuubaala n'okuzirika n'okuyongobera okuzibya obudde.
14
Ekikoligo ky'ebyonoono byange, omukono gwe gukisibye; byezinzezinze, birinnye ku nsingo yange; amazeewo amaanyi gange, Mukama angabudde mu mikono gy'abo be siyinza kuyimirira mu maaso gaabwe.
15
Mukama anyoomye abasajja bange bonna ab'amaanyi abali wakati mu nze; Ankuŋŋaanyirizzaako okukuŋŋaana okutukuvu okubetenta abavubuka bange; Mukama asambye omuwala wa Yuda atamanyi musajja nga asamba emizabbibu mu ssogolero.
16
Olw'ebyo kyenvudde nkaaba amaziga; eriiso lyange, eriiso lyange likulukuta amazzi; Kubanga omukubagiza eyandisanyusizza emmeeme yange andi wala; Abaana bange balekeddwawo, kubanga omulabe awangudde.
17
Sayuuni ayanjuluzza emikono gye; naye tewali amukubagiza; Mukama alagidde ebya Yakobo nti baliraanwa be babeere abalabe be; Yerusaalemi ali mu bo ng'ekintu ekitali kirongoofu.
18
Mukama mutuukirivu; kubanga njeemedde ekiragiro kye; Muwulire, mbeegayiridde, mmwe amawanga gonna, mulabe obuyinike bwange; Abawala bange n'abalenzi bagenze mu busibe.
19
N'ayita baganzi bange, naye ne bannimba; Bakabona bange, n'abakadde bange baaweerayo obulamu bwabwe mu kibuga, Nga bwe beenoonyeza emmere okuweezaweeza emmeeme zaabwe.
20
Tunula, ayi Mukama; kubanga ndi munaku, emmeeme yange yeeraliikiridde; Omutima gwange gukyuse munda yange; kubanga njeemye nnyo nnyini. Ebweru ekitala kinyaga, mu nju mulimu ng'okufa.
21
Bawulidde nga nzisa ebikkowe; tewali na wa kunkubagiza; Abalabe bange bonna bawulidde ennaku ze ndabye; basanyuse kubanga okireese. Leeta olunaku lwe walangirira, nabo balifaanana nga nze.
22
Obubi bwabwe bwonna butuuke mu maaso go; Era obakole nga bw'onkoze nze olw'okusobya kwange kwonna; Kubanga ebikkowe bye nzisa bingi, n'omutima gwange guyongobedde.
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 2 →
All chapters:
1
2
3
4
5