bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Lamentations 3
Lamentations 3
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 4 →
1
Nze ndi muntu oyo, eyalaba ennaku wansi w'omuggo ogw'obusungu bwe.
2
Yantwala n'antambuliza mu kizikiza so si mu musana.
3
Mazima ku nze kwakyusiriza omukono gwe buli kiseera okuzibya obudde.
4
Omubiri gwange n'olususu lwange abikadiyizza; amenye amagumba gange.
5
Anzingizizza n'anneetoolooza omususa n'okulumwa.
6
Antuuzizza mu bifo eby'ekizikiza ng'abo abaafa edda.
7
Ankomedde olukomera n'okuyinza ne siyinza kufuluma; azitoyeza olujegere lwange.
8
Weewaawo, ne bwe nkaaba ne nkuba enduulu okubeerwa, aggalira okusaba kwange.
9
Akomedde amakubo gange, n'amayinja amateme, akyamizza amakubo gange.
10
Ali gye ndi ng'eddubu eteega, ng'empologoma eri mu bifo eby'ekyama.
11
Akyamizza olugendo lwange, n'antaagulataagula; andesse awo ttayo.
12
Anaanudde omutego gwe, n'anteekawo okuba sabbaawa w'akasaale ke.
13
Ayingizizza mu mmeeme yange obusaale obuli mu mufuko gwe.
14
Nfuuse eky'okusekererwa eri abantu bange bonna; n'oluyimba lwabwe okuzibya obudde.
15
Anzikusizza obubalagaze, annyiyizza ebikaawa.
16
Aleetedde amannyo gange okumeketa oluyinjayinja, n'okwekulukunya mu vvu.
17
Era wayawula emmeeme yange okuba ewala n'emirembe; nneerabidde essanyu bwe lifaanana.
18
Ne njogera nti, “Ekitiibwa kyange kigenze, n'okusuubira kwange okuva eri Mukama.”
19
Jjukira ennaku zange n'obuyinike bwange, abusinso n'omususa!
20
Emmeeme yange ekyabijjukira, era ekutamye munda yange.
21
Nkijjukira ekyo, era kyenvudde mbeera n'okusuubira.
22
Kwe kusaasira kwa Mukama, ffe obutamalwawo, kubanga ekisa kye, tekiggwaawo.
23
Kiba kiggya buli nkya; obwesigwa bwo bungi.
24
“Mukama gwe mugabo gwange,” emmeeme yange bw'eyogera; “bw'entyo nnasuubiriranga mu ye.”
25
Mukama aba mulungi eri abo abamulindirira, eri emmeeme emunoonya.
26
Kirungi omuntu okusuubiranga n'okulindiriranga obulokozi bwa Mukama ng'agumiikiriza.
27
Kirungi omuntu okusitula ekikoligo mu buto bwe.
28
Atuule yekka asirike, kubanga abimukwassizza.
29
Ateeke akamwa ke mu nfuufu oba nga mpozzi wanaabaawo okusuubira.
30
Aweeyo ettama lye eri oyo amukuba; agumire okuvumibwa.
31
Kubanga Mukama, talitusuula ennaku zonna.
32
Kubanga newakubadde ng'aleeta obuyinike, naye alikwatibwa ekisa, ng'obugazi bw'okusaasira kwe okutuukiridde bwe buli.
33
Kubanga tagenderera kubonyaabonya newakubadde okulumya abaana b'abantu.
34
Okulinnyirira n'ekigere abasibe bonna ab'omu nsi,
35
Okukyamya ensonga y'omuntu mu maaso g'oyo ali waggulu ennyo,
36
N'okusaliriza mu misango, ebyo Mukama tabisiima.
37
Ani oyo ayogera, era ne kituukirira, okujjako Mukama nga akiragidde?
38
Mu kamwa k'oyo ali waggulu ennyo, ssi mwe muva ebibi n'ebirungi?
39
Omuntu omulamu yeemulugunyiza ki, omuntu okubonerezebwa olw'ebibi bye?
40
Tukebere tukeme emitima gyaffe, tukyukire nate eri Mukama.
41
Tuyimuse emitima gyaffe wamu n'emikono gyaffe eri Katonda mu ggulu,
42
“Tusobezza, era tujeemye; era naawe tosonyiye.”
43
“Webisse obusungu, n'otuyigganya; osse so tosaasidde.”
44
Weebisseeko ekire, okusaba kwaffe kuleme okukutuukako.
45
Otufudde ng'empitambi, n'ebisasiro wakati mu mawanga.
46
Abalabe baffe bonna batwasamidde nnyo akamwa kaabwe.
47
Entiisa, n'obunnya bitutuuseeko, okunyagibwa n'okuzikirira.
48
Amaaso gange gakulukusa emigga egy'amaziga, olw'okuzikirira kw'abantu bange.
49
Amaaso gange gatonnya, amaziga gange ganaakulukuta obutalekaayo, tegakalira n'akatono.
50
Okutuusa Mukama lw'anaatunula wansi n'alaba ng'asinziira mu ggulu.
51
Amaaso gange gandetera okunakuwala olw'ebyo ebituuse ku bawala bonna ab'ekibuga kyange.
52
“Bancoccedde ddala nnyo ng'ennyonyi,” abo abafuuka abalabe bange awatali nsonga.
53
Bankasuka nga ndi mulamu mu bunnya, era bansuddeko amayinja.
54
Amazzi gaakulukuta, nga gayita ku mutwe gwange; “ne njogera nti, ‘Mmaliddwawo’”
55
Nnakaabira erinnya lyo, ayi Mukama, nga nsinziira ku ntobo y'obunnya eyo wansi ennyo.
56
N'owulira eddoboozi lyange; toziba kutu kwo eri okukaaba kwange okw'okuyambibwa.
57
Wansemberera ku lunaku kwe nnakukaabirirako; n'oyogera nti, Totya.
58
Ayi Mukama, wawoza ensonga ez'emmeeme yange; wanunula obulamu bwange.
59
Ayi Mukama, olabye okujoogebwa kwange; nsalira omusango.
60
Olabye eggwanga lyonna lye bampalanako, n'enkwe zonna ze bansalira.
61
Owulidde okuvuma kwabwe, ayi Mukama, n'enkwe zonna ze bansalira;
62
Emimwa n'ebirowoozo by'abo abaagala okunzita bangigganya okuzibya obudde.
63
Tunuulira okutuula kwabwe n'okuyimuka kwabwe; nze ndi luyimba lwabwe.
64
Olibasasula empeera, ayi Mukama, ng'omulimu bwe guli ogw'emikono gyabwe.
65
Olibawa omutima ogukakanyadde, ekikolimo kyo kiriba kubo.
66
Olibayigganya n'obusungu, n'obazikiriza okuva wansi w'eggulu lya Mukama.
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 4 →
All chapters:
1
2
3
4
5