bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
/
Jonah 3
Jonah 3
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 4 →
1
Awo ekigambo kya Mukama ne kijja eri Yona omulundi ogw'okubiri, nga kyogera nti
2
Golokoka, ogende e Nineeve, ekibuga ekyo ekinene, okibuulirire okubuulira kwe nkugamba.
3
Awo Yona n'agolokoka n'agenda e Nineeve nga Mukama bwe yamugamba. Era Nineeve kyali kibuga kinene nnyo nnyini olugendo lwa nnaku ssatu okukibunya.
4
Yona n'asooka okuyingira mu kibuga n'atambula olugendo lwa lunaku lumu n'ayogerera waggulu n'agamba nti Ennaku amakumi ana bwe ziriyitawo, Nineeve kirizikirira.
5
Abantu ab'omu Nineeve ne bakkiriza Katonda ne balangirira okusiiba ne bambala ebibukutu, bonna okuva ku mukulu okutuuka ku muto.
6
Ebigambo ne bituuka ku kabaka ow'e Nineeve, n'agolokoka ku ntebe n'ayambulamu ekyambalo kye ne yeebikkako ebibukutu n'atuula mu vvu.
7
N'alangirira n'abuulira okubunya Nineeve olw'etteeka lya kabaka n'abakungu be, n'agamba nti Omuntu n'ensolo, eggana n'ekisibo, bireme okulega ku kintu; bireme okulyako n'okunywa amazzi;
8
naye babikkibwe ebibukutu, omuntu era n'ensolo, bakaabirire nnyo nnyini Katonda; era bikyuke, buli kintu mu kkubo lyakyo ebbi ne mu kyejo ekiri mu mikono gyabyo.
9
Ani amanyi nga Katonda alikyuka alyejjusa, n'akyuka okuleka obusungu bwe obukambwe tuleme okuzikirira?
10
Katonda n'alaba emirimu gyabwe nga bakyuse mu kkubo lyabwe ebbi; Katonda ne yejjusa obubi bwe yali ayogedde okubakola; n'atabubakola.
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 4 →
All chapters:
1
2
3
4