bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
/
Jonah 4
Jonah 4
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
1
Naye Yona n'atasiima n'akatono n'anyiikaala.
2
N'asaba Mukama n'ayogera nti Nkusaba, ai Mukama, saayogera bwe ntyo nga nkyali mu nsi y'ewaffe. Kyennava nnyanguwa okuddukira e Talusiisi; kubanga nategeera nti oli Katonda mulungi ajjudde okusaasira alwawo okusunguwala, alina ekisa ekingi, era ataleeta bubi.
3
Kale nno, ai Mukama, nkwegayiridde, onziyeko obulamu bwange; kubanga waakiri nfe okusinga okuba omulamu.
4
Mukama n'ayogera nti Ggwe okoze bulungi okusunguwala?
5
Awo Yona n'afuluma mu kibuga n'atuula ku luuyi olw'ekibuga olwolekedde ebuvanjuba n'asiisira eyo ekisiisira n'atuula omwo mu kisiikirize kyakyo okutuusa lw'aliraba ekibuga bwe kiriba.
6
Mukama Katonda n'ategeka ekiryo n'akimeza awali Yona kimusiikirize ku mutwe gwe, kimuwonye ennaku ze yali alabye. Awo Yona n'asanyuka nnyo olw'ekiryo.
7
Naye Katonda n'ategeka ekiwuka obudde bwe bwakya enkya, ne kiruma ekiryo ne kiwotoka.
8
Awo olwatuuka enjuba bwe yavaayo, Katonda n'ategeka embuyaga ez'obuvanjuba ez'olubugumu, omusana ne gwokya Yona mu mutwe gwe, n'azirika n'asaba afe, n'ayogera nti Waakiri nfe okusinga okuba omulamu.
9
Katonda n'agamba Yona nti Ggwe okoze bulungi okusunguwala ku lw'ekiryo? N'ayogera nti Nkoze bulungi okusunguwala okutuusa lwe ndifa.
10
Mukama n'ayogera nti Osaasidde ekiryo kyotaakolera mulimu so ky'otaameza; ekyamerera ekiro ekimu, ne kibulira ekiro ekimu;
11
nange sandisaasidde Nineeve, ekibuga ekyo ekinene; omuli abantu akasiriivu mu obukumi obubiri n'okusukkirirawo abatayinza kwawula mukono gwabwe ogwa ddyo n'omukono gwabwe ogwa kkono; era n'ensolo ennyingi?
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
All chapters:
1
2
3
4