bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
/
Leviticus 17
Leviticus 17
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
← Chapter 16
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 18 →
1
Mukama n'agamba Musa nti
2
Yogera ne Alooni ne batabani be n'abaana ba Isiraeri bonna, obagambe nti Ekigambo kino Mukama ky'alagidde, ng'ayogera nti
3
Bwe wabangawo omuntu yenna ow'omu nnyumba ya Isiraeri, anattiranga ente, oba omwana gw'endiga, oba embuzi, mu lusiisira, oba anaagittiranga ebweru w'olusiisira,
4
n'atagireeta ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu, okugiwaayo okuba ekitone eri Mukama mu maaso g'ennyumba ya Mukama: omusaayi gunaamubalirwanga omuntu oyo; ng'ayiye omusaayi; era omuntu oyo anaazikirizibwanga mu bantu be:
5
abaana ba Isiraeri balyoke baleetenga ssaddaaka zaabwe, ze baweerayo mu ttale mu bbanga bazireetenga eri Mukama, ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu, eri kabona, ne baziwaayo okuba ssaddaaka ez'ebiweebwayo olw'emirembe eri Mukama.
6
Awo kabona anaamansiranga omusaayi ku kyoto kya Mukama ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu, n'ayokya amasavu okuba evvumbe eddungi eri Mukama.
7
So tebakyawangayo ssaddaaka zaabwe eri embuzi ennume, ze bagoberera okwenda nazo. Eryo linaabanga tteeka gye bali ennaku zonna mu mirembe gyabwe gyonna.
8
Era onoobagamba nti Bwe wanaabangawo omuntu yenna ow'omu nnyumba ya Isiraeri oba ku bagenyi abanaatuulanga mu bo, anaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa oba ssaddaaka,
9
n'atakireeta ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu, okukiwaayo eri Mukama; omuntu oyo anaazikirizibwanga mu bantu be.
10
Era bwe wanaabangawo omuntu yenna ow'omu nnyumba ya Isiraeri, oba ku bagenyi abanaatuulanga mu bo, anaalyanga ku musaayi gwonna gwonna; nnaateekanga amaaso gange okwolekera omuntu oyo alya ku musaayi, ne mmuzikiriza mu bantu be.
11
Kubanga obulamu bw'ennyama buba mu musaayi: era ngubawadde ku kyoto okutangiriranga obulamu bwammwe: kubanga omusaayi gwe gutangirira olw'obulamu.
12
Kyennava ŋŋamba abaana ba Isiraeri nti Tewabanga ku mmwe muntu anaalyanga ku musaayi, so n'omugenyi yenna anaatuulanga mu mmwe talyanga ku musaayi:
13
Era bwe wanaabangawo omuntu yenna ku baana ba Isiraeri, oba ku bagenyi abanaatuulanga mu bo, anaakwatanga ensolo yonna oba nnyonyi yonna eriika ng'ayigga; anaayiwanga omusaayi gwayo, n'agubikkako n'enfuufu.
14
Kubanga obulamu bw'ennyama yonna, omusaayi gwayo guba gumu n'obulamu bwayo: kyennava ŋŋamba abaana ba Isiraeri nti Temulyanga ku musaayi gwa nnyama yonna yonna: kubanga obulamu bw'ennyama yonna gwe musaayi gwayo: buli anaagulyangako anaazikirizibwanga.
15
Era buli muntu anaalyanga ku eyo efa yokka, oba etaaguddwa ensolo, oba nzaalwa oba mugenyi, anaayozanga ebyambalo bye, n'anaaba mu mazzi, n'aba atali mulongoofu okutuusa akawungeezi: n'alyoka aba mulongoofu.
16
Naye bw'ataabyozenga, n'atanaaba mubiri gwe, kale anaabangako obutali butuukizivu bwe.
← Chapter 16
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 18 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27