bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
/
Leviticus 6
Leviticus 6
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 7 →
1
Mukama n'agamba Musa nti
2
Omuntu yenna bw'ayonoonanga, n'asobya ku Mukama, n'alyazaamaanya muliraanwa we mu bigambo eby'okuteresa, oba mu by'okulamulagana, oba mu by'okunyaga, oba bw'abanga ajooze muliraanwa we;
3
oba bw'aba ng'azudde ekyazaawa, n'akiryazaamaanya, n'alayira eby'obulimba; mu kigambo kyonna ku ebyo byonna omuntu ky'akola ng'ayonoona bw'atyo;
4
kale olunaatuukanga bw'aba ng'ayonoonye era ng'aliko omusango, anazzangayo ekyo kye yanyaga, oba kye yafuna olw'okujooga, oba ekyateresebwa kye baamukwasa, oba ekyazaawa kye yazuula
5
oba ekintu kyonna kye yalayirira ng'alimba; anaakizzangayo kyonna, era anaakyongerangako ekitundu kyakyo eky'okutaano: nannyini kyo gw'alikiwa ku lunaku lw'alirabika ng'aliko omusango.
6
Era anaaleetanga ekyo ky'awaayo olw'omusango eri Mukama, endiga ennume eteriiko bulema ey'omu kisibo, nga bw'onoosalanga okuba ekiweebwayo olw'omusaago, eri kabona:
7
ne kabona anaamutangiriranga mu maaso ga Mukama, naye anaasonyiyibwanga; mu bigambo byonna bye yali akoze ebimuleetako omusango.
8
Mukama n'agamba Musa nti
9
Lagira Alooni n'abaana be nti Lino lye tteeka ery'ekiweebwayo ekyokebwa: ekiweebwayo ekyokebwa kinaabanga ku nku zaakyo ku kyoto, kinaasulangako okukeesa obudde; era omuliro ogw'omu kyoto gunaakumibwanga omwo obutazikiranga.
10
Era kabona anaayambalanga ekyambalo kye ekya bafuta, ne seruwale ye eya bafuta anaagyambalanga ku mubiri gwe; kale anaasitulanga evvu erivudde mu kiweebwayo ekyokebwa omuliro kye gwokezza ku kyoto, era anaaliteekanga ku mabbali g'ekyoto.
11
Awo anaayambulanga ebyambalo bye, n'ayambala ebyambalo ebirala, n'atwala evvu ebweru w'olusiisira eri ekifo ekirongoofu.
12
Era omuliro oguli ku kyoto gunaakumibwanga omwo obutazikiranga; era kabona anaayokerangako enku buli nkya: era anaakiteekerateekerangako ekiweebwayo ekyokebwa, era anaakyokerangako amasavu ag'ebiweebwayo olw'emirembe.
13
Omuliro gunaakumibwanga mu kyoto lutata; teguzikiranga.
14
Era lino lye tteeka ery'ekiweebwayo eky'obutta: abaana ba Alooni banaakiwecrangayo mu maaso ga Mukama mu maaso g'ekyoto.
15
Era anaakitoolangako olubatu lwe, ku butta obulungi obw'ekiweebwayo eky'obutta, ne ku mafuta gaakyo, n'omugavu gwonna oguli ku kiweebwayo eky'obutta, n'akyokera ku kyoto okuba evvumbe eddungi, okuba ekijjukizo kyakyo eri Mukama.
16
N'ekyo ekinaafikkangawo Alooni n'abaana be banaakiryanga: kinaaliirwanga awatali kizimbulukusa mu kifo ekitukuvu; mu luggya lw'eweema ey'okusisinkanirangamu mwe banaakiriiranga.
17
Tekyokebwanga n'ekizimbulukusa. Nkibawadde okuba omugabo gwabwe ku byange ebiweebwayo ebikolebwa n'omuliro; kye kitukuvu ennyo, ng'ekiweebwayo olw'ekibi, era ng'ekiweebwayo olw'omusango.
18
Buli musajja ku baana ba Alooni banaakiryangako, okuba ebbanja ennaku zonna mu mirembe gyammwe gyonna, ku biweebwayo ebya Mukama ebikolebwa n'omuliro; buli anaabikomangako anaabanga mutukuvu.
19
Mukama n'agamba Musa nti
20
Kino kye kitone kya Alooni n'abaana be, kye banaawangayo eri Mukama ku lunaku lw'alifukirwako amafuta; ekitundu eky'ekkumi ekya efa y'obutta obulungi okuba ekiweebwayo eky'obutta ennaku zonna, ekitundu kyabwo enkya, n'ekitundu kyabwo akawungeezi.
21
Ku kikalango kwe bunaafumbirwanga n'amafuta; bwe bumalanga okunnyikira, n'olyoka obuyingiza: onoowangayo ekiweebwayo eky'obutta mu bitole ebyokye okuba evvumbe eddungi eri Mukama.
22
Era kabona eyafukibwako amafuta anaabanga mu kifo kye ow'oku baana be ye anaakiwangayo: kinaayokebwanga kyonna eri Mukama olw'etteeka eritalijjulukuka ennaku zonna.
23
Era buli ekiweebwayo eky'obutta ekya kabona kinaayokebwanga kyonna: tekiriibwanga.
24
Mukama n'agamba Musa nti
25
Gamba Alooni n'abaana be nti Lino lye tteeka ery'ekiweebwayo olw'ekibi: mu kifo ekiweebwayo ekyokebwa mwe kittirwa n'ekiweebwayo olw'ekibi mwe kinattirwanga mu maaso ga Mukama: kye kitukuvu ennyo.
26
Kabona akiwaayo olw'ekibi y'aaaakiryanga: kinaaliirwanga mu kifo ekitukuvu, mu luggya lw'eweema ey'okusisinkanirangamu.
27
Buli ekinaakomanga ku nnyama yaakyo kinaabanga kitukuvu: era bwe kunaamansirwanga ku musaayi gwakyo ku kyambalo kyonna, onooyolezanga ekyo ekimansiddwako mu kifo ekitukuvu.
28
Naye ekintu ekibumbe mwe kifumbirwa kinaayasibwanga: era oba nga kifumbiddwa mu kintu eky'ekikomo, kinaasiimuulwanga era kinaayozebwanga n'amazzi.
29
Buli musajja ku bakabona anaakiryangako: kye kitukuvu ennyo.
30
So tewabanga kiweebwayo lwa kibi, kye batoolako ku musaayi gwakyo ne baguyingiza mu weema ey'okusisinkanirangamu okutangirira mu watukuvu, kye balyako; kinaayokebwanga n'omuliro.
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 7 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27