bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
/
Luke 15
Luke 15
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
← Chapter 14
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 16 →
1
Awo abawooza bonna n'abalina ebibi baali nga bamusemberera okumuwulira.
2
Abafalisaayo era n'abawandiisi ne beemulugunya, nga bagamba nti Ono asembeza abalina ebibi, era alya nabo.
3
N'abagerera olugero luno, ng'agamba nti
4
Muntu ki ku mmwe alina endiga ekikumi, bw'abulwako emu, ataleka ziri ekyenda mu omwenda ku ttale, n'agoberera eri eyabuze, okutuusa lw'aligiraba?
5
Kale bw'agiraba, agissa ku kibegabega kye ng'asanyuka.
6
Bw'atuuka eka, ayita mikwano gye ne baliraanwa be, n'abagamba nti Munsanyukireko, kubanga nzudde endiga yange eyabadde ebuze.
7
Mbagamba nti Bwe kityo linaabanga ssanyu mu ggulu olw'oyo alina ebibi omu eyeenenya, okusinga abatuukirivu ekyenda mu omwenda, abateetaaga kwenenya.
8
Oba mukazi ki alina erupiya ekkumi, bw'abulwako erupiya emu, atakoleeza ttabaaza n'ayera ennyumba, n'anyiikira okunoonya okutuusa lw'agizuula?
9
Bw'agiraba, ayita mikwano gye ne baliraanwa be nagamba nti Munsanyukireko, kubanga nzudde erupiya eyabadde embuze.
10
Mbagamba nti Bwe kityo liba ssanyu mu maaso ga bamalayika ba Katonda olw'oyo alina ebibi omu eyeenenya.
11
N'agamba nti Waaliwo omuntu eyalina batabani be babiri:
12
omuto n'agamba kitaawe nti Kitange, mpa omugabo gw'ebintu oguŋŋwanidde. Kale n'abagabira eby'obulamu bwe.
13
Awo oluvannyuma lw'ennaku si nnyingi, oyo omwana omuto n'akuŋŋaanya ebibye byonna, n'atambula n'agenda mu nsi ey'ewala; n'asaasaanyiza eyo ebintu bye mu mpisa embi.
14
Awo bwe yamala okubirya byonna, enjala nnyingi n'egwa mu nsi omwo, n'atanula okudaagana.
15
N'agenda ne yeegatta n'omwami ow'omu nsi eyo; oyo n'amusindika mu kyalo kye okulundanga embizzi.
16
Ne yeegombanga okukkuta ebikuta embizzi bye zaalyanga: ne watabaawo muntu amuwa.
17
Naye bwe yeddamu, n'agamba nti Abaweereza bameka ab'empeera aba kitange abakkuta emmere ne balemwa, nange nfiira wano enjala!
18
Nnaagoloka ne ŋŋenda eri kitange, ne mmugamba nti Kitange, nnyonoonye eri eggulu ne mu manso go;
19
sikyasaana kuyitibwa mwana wo; nfuula ng'omu ku baweereza bo ab'empeera.
20
N'agolokoka n'ajja eri kitaawe. Naye yali ng'akyali wala, kitaawe n'amulengera, n'amusaasira, n'addukana mbiro, n'amugwa mu kifuba, n'amunywegera nnyo.
21
Oyo omwana n'amugamba nti Kitange, nnyonoonye eri eggulu ne mu maaso go; sikyasaana kuyitibwa mwana wo.
22
Naye kitaawe n'agamba abaddu be nti Mugende muleete mangu olugoye olusinga zonna, mulumwambaze: mumunaanike empeta ku ngalo, n'engatto mu bigere bye:
23
muleete n'ennyana eya ssava, mugitte, tulye, tusanyuke;
24
kubanga omwana wange ono yali afudde, azuukidde; yali azaaye, azaawuse. Ne batandika okusanyuka.
25
Naye omwana we omukulu yali mu kyalo; bwe yajja ng'anaatera okutuuka ku nnyumba, n'awulira eŋŋoma n'amazina.
26
Ku baddu n'ayitako omu, n'amubuuza ebyo bwe bibadde.
27
N'amugamba nti Muganda wo azze: ne kitaawo amuttidde ennyana eya ssava kubanga amuzaawudde nga mulamu:
28
Naye n'asunguwala, n'atayagala kuyingira: kitaawe n'afuluma n'amwegayirira.
29
Naye ye n'addamu n'agamba kitaawe nti Laba, emyaka gino mingi nga nkuweereza, so sikusobyanga n'akatono ky'ondagidde; nange ennaku zonna tompanga na kabuzi ka kusanyuka ne mikwano gyange;
30
naye omwana wo oyo, eyalya eby'obulamu bwo wamu n'abenzi, bw'azze, ng'omuttira ennyana eya ssava.
31
Ye n'amugamba nti Mwana wange, ggwe bulijjo ng'oli wamu nange, era byonna ebyange bye bibyo.
32
Naye okujaguza n'okusanyuka kwa nsonga: kubanga muganda wo oyo yali afudde, azuukidde; era yali azaaye, azaawuse.
← Chapter 14
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 16 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24