bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
/
Luke 16
Luke 16
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
← Chapter 15
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 17 →
1
Awo n'agamba abayigirizwa be nabo nti Waaliwo omuntu omugagga eyalina omuwanika we; oyo ne bamuloopa gy'ali ng'asaasaanya ebintu bye.
2
N'amuyita n'amugamba nti Kiki kino kye mpulira ku ggwe? bala omuwendo ogw'obuwanika bwo; kubanga toyinza nate kubeera muwanika.
3
Oyo omuwanika n'ayogera munda mu ye nti Nnaakola ntya, kubanga mukama wange anziyako obuwanika bwange? sirina galima; n'okusabiriza nkwatibwa ensonyi.
4
Mmanyi kye nnaakola, bwe nnaagobebwa mu buwanika, bansembeze mu nnyumba zaabwe.
5
N'ayita buli alina ebbanja lya mukama we, n'agamba ow'olubereberye nti Mukama wange akubanja ki?
6
N'agamba nti Ebigera by'amafuta kikumi. N'amugamba nti Twala ebbaluwa yo, otuule mangu owandiike amakumi ataano.
7
Ate n'agamba omulala nti Naawe obanjibwa ki? N'agamba nti Emitwalo gy'eŋŋaano kikumi. N'amugamba nti Twala ebbaluwa yo, owandiike kinaana.
8
Awo mukama we n'atendereza oyo omuwanika omulyazaamaanyi kubanga akoze bya magezi: kubanga abaana ab'ebiro bino bagezigezi mu mirembe gyabwe okusinga abaana b'omusana.
9
Nange mbagamba nti Mwekwanirenga emikwano mu mamona atali mutuukirivu; bw'aliggwaawo, babasembeze mu weema ziri ezitaggwaawo.
10
Aba omwesigwa ku kintu ekitono ennyo, ne ku kinene aba mwesigwa: era aba omulyazaamaanyi ku kintu ekitono ennyo, ne ku kinene aba mulyazaamaanyi.
11
Kale bwe mutaabenga beesigwa ku mamona atali mutuukirivu, ani alibateresa obugagga obw'amazima?
12
Era bwe mutaabenga beesigwa ku ekyo ekya beene, ekyammwe ani alikibawa?
13
Tewali muweereza ayinza okuweereza abaami ababiri; kubanga oba alikyawako omu n'ayagala omulala; oba alinywerera ku omu n'anyooma omutala. Temuyinza kuweerezanga Katonda ne mamona.
14
N'Abafalisaayo, abaali abaagazi b'effeeza, ne bawulira ebyo byonna; ne bamusekerera.
15
N'abagamba nti Mmwe muumwo abeefuula abatuukirivu mu maaso g'abantu; naye Katonda amanyi emitima gyammwe; kubanga ekigulumizibwa mu bantu kya muzizo mu maaso ga Katonda.
16
Amateeka ne bannabbi byabaawo okutuuka ku Yokaana: okuva olwo enjiri y'obwakabaka bwa Katonda ebuulirwa, era buli muntu abuyingiramu lwa maanyi.
17
Naye kyangu eggulu n'ensi okuggwaawo, okusinga ennukuta emu ey'amateeka okuggwaawo.
18
Buli muntu yenna anaagobanga mukazi we n'awasa omulala, ng'ayenze; n'oyo anaawasanga eyagobebwa bba ng'ayenze.
19
Awo waaliwo omuntu omugagga eyayambalanga olugoye olw'effulungu ne bafuta ennungi, ng'asanyukanga bulijjo mu kwesiima:
20
era waaliwo n'omwavu erinnya lye Laazaalo eyagalamizibwanga ku mulyango gwe, eyali awummusewummuse amabwa,
21
nga yeegomba okukkuta ebyagwanga okuva ku mmeeza y'omugagga; era embwa nazo zajjanga ne zimukombereranga amabwa ge.
22
Awo olwatuuka omwavu n'afa, n'asitulibwa bamalayika nassibwa mu kifuba kya Ibulayimu. N'omugagga n'afa, n'aziikibwa.
23
N'ayimusiza amaaso ge mu Magombe ng'ali mu kulumizibwa, n'alengera Ibulayimu wala, ne Laazaalo ng'ali mu kifuba kye.
24
N'ayogerera waggulu n'agamba nti Kitange Ibulayimu, nsaasira, otume Laazaalo, annyike ensonda y'olunwe lwe mu mazzi, ampozeewoze olulimi lwange; kubanga nnumwa mu muliro guno.
25
Naye Ibulayimu n'amugamba nti Mwana wange, jjukira nga waweebwanga ebirungi byo mu bulamu bwo, era ne Laazaalo bw'atyo ebibi; naye kaakano ye asanyusibwa, ggwe olumwa.
26
Era ku ebyo byonna, wakati waffe nammwe waliwo olukonko oluwanvu olwateekebwawo, abaagala okuva eno okujja gye muli balemenga okuyinza, era balemenga okuva eyo okuyitawo okujja gye tuli.
27
N'agamba nti Kale, nkwegayiridde, kitange, omutume mu nnyumba ya kitange;
28
kubanga nnina ab'oluganda bataano; abategeeze baleme okujja nabo mu kifo kino ekirimu okulumwa.
29
Naye Ibulayimu n'agamba nti Balina Musa ne bannabbi; babawulirenga abo.
30
N'agamba nti Nedda, kitange Ibulayimu; naye omu ku bafu bw'aligenda gye bali balyenenya.
31
N'amugamba nti Nga bwe batawulira Musa ne bannabbi, era newakubadde omu ku bafu bw'alizuukira, talibakkirizisa.
← Chapter 15
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 17 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24