bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
/
Zechariah 2
Zechariah 2
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 3 →
1
Ne nnyimusa amaaso gange ne ntunuulira; era, laba, omuntu ng'alina omugwa ogugera mu ngalo ze.
2
Ne njogera nti Ogenda wa ggwe? N'aŋŋamba nti Okugera Yerusaalemi, ndabe obugazi bwakyo bwe buli n'obuwanvu bwakyo bwe buli.
3
Era, laba, malayika eyali ayogera nange n'avaayo ne malayika omulala n'avaayo okumusisinkana
4
n'amugamba nti Ddukanako; mugambe omuvubuka oyo nti Yerusaalemi kiribaamu abantu balifikka mu bbugwe kubanga abantu bangi n'eby'omu bisibo bingi wakati mu kyo.
5
Kubanga nze ndiba ku kyo bbugwe ow'omuliro enjuyi zonna era ndiba kitiibwa wakati mu kyo, bw'ayogera Mukama.
6
Mukale, mukale, mudduke muve mu nsi ey'obukiika obwa kkbno, bw'ayogera Mukama; kubanga ng'empewo ennya ez'eggulu bwe ziri, bwe mbasaasaanyizza, bw'ayogera Mukama.
7
Kale, Sayuuni, dduka owone, ggwe atuula n'omuwala wa Babulooni.
8
Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti Oluvannyuma lw'ekitiibwa antumye eri amawanga agaabanyaga; kubanga abakomako mmwe akoma ku mmunyi y'eriiso lye.
9
Kubanga, laba, ndibakunkumulirako omukono gwange ne baba mwandu gw'abaddu baabwe; nammwe munaamanya nga Mukama w'eggye ye yantuma.
10
Yimba, sanyuka, ggwe omuwala wa Sayuuni: kubanga, laba, njija nange naabeeranga wakati mu ggwe, bw'ayogera Mukama.
11
Ku lunaku olwo amawanga mangi agalyegatta ne Mukama ne gafuuka bantu bange: nange naabeeranga wakati mu ggwe, naawe onootegeeranga nga Mukama w'eggye yantuma gy'oli.
12
Era Mukama alisikira Yuda, okuba omugabo gwe mu nsi entukuvu, era alyeroboza nate Yerusaalemi.
13
Musirike, abalina omubiri mwenna mu maaso ga Mukama; kubanga azuukuse mu kifo kye ekitukuvu mw'abeera.
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 3 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14