bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
/
Zechariah 7
Zechariah 7
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 8 →
1
Awo olwatuuka mu mwaka ogw'okuna ogwa kabaka Daliyo, ekigambo kya Mukama ne kijja eri Zekkaliya ku lunaku olw'okuna olw'omwezi ogw'omwenda, mu Kisuleevu.
2
Awo aba Beseri baali batumye Salezeeri ne Legemumereki n'abantu baabwe kwegayirira ekisa kya Mukama,
3
n'okwogera ne bakabona ab'omu nnyumba ya Mukama w'eggye ne bannabbi, nga boogera nti Nandikaabidde amaziga mu mwezi ogw'okutaano nga neeyawudde nga bwe nnakola mu myaka gino egyenkana wano?
4
Awo ekigambo kya Mukama w'eggye ne kijja gye ndi nga kyogera nti
5
Gamba abantu bonna ab'omu nsi ne bakabona ng'oyogera nti Bwe mwasiibanga ne mukubira ebiwoobe mu mwezi ogw'okutaano ne mu gw'omusanvu, mu myaka gino ensanvu, nze mwansiibira nze n'akatono?
6
Era bwe mulya ne bwe munywa, temweriira mwekka, temwenywera mwekka?
7
Tekibagwanidde kuwulira bigambo Mukama bye yalangiriranga mu bannabbi ab'edda, Yerusaalemi bwe kyalimu abantu era nga kiri mirembe, n'ebyalo byakyo ebyali bikiriraanye enjuyi zonna, n'ensi ey'obukiika obwa ddyo n'ensenyi nga bikyalimu abantu?
8
Awo ekigambo kya Mukama ne kijja eri Zekkaliya, nga kyogera nti
9
Bw'ati bw'ayogedde Mukama w'eggye, nti Musalenga emisango egy'ensonga, era mukolenga buli muntu muganda we ekisa n'okusaasira;
10
era muleme okujooganga nnamwandu ne bamulekwa, omugenyi n'omwavu; era muleme okulowoozanga obubi omuntu yenna eri munne mu mutima gwammwe.
11
Naye ne bagaana okuwulira ne baggyawo ekibegabega ne basiba amatu gaabwe baleme okuwulira.
12
Weewaawo, ne bakakanyaza emitima gyabwe ng'ejjinja ery'embaalebaale baleme okuwulira amateeka n'ebigambo Mukama w'eggye bye yaweererezanga n'omwoyo gwe mu mukono gwa banaabbi ab'edda; obusungu bungi kyebwava buva eri Mukama w'eggye.
13
Awo olwatuuka bwe yayogerera waggulu, nabo ne bagaana okuwulira; bwe kityo balikaaba, nange ndigaana okuwulira, bwe yayogera Mukama w'eggye;
14
naye ndibasaasaanyiza n'embuyaga ez'akazimu wakati w'amawanga ge batamanyanga. Awo ensi n'eyonooneka ennyuma waabwe, omuntu yenna alemenga okuyitamu wadde okuddamu; kubanga baagifuula amatongo ensi eyeegombebwa.
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 8 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14