bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
2 Thessalonians 1
2 Thessalonians 1
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 2 →
1
Nze Pawulo, ne Siluvaano ne Timoteewo, tuwandiikira ab'ekibiina ky'abakkiriza Kristo ab'omu Tessalonika, abantu ba Katonda Kitaffe ne Mukama Yesu Kristo.
2
Katonda Kitaffe ne Mukama Yesu Kristo babakwatirwe mmwe ekisa era babawe emirembe.
3
Abooluganda, tuteekwa okwebaza Katonda bulijjo ku lwammwe. Ekyo tusaanye okukikola kubanga okukkiriza kwammwe kukula nnyo, era n'okwagala buli omu mu mmwe kw'ayagalamu banne kweyongera.
4
Naffe ffennyini kyetuva twenyumiriza ku lwammwe mu bibiina by'abakkiririza Katonda mu Kristo. Twenyumiriza olw'okugumiikiriza n'olw'okukkiriza kwammwe mu kuyigganyizibwa kwammwe kwonna, ne mu kubonaabona bye mugumira.
5
Ekyo kiraga nti Katonda mwenkanya mu kulamula kwe, kubanga ku nkomerero mulisaanira Obwakabaka bwa Katonda bwe mubonaabonera.
6
Katonda mwenkanya, alibonereza abo abababonyaabonya,
7
ate mmwe ababonyaabonyezebwa n'abawa ekiwummulo awamu naffe. Ebyo biribaawo Mukama waffe Yesu bw'alirabika ng'ava mu ggulu, ng'ali ne bamalayika be ab'amaanyi.
8
Walibaawo n'omuliro ogwaka, abonereze abo abatamanyi Katonda, n'abo abagaana okukkiriza Amawulire Amalungi aga Mukama waffe Yesu.
9
Baliweebwa ekibonerezo eky'okuzikirira okw'emirembe n'emirembe, ne bagobebwa mu maaso ga Mukama oweekitiibwa ennyo.
10
Ebyo biribaawo ku lunaku lw'alijjirako okugulumizibwa mu batukuvu be, bonna abakkiriza ne bamulaba mu kitiibwa kye. Nammwe muliba wamu nabo, kubanga mwakkiriza ebyo bye twabategeeza.
11
Bulijjo kyetuva tubasabira eri Katonda waffe, abasaanyize ekyo kye yabayitira, era mu buyinza bwe, atuukirize ebirungi byonna bye mumaliridde okukola, ne bye mukola olw'okukkiriza.
12
Olwo Mukama waffe Yesu alyoke aweebwe ekitiibwa mu mmwe, nammwe muweebwe ekitiibwa mu ye. Ekyo kituukirizibwe olw'ekisa kya Katonda waffe, ne Mukama Yesu Kristo.
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 2 →
All chapters:
1
2
3