bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
2 Thessalonians 3
2 Thessalonians 3
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
1
Eky'enkomerero, abooluganda, mutusabire, ekigambo kya Mukama kiryoke kyeyongere okubuna amangu, era kiweebwe ekitiibwa, nga bwe kyali mu mmwe.
2
Era mutusabire, tuwone abantu aboonoonyi era ababi, kubanga okukkiriza si kwa bonna.
3
Kyokka Mukama waffe mwesigwa. Alibawa amaanyi mmwe, era alibawonya Omubi.
4
Tubeesiga, kubanga muli ba Mukama, ne tukakasa nti mukola era munaakolanga ebyo bye twabalagira.
5
Mukama aluŋŋamye emitima gyammwe mu kwagala kwa Katonda n'okugumiikiriza kwa Kristo.
6
Kale baganda bange, tubalagira mu linnya lya Mukama Yesu Kristo: mwewale abooluganda abagayaavu, era abatagoberera ebyo bye twabayigiriza mmwe.
7
Mmwe mwennyini mumanyi bulungi nti musaanidde okukola nga ffe bwe twakolanga. Bwe twali nammwe, tetwali bagayaavu.
8
Tetwalyanga mmere ya bwereere, wabula twakolanga nnyo, nga tufuba emisana n'ekiro, tuleme okukaluubirira wadde omu ku mmwe.
9
Tetugamba nti tekyanditugwanidde, wabula twayagala kubawa kyakulabirako, namwe mukolenga nga ffe.
10
Ne bwe twali nga tukyali wamu nammwe, twabalagira nti: “Agaananga okukola emirimu, n'okulya talyanga.”
11
Twawulira nti abamu mu mmwe bagayaavu, tebakola mirimu, wabula okweyingiza mu bya bannaabwe.
12
Ab'engeri eyo tubalagira era tubabuulirira mu linnya lya Mukama waffe Yesu, bakolenga emirimu nga bakkakkamu, bafune kye balya.
13
Abooluganda, temukoowanga kukola bulungi.
14
Bwe wabangawo agaana okugoberera kye tugamba mu bbaluwa eno, mumugenderere, era muleme kukolagana naye, alyoke akwatibwe ensonyi.
15
Kyokka temumuyisa ng'omulabe, wabula mumulabule nga muganda wammwe.
16
Kale Mukama waffe yennyini, nnannyini mirembe, abawenga emirembe bulijjo, buli we mubeera. Mukama abeerenga namwe mmwenna.
17
Nze Pawulo, okulamusa kuno nze nkuwandiise ne nteekako omukono. Ako ke kabonero akalaga buli bbaluwa gye mba mpandiise. Bwe ntyo bwe mpandiika.
18
Mukama waffe Yesu Kristo abakwatirwenga ekisa mmwe mwenna.
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
All chapters:
1
2
3