bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
2 Thessalonians 2
2 Thessalonians 2
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 3 →
1
Kaakano abooluganda, twagala okubategeeza ebikwata ku kujja kwa Mukama waffe Yesu Kristo, era nga bwe tulikuŋŋaanira w'ali.
2
Tubeegayirira muleme kusagaasagana mangu mu birowoozo byammwe, wadde okweraliikirira, nga mutegeezebwa nti olunaku lwa Mukama lutuuse, ekyo ne bwe kibategeezebwa omulanzi oba mu lugambo, wadde mu bbaluwa egambibwa nti ffe twagiwandiika.
3
Temukkirizanga muntu n'omu kubabuzaabuza, kubanga olunaku olwo terulituuka ng'okujeemera Katonda tekunnabaawo, era omuntu omwonoonyi, ow'okuzikirira alimala kulabika.
4
Aliwakanya era alyegulumiza ku buli kintu ekiyitibwa Katonda, oba ekisinzibwa. Era alituukira ddala ne ku kutuula mu ssinzizo lya Katonda, nga ye yennyini yeeyita Katonda.
5
Temujjukira nti ebyo nabibategeeza bwe nali nkyali nammwe?
6
Era mumanyi ekimuziyiza okulabika okutuusa ekiseera kye lwe kirituuka alyoke alabike.
7
Obujeemu weebuli, bukolera mu kyama. Kyokka oyo abuziyiza ajja kubuziyiza okutuusa lw'aliggyibwawo.
8
Olwo omujeemu oyo alirabika, Mukama Yesu waffe n'alyoka amutta n'omukka ogw'omu kamwa ke, era n'amuzikiriza n'ekitiibwa kye ky'alijjiramu.
9
Omubi oyo aleetebwa Sitaani, alijja n'akola n'amaanyi mangi ebyamagero ebya buli ngeri, n'ebyewuunyo eby'obulimba.
10
Era alikozesa buli kibi ekiyinza okukyamya abo ab'okuzikirira, kubanga baagaana amazima agandibalokodde.
11
Katonda kyava abaleka okubuzibwabuzibwa, bakkirize eby'obulimba,
12
abo bonna abatakkiriza mazima, balyoke basingibwe omusango, kubanga baasanyukira ekibi.
13
Abooluganda, abaagalwa ba Mukama waffe, tuteekwa okwebaza Katonda bulijjo ku lwammwe, kubanga Katonda yabalonda, mube ababereberye mu kulokolebwa olw'amaanyi ga Mwoyo Mutuukirivu, abafuula abantu ba Katonda abatukuvu olw'okukkiriza amazima.
14
Yabayitira mu Mawulire Amalungi, ge twabategeeza, mulyoke mugabane ku kitiibwa kya Mukama waffe Yesu Kristo.
15
N'olwekyo, abooluganda, mube banywevu, munywerere ku ebyo eby'amazima bye twabayigiriza mu bigambo oba mu bbaluwa yaffe.
16
Kale Mukama waffe Yesu Kristo yennyini, ne Katonda Kitaffe, eyatwagala era olw'ekisa kye, n'atuwa essanyu eritaggwaawo n'essuubi eddungi,
17
abagumye emitima, era abawe amaanyi, mu birungi byonna bye mukola ne bye mwogera.
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 3 →
All chapters:
1
2
3