bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
2 Timothy 2
2 Timothy 2
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 3 →
1
Kale mwana wange, nywera ng'oyambibwa amaanyi Kristo Yesu g'atuwa.
2
Ebyo bye wawulira nga njogera mu maaso g'abajulirwa abangi, biyigirizenga abantu abeesigwa, abalisobola okubiyigiriza abalala.
3
Naawe bonaabona ng'omuserikale omulungi owa Kristo Yesu.
4
Tewali muserikale ali ku lutalo eyeeyingiza mu mitawaana egy'abantu abaabulijjo, kubanga ekiba kimuli ku mutima, kwe kusanyusa oyo eyamuwandiika okuba omuserikale.
5
Oyo eyeetaba mu mizannyo gy'empaka, taweebwa ngule ya buwanguzi bw'atagoberera biragiro.
6
Omulimi eyategana asaanira okusooka okufuna ku bibala.
7
Lowooza ku kye ŋŋamba, Mukama ajja kukuwa okutegeera byonna.
8
Jjukira nti Yesu Kristo, omuzzukulu wa Dawudi yazuukira, ng'Amawulire Amalungi ge ntegeeza abantu bwe gagamba.
9
Olw'Amawulire ago Amalungi kyenva mbonaabona, ne nsibibwa ng'omukozi w'ebibi. Naye ekigambo kya Katonda tekisibiddwa.
10
Kyenva ŋŋumira byonna olw'abalondemu ba Katonda, balyoke bafune okulokolebwa, n'ekitiibwa ekitaggwaawo, ebiri mu Yesu Kristo.
11
Ekigambo kino kya mazima ekigamba nti: “Oba nga twafiira wamu naye, era tulibeera balamu wamu naye.
12
Bwe tugumiikiriza awamu naye, era tulifugira wamu naye. Bwe tumwegaana, era naye alitwegaana.
13
Bwe tutaba beesigwa, ye aba mwesigwa, kubanga tayinza kwewakanya.”
14
Ebyo obijjukizenga abantu bo ng'obakuutirira mu maaso ga Katonda, beewalenga okuwakana okutaliimu mugaso, okwonoona abo abawuliriza.
15
Fubanga okusiimibwa Katonda, ng'oli mukozi akola ebitakuswaza, era yigirizanga bulungi ekigambo eky'amazima.
16
Weewalenga ebigambo ebitassaamu Katonda kitiibwa, era ebitaliimu nsa, kubanga abantu bibongera bwongezi kunyooma Katonda.
17
Era ebigambo byabwe birirya nga kookolo. Mu abo mwe muli Yimenaayo ne Fileeto,
18
abaakyama ne bava ku mazima, nga bagamba nti okuzuukira kwabaawo dda. Era waliwo abamu be boonoonedde okukkiriza kwabwe.
19
Kyokka omusingi Katonda gwe yateekawo mugumu, era guliko akabonero, bye bigambo ebigamba nti: “Mukama amanyi ababe.” Era nti: “Buli ayatula erinnya lya Mukama, ave mu bibi.”
20
Mu nnyumba ennene temubaamu bintu bya zaabu na bya ffeeza byokka, naye mubaamu n'eby'emiti, era n'eby'ebbumba. Ebimu bikozesebwa emirimu egyekitiibwa, n'ebirala egitali gyakitiibwa.
21
Buli eyeewala ebibi ebyo byonna, ye anaabanga ekintu ekyekitiibwa, ekitukuziddwa, ekisaanira buli mulimu omulungi.
22
N'olwekyo weewalenga okwegomba okubi okw'ekivubuka, ogobererenga obutuukirivu, okukkiriza, okwagalana era n'emirembe, ng'oli wamu n'abo abeegayirira Mukama.
23
Weewalenga empaka ez'obusirusiru, ezitaliimu magezi, kubanga omanyi nti zivaamu nnyombo.
24
Omuweereza wa Mukama tasaana kuyomba, wabula okuba ow'ekisa eri buli muntu, n'okuba omuyigiriza omulungi, agumiikiriza,
25
era ng'aluŋŋamya n'obwetoowaze abo abamuwakanya, osanga Katonda abawa okwenenya, ne bamanya amazima,
26
ne bava mu mutego gwa Sitaani gw'abakwasisizza, abakozese by'ayagala.
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 3 →
All chapters:
1
2
3
4