bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
2 Timothy 3
2 Timothy 3
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 4 →
1
Kale manya kino nti mu nnaku ez'oluvannyuma walibaawo ebiseera eby'akabi,
2
kubanga abantu baliba nga beefaako bokka, nga balulunkanira ebyokufuna, nga beenyumiriza, nga beepanka, nga bavvoola, era nga tebawulira babazaala. Baliba tebeebaza, nga tebafa ku bya Katonda,
3
nga tebaagalana, era nga tebatabagana; nga bawaayiriza, nga tebeegendereza, nga bakambwe, nga tebaagala birungi.
4
Baliba nga ba nkwe, nga bakakanyavu, nga beegulumiza, nga baagala amasanyu okusinga bwe baagala Katonda;
5
nga kungulu balabika ng'abassaamu eddiini ekitiibwa, sso nga tebakkiriza maanyi gaayo. Abantu abo beewalenga.
6
Mu abo mulimu abasensera mu mayumba, ne bawamba abakazi abasirusiru, abajjudde ebibi, era abatwalibwa okwegomba okubi okwa buli ngeri,
7
abayiga bulijjo, naye ne batayinziza ddala kutegeera mazima.
8
Bali nga Yene ne Yambure abaawakanya Musa. Ne bano bwe batyo bawakanya amazima. Be bantu abaayonooneka amagezi, abatakyalina kukkiriza kutuufu.
9
Naye tebalina gye balaga, kubanga obusirusiru bwabwe bujja kumanyibwa abantu bonna, ng'obwa Yane ne Yambure bwe bwamanyibwa.
10
Naye ggwe wagoberera okuyigiriza kwange, n'empisa zange, ne kye nduubirira. Era wagoberera okukkiriza kwange, n'okwagala kwange. Era omanyi nga bwe nagumira
11
okuyigganyizibwa n'okubonyaabonyezebwa, ebyantuukako mu Antiyookiya, mu Yikoniyo ne mu Lisitura. Ddala nayigganyizibwa nnyo! Kyokka Mukama yamponya mu byonna.
12
Era bonna abaagala okuba mu bulamu obussaamu Katonda ekitiibwa nga bali mu Kristo Yesu, ba kuyigganyizibwanga.
13
Naye abantu ababi, n'abalimba balyeyongera okuba ababi, ne babuzaabuza abalala, era nabo ne babuzibwabuzibwa.
14
Naye ggwe nywereranga mu ebyo bye wayiga era n'obikkiririza ddala, ng'omanyi abaabikuyigiriza.
15
Okuva mu buto bwo, wamanya ebyawandiikibwa ebitukuvu ebiyinza okukugeziwaza, n'olokolebwa olw'okukkiriza Kristo Yesu.
16
Ebyawandiikibwa byonna Ebitukuvu, Katonda ye yabiruŋŋamya, era bigasa mu kuyigiriza, mu kunenya, mu kuluŋŋamya, ne mu kugunjula omuntu akolenga ebituufu,
17
omuntu wa Katonda alyoke abe ng'atuukiridde, ng'alina byonna ebyetaagibwa okukola buli mulimu omulungi.
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 4 →
All chapters:
1
2
3
4