bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
2 Timothy 4
2 Timothy 4
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
1
Nkukuutirira mu maaso ga Katonda ne Kristo Yesu, alisalira abalamu n'abafu omusango, era nkukuutira olw'okujja kwe, n'olw'Obwakabaka bwe,
2
tegeezanga abantu ekigambo kya Katonda, ng'onyiikira okuyigirizanga mu biseera ebirungi n'ebitali birungi. Nenyanga, kangavvulanga, era buuliriranga abantu, ng'oli mugumiikiriza.
3
Ekiseera kijja, abantu lwe baligaana okuwulira enjigiriza ey'amazima, era olw'okugoberera okwegomba kwabwe, balyekuŋŋaanyiza abayigiriza, ababayigiriza ebyo bye baagala.
4
Baligaana okuwuliriza eby'amazima, ne bagoberera enfumo obufumo.
5
Naye ggwe beeranga mwetegefu bulijjo, gumiranga okubonyaabonyezebwa, okolenga omulimu ogw'okutegeeza abantu Amawulire Amalungi, otuukirize omulimu gwe waweebwa.
6
Nze ndi kumpi okutambirwa. Ekiseera kyange eky'okuva ku nsi kituuse.
7
Nnwanye bulungi, mmalirizza olugendo lwange, nkuumye okukkiriza kwange.
8
Kye nsigazza kwe kufuna engule ey'obutuukirivu, Mukama omulamuzi omwenkanya gy'alimpeera ku lunaku luli. Taligiwa nze nzekka, naye aligiwa n'abo bonna, abeegomba okujja kwe.
9
Fuba okujja amangu gye ndi,
10
kubanga Dema yandekawo ng'ayagala eby'oku nsi kuno, n'agenda e Tessalonika. Kuresike yagenda Galatiya, ne Tito n'agenda e Dalumatiya.
11
Lukka yekka ye ali nange. Ggyayo Mariko omuleete, kubanga annyamba nnyo ku mulimu.
12
Tukiko namutuma mu Efeso.
13
Bw'obanga ojja, ondeeteranga ekkooti yange gye naleka e Turoowa ewa Karipo. Ondeeteranga n'ebitabo, naddala ebyo eby'amaliba.
14
Alekizanda omuweesi w'ebikomo yankola bubi nnyo. Mukama alimusasula olw'ebyo bye yakola.
15
Naawe mwekuume, kubanga yawakanya nnyo ebigambo byaffe.
16
Mu kuwoza kwange okwasooka, tewali n'omu yannyamba, bonna banjabulira. Nsaba Katonda, ekyo kireme kubavunaanibwa.
17
Naye Mukama yabeera nange, n'ampa amaanyi, ne nsobola okutegeereza ddala ab'amawanga amalala bonna ekigambo kya Katonda, ne bakiwulira, bw'atyo n'anzigya mu kamwa k'empologoma.
18
Era Mukama anamponyanga mu buli kabi, era alintuusa mirembe mu Bwakabaka bwe obw'omu ggulu. Mukama oyo aweebwenga ekitiibwa emirembe n'emirembe. Amiina.
19
Lamusa Priska ne Akwila, n'ab'omu maka ga Onesiforo.
20
Erasto yasigala mu Korinto, ate Turofimo namuleka mu Mileeto nga mulwadde.
21
Fuba nnyo ojje ng'ekiseera eky'obutiti tekinnatuuka. Ewubulo ne Pudente ne Liino ne Kulawudiyo, awamu n'abooluganda bonna bakulamusizza.
22
Mukama abeere naawe, era akukwatirwe ekisa.
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
All chapters:
1
2
3
4