bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Habakkuk 1
Habakkuk 1
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 2 →
1
Buno bwe bubaka omulanzi Habakuuku bwe yafuna mu kulabikirwa.
2
Ayi Mukama, ndituusa wa okukuyita nga towulira? Nkukaabirira nti: “Tulokole otuwonye obukambwe bw'abantu!” Wabula ggwe n'osirika!
3
Ondekera ki okulaba ebitali bya bwenkanya, n'otunula obutunuzi ng'ebikyamu bikolebwa? Kubanga obunyazi n'obukambwe bye ndaba buli we ntunula.
4
Amateeka kyegavudde gaddirira, ne wataba kugoba nsonga, kubanga ababi be bakajjala kati ku batuukirivu! Kwe kulaba n'amazima nga ddala gasuuliddwa!
5
Mukama n'agamba abantu be nti: “Mutunuleeko mu mawanga mulabe, muneewuunya ne musamaalirira! Kubanga mu mirembe gyammwe gino nja kubaako kye nkolawo, kye mutayinza kukkiriza singa bababuulidde.
6
Kale mulabe, nkulaakulanya Abakaludaaya, abantu abakambwe abo abatatuula kukkalira: abagenda batalaaga ensi okunyaga ebintu by'abalala.
7
Baakitiibwa ba ntiisa, beemala era beeramula!
8
“Embalaasi zaabwe zidduka okusinga engo! Mu bukambwe zikirako emisege egy'akawungeezi. Abeebagazi baazo abeeyagazi bakka ng'empungu eyanguyira ky'eneerya!
9
Bonna kye bajjirira, kukola bya bukambwe. We baba basembedde buli muntu ajjula entiisa! Abanyage be bakuŋŋaanya, bayitirira obungi ng'obuweke bw'omusenyu!
10
Banyooma bakabaka, ne basekerera abakungu. Tewali kigo kye batya: bakitindirako ettaka olwo ne bakiwamba!
11
Ne bafuumuuka ng'embuyaga ne babulawo! Bantu boonoonyi, amaanyi gaabwe ye Lubaale waabwe!”
12
Ayi Mukama Katonda wange, eyabeerawo okuva edda n'edda, oli mutuukirivu, era wa mirembe na mirembe. Ayi Mukama Katonda wange, walonda Abakaludaaya n'obafuula ba maanyi, balyoke batubonereze.
13
Oli mutuukirivu nnyo atasaanye kutunuulira bibi, era atayinza kugumiikiriza bakola bikyamu. Kale lwaki osirika ng'ababi bamalawo abo ababasinga okuba abatuukirivu?
14
Abantu obayisa nga byannyanja oba ng'ebyewalula, ebitalina abirabirira?
15
Abakaludaaya abo bakwata abantu, nga bakozesa obutimba n'amalobo, ng'abakwata ebyennyanja. Babawalulira mu butimba, ne basanyuka nga bajaguza olw'abo be bakwasizza!
16
Kyebava bawaayo ebitambiro eri obutimba bwabwe obwo, ne babwotereza obubaane, kubanga bubawa omugabo ogusinga obusava, ne balya bye beeroboza.
17
Banaakozesanga ebissi byabwe bazikirize amawanga olutata awatali kusaasira?
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 2 →
All chapters:
1
2
3