bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Habakkuk 3
Habakkuk 3
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
1
Kuno kwe kusaba kw'omulanzi Habakuuku mu ddoboozi ng'ery'okukungubaga.
2
Ayi Mukama, mpulidde ky'okoze ne ntya. Kaakati ddamu okukola ebyo bye wakolanga edda. Saasira ne bw'osunguwala!
3
Katonda omutuukirivu ajja ng'ava mu Temani ne ku Lusozi Parani. Ekitiibwa kye kibikka eggulu, n'ensi yonna emutendereza.
4
Ekitiibwa kye kiri ng'enjuba evaayo. Omukono gwe omukwekeddwa obuyinza bwe, gumyamyansa.
5
Atuma Kawumpuli okumukulemberamu, alagira Walumbe okumuvaako emabega.
6
Bw'asibamu, n'akankanya ensi. Bw'atunula, amawanga gayuuguuma, ensozi ez'olubeerera ne ziggweerera, obusozi obutaggwaawo ne bubulira wansi. Ekkubo lye ne liba nga bwe lyali edda.
7
Nalaba ab'e Kusani nga batidde, n'ab'e Midiyaani nga bakankana!
8
Ayi Mukama, okwebagala ku mbalaasi zo, ku magaali go ggwe omuwanguzi wasunguwalira migga? Oba wanyiigira nnyanja?
9
Wasowolayo omutego gwo n'oguteekako obusaale okulasa. Ensi wagyasaamu n'ekulukuta emigga.
10
Ensozi zaakulaba ne zitya! Mukoka ow'amaanyi yakulugguka n'ayitawo. Ennyanja yayira, n'esitula amayengo gaayo.
11
Enjuba n'omwezi tebyavaayo olw'okutangaala kw'obusaale bwo obuyita, n'okwakaayakana kw'effumu lyo erimasamasa.
12
Watambula n'oyita mu nsi ng'oliko ekiruyi, n'olinnyirira amawanga ng'osunguwadde.
13
Weesowolayo okulokola abantu bo, okulokola oyo omusiige wo. Wabetenta omukulembeze w'ababi, n'ozikiriza b'atwala.
14
Wakozesa obusaale bwo n'ofumita omuduumizi w'eggye lye, eryajja ng'embuyaga y'akazimu okutusaanyaawo nga lisanyuka, ng'erigenda okutigomya abaavu, abatalina bwogerero.
15
Walinnyirira ennyanja n'embalaasi zo, amayengo ag'amaanyi ne gabimba ejjovu.
16
Nawulira ebyo byonna ne nkankana, emimwa ne ginjugumira olw'okutya, amagumba gange ne galemala. Ne nkankanira we nnyimiridde! Ndisirika ne nnindirira olunaku Katonda lw'alibonereza abatulumba.
17
Emitiini ne bwe gitamulisa, n'emizabbibu ne gitabala, emizayiti ne bwe gifa, emmere mu nnimiro n'etekula, embuzi ne bwe ziggwa mu kisibo, n'ente ne zitaba mu biraalo
18
naye era ndisanyuka ne njaguza kubanga Mukama, Katonda, ye Mulokozi wange.
19
Mukama, Katonda ye ampa amaanyi. Bwe ntambula ku nsozi, ye anyweza ebigere byange ng'eby'empeewo. Ebyo bya mukulu w'abayimbi, ebigendera ku bivuga byange eby'enkoba.
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
All chapters:
1
2
3