bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Habakkuk 2
Habakkuk 2
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 3 →
1
Nja kulinnya waggulu ku munaala we nkuumira, nninde okumanya Mukama by'anampa okwogera, ne by'ananziramu ku kwemulugunya kwange.
2
Awo Mukama n'anziramu nti: “Bye nkulaga biwandiike obyole bulungi ku bipande, bibe byangu okusoma.
3
Bikuume mu buwandiike, kubanga bikyalinda ekiseera kyabyo kituuke. Naye ekiseera tekirirwa, bye nkulaga bituukirire. Ne bwe kirabika nti kirwawo kirindirire, tekirirema kujja, era kiryanguwako.
4
Buno bwe bubaka nti: ‘Omwonoonyi talirama. Naye omutuukirivu aliba mulamu lwa kukkiriza kw'alina.’ ”
5
Ng'omwenge bwe gulimbalimba abagunywa, n'abeekulumbaza bwe batyo bwe baba: tebamatira era tebatereera. Omululu gwe balina mugazi nga magombe! Bali nga Walumbe: nabo tebakkuta. Kyebava bawangula buli ggwanga, bafugenga abantu bonna.
6
Abo bonna abawanguddwa bakudaalira abawangudde nga babayeeyereza nti: “Tezibasanze mmwe abeetuumako eby'abandi? Kale mulituusa wa okugenda nga mwebinika emisango gy'abalemwa okusasula amabanja?”
7
Mmwe abawangudde, nammwe temuligwa ku bbanja ne musibibwa abababanja? Mulirumbibwa abalabe nga temumanyiridde, babakankanye nammwe, babanyage n'ebyammwe.
8
Nga bwe mwanyaga abantu ab'amawanga amangi, abo abasigaddewo balibanyaga nammwe olw'okutemula abantu n'okukambuwalira ensi awamu era n'ebibuga, n'ababibeeramu bonna.
9
Zibasanze mmwe abagaggawaza amaka gammwe nga munyaga eby'abalala, ne mwezimbira amayumba mu bifo ebinywezeddwa, nga tetuukibwayo babi.
10
Wabula bye mwateesa biswaza maka gammwe. Mu kusaanyaawo abantu ab'amawanga amangi, mweretedde okuzikirira.
11
N'amayinja gennyini mu bisenge galeekaana okubanenya mmwe, n'emiti egy'akasolya gigaanukula.
12
Zibasanze mmwe abazimbira ekibuga ku kutemula abantu, ne mukinywezaawo nga muzza misango!
13
Mukama, Nnannyinimagye ye yakkiriza ab'amawanga ge muwangudde bateganire bwereere, ebizimbe byabwe nabyo babizimbire muliro.
14
Naye abali ku nsi balijjula okumanya ekitiibwa kya Mukama, ng'ennyanja bw'ejjula amazzi.
15
Zibasanze mmwe, kubanga mwasunguwala ne muswaza bannammwe, nga mubaleetera okutagatta ng'abatamiivu b'omwenge.
16
Nammwe muliswazibwa mu kifo ky'okuweebwa ekitiibwa. Mulinywa omwenge ne mutagatta: Mukama alibanywesa ekikopo eky'obusungu bwe ababonereze, mu kifo ky'ekitiibwa, muswale.
17
Eby'obukambwe bye mwakola mu Lebanooni, ka bibaddire mmwe kati. Nga bwe mwazikiriza ebisolo, mulitiisibwa ebisolo. Mulituukibwako ebyo olw'okutemula abantu n'okukambuwalira ensi awamu era n'ebibuga, n'ababibeeramu bonna.
18
Ekifaananyi kigasa ki? Kintu buntu ekikolebwa omuntu. Tekiyigiriza mazima wabula obulimba. Eyakikola afunamu ki okwesiga ekitayogera?
19
Zibasanze mmwe abagamba ekitittiriri nti: “Zuukuka!” Oba ejjinja nti: “Golokoka!” Kino kinaababuulira ki? Lwa kubikkibwako ffeeza ne zaabu, naye tekirina bulamu.
20
Naye Mukama ali mu Ssinzizo lye ettukuvu. Abantu bonna ku nsi basirike mu maaso ge.
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 3 →
All chapters:
1
2
3