bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Joel 1
Joel 1
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 2 →
1
Buno bwe bubaka Mukama bwe yawa Yoweeli, mutabani wa Petweli.
2
Muwulire kino mmwe abakadde, mutege amatu mmwe mwenna abatuuze b'omu Buyudaaya. Kino kyali kibaddewo mu mirembe gyammwe? Oba mu mirembe gya bajjajjammwe?
3
Mubuulireko abaana bammwe, bo bakibuulireko be bazaala nabo bakibuulireko ab'omulembe oguddirira.
4
Ebibinja n'ebibinja by'enzige bizinze ebirime. Ebirekeddwawo ekibinja ekimu, ekibinja ekirala kibiwemmense.
5
Mmwe abatamiivu, muzuukuke, mukaabe amaziga. Mmwe abanywi b'omwenge, mukungubage, kubanga emizabbibu omukolebwa omwenge ogubawoomera, gizikiriziddwa!
6
Eggye ly'enzige lizinze ensi yange. Za maanyi era nnyingi nnyo tezibalika. Amannyo gaazo masongovu, era moogi ng'ag'empologoma.
7
Zizikirizza emizabbibu gyange, zigisasambuddeko ebikuta, amatabi gaagyo gafuuse meeru.
8
Mukungubage ng'omuwala eyeesibye ekikutiya, okukungubagira omusajja gw'abadde agenda okufumbirwa.
9
Bakabona abaweereza ba Mukama bakungubaga, kubanga tewakyali mmere ya mpeke era n'ebyokunywa, ebiweebwayo mu Ssinzizo lya Mukama!
10
Ennimiro zizise, ensi ewuubadde, kubanga eŋŋaano ezikiriziddwa, emizabbibu gikaze, n'emiti emizayiti giwotose.
11
Mmwe abalimi munakuwale, mmwe abalabirira emizabbibu, mukungubage. Kubanga eŋŋaano ne bbaale, n'ebirala byonna ebikungulwa bizikiridde.
12
Emizabbibu giwotose, emitiini giyongobedde, omukomamawanga n'olukindu n'emiti emirala gyonna egy'ebibala, gikaze.
13
Mmwe bakabona, mwesibe ebikutiya mukungubage. Mmwe abaweereza ku alutaari, mukube ebiwoobe. Mmwe abaweereza ba Katonda wange, muyingire mu Ssinzizo, musule nga mwambadde ebikutiya, kubanga emmere ey'empeke era n'ebyokunywa, ebiweebwayo mu Ssinzizo lya Katonda wammwe, tebikyaleetebwa.
14
Mulangirire okusiiba, muyite olukuŋŋaana. Mukuŋŋaanye abakulembeze n'abantu bonna ab'omu Buyudaaya. Bajje mu Ssinzizo lya Mukama, Katonda wammwe, mumukaabirire.
15
Olunaku lwa Mukama lunaatera okutuuka. Lwe lunaku lwa Mukama, Omuyinzawaabyonna, lw'alireeterako okuzikirira! Olunaku olwo nga lwa ntiisa!
16
Ebirime byaffe bizikiriziddwa nga ffe tutunula. Essanyu n'okujaguza biweddewo mu Ssinzizo lya Katonda waffe.
17
Ensigo zifiira mu ttaka ekkalu. Amawanika galekeddwawo, amaterekero goonoonese, kubanga tewakyali mmere ya mpeke eterekebwa.
18
Ensolo zisinda, ente zisobeddwa, kubanga tezikyalina muddo. N'amagana g'endiga nago gabonaabona.
19
Ayi Mukama, nkukaabirira ggwe, kubanga omuddo ogw'omu ttale n'emiti egy'omu nnimiro bikaze, biri ng'ebyokeddwa omuliro.
20
N'ensolo ez'omu ttale zikukaabirira, kubanga emigga gikalidde amazzi, n'omuliro gwokezza omuddo ogw'omu ttale.
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 2 →
All chapters:
1
2
3