bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Joel 3
Joel 3
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
1
Mukama agamba nti: “Mu nnaku ezo, era mu kiseera ekyo, ndizzaawo emikisa gya Buyudaaya ne Yerusaalemu.
2
Ndikuŋŋaanya ab'amawanga gonna, ne mbaserengesa mu kiwonvu kya Yehosafaati, era nga bali eyo, ndibasalira omusango olwa byonna bye baakola abantu bange Abayisirayeli, kubanga baabasaasaanya mu mawanga, ne bagabana Yisirayeli ensi yange.
3
Baakubira abantu bange akalulu okubagabana. Baatunda abalenzi okusasulira abakazi bamalaaya, ne batunda abawala okugula omwenge, era ne bagunywa.
4
“Mwagala kunkola ki mmwe Tiiro ne Sidoni, n'ebitundu byonna ebya Filistiya? Mulina kye mwagala okunneesasuza? Bwe muba mwagala okunneesasuza, nange ndyanguwa mangu okubeesasuza,
5
kubanga mututte ffeeza wange ne zaabu wange, era mututte mu masabo gammwe ebintu byange ebirungi era eby'omuwendo.
6
Abantu b'omu Buyudaaya n'ab'omu Yerusaalemu mwabaggya mu nsi yaabwe, ne mubatwala ewala, ne mubatunda mu Bayonaani.
7
Naye kaakano nja kubakumamu omuliro, baveeyo gye mwabatunda, nammwe ndyoke mbakole ekyo kye mwabakola.
8
Nja kuleka batabani bammwe ne bawala bammwe batundibwe mu bantu b'omu Buyudaaya, era nabo babatunde mu bantu b'e Seeba, eggwanga eriri ewala. Nze Mukama, Nze njogedde.
9
“Mulangirire kino mu mawanga, mutegeke olutalo. Muyite abasajja ab'amaanyi, abaserikale bonna beesowoleyo bajje.
10
Enkumbi zammwe muziweeseemu ebitala, n'ebiwabyo byammwe mubiweeseemu amafumu. N'omunafu agambe nti ‘Nja kulwana.’
11
Mwanguwe mujje mmwe, ab'amawanga gonna ageetooloddewo, mukuŋŋaanire eyo mu kiwonvu.” Serengesa eyo, ayi Mukama, abasajja bo ab'amaanyi.
12
“Ab'amawanga gonna basituke baserengete mu kiwonvu kya Yehosafaati, kubanga eyo gye ndituula okusala omusango gw'amawanga gonna ageetooloddewo.
13
Boonoonye nnyo! Mubasale n'ebiwabyo ng'eŋŋaano etuuse okukungulwa, mubasogole ng'emizabbibu egijjudde mu ssogolero ne libooga.”
14
Abantu enkumi n'enkumi bali mu kiwonvu eky'okusalirwamu omusango, kubanga eyo olunaku lwa Mukama lunaatera okutuuka.
15
Enjuba n'omwezi biriko ekizikiza, n'emmunyeenye zireseeyo okwaka.
16
Mukama awulugumira mu Siyooni, eddoboozi lye libwatukira mu Yerusaalemu, eggulu n'ensi ne bikankana. Naye Mukama ye aliba ekiddukiro ky'abantu be, ekigo ekitaasa Abayisirayeli.
17
“Kale olwo mulimanya nga Nze Mukama, Katonda wammwe, abeera mu Siyooni, olusozi lwange olutukuvu. Yerusaalemu kiriba kibuga kitukuvu, tewaliba bagwira bakiwangula nate.
18
“Mu nnaku ezo, ennimiro z'emizabbibu ziribikka ensozi, n'ente ez'amata ziriba ku buli kasozi. Amazzi galijjula mu bugga bwonna obw'omu Buyudaaya. N'ensulo y'amazzi erikulukuta okuva mu Ssinzizo lya Mukama, n'efukirira ekiwonvu Sittimu.
19
“Misiri erifuuka matongo, ne Edomu erifuuka ddungu, kubanga abantu b'omu nsi ezo baalumba Buyudaaya, ne batta abantu baamu abatalina musango.
20
Naye Buyudaaya ne Yerusaalemu binaabeerangamu abantu ennaku zonna.
21
Ndiwoolera eggwanga olw'abo abattibwa, siritaliza bazzizza musango, kubanga nze Mukama, nja kubeeranga ku Siyooni.”
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
All chapters:
1
2
3