bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Joel 2
Joel 2
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 3 →
1
Mufuuwe eŋŋombe mu Siyooni, mukube enduulu ku lusozi lwange olutukuvu. Abatuuze b'omu Buyudaaya bonna bakankane, kubanga olunaku lwa Mukama lujja, lunaatera okutuuka.
2
Luliba lunaku lwa kifu n'ekikome, era lwa bire n'ekizikiza ekikutte. Eggye eddene ery'enzige lijja, nga liri ng'ekizikiza ekibikka ensozi. Tewabangawo zizenkana bungi, era teziribaawo nate emirembe gyonna.
3
We zirya ebimera waba ng'omuliro we gwokezza. Mu maaso gye ziraga, ensi eri ng'Ennimiro ya Edeni. Naye emabega gye ziva, lye ddungu ejjereere. Tezirina kye zitaliza.
4
Zifaanana ng'embalaasi, zidduka ng'embalaasi ez'omu lutalo.
5
Zibuukira ku ntikko z'ensozi, nga ziwuuma ng'amagaali. Zitulika ng'ekisambu ekyokebwa omuliro. Zisimbye ennyiriri ng'eggye ery'amaanyi eryetegese okulwana.
6
Abantu bakwatibwa entiisa nga zisembera. Amaaso ga buli omu gafuuka ebbala.
7
Zirumba ng'abalwanyi, zirinnya ebigo ng'abaserikale. Zitambulira mu kkubo lyazo, tewali n'emu eva ku mugendo.
8
Tewali eziyiza ginnaayo kugenda, buli emu etambulira mu kkubo lyayo. Ziwaguza awali abakuumi ne watabaawo aziziyiza.
9
Zifubutuka ne zizinda ekibuga. Ziwalampa ebibuga ne zirinnya, ne zituuka ku nnyumba ne ziyingirira mu madirisa ng'ababbi.
10
Ensi ekankana nga zisembera, eggulu lujugumira. Enjuba n'omwezi bibaako ekizikiza, n'emmunyeenye zirekayo okwaka.
11
Mukama aduumira eggye lye. Ebibinja ebimuwulira bingi nnyo era bya maanyi. Olunaku lwa Mukama lukulu, era lwa ntiisa nnyo! Ani ayinza okulugumira?
12
Mukama agamba nti: “Naye ne kaakano, mwenenyereze ddala, mudde gye ndi nga musiiba, nga mukaaba amaziga.
13
Emitima gyammwe egimenyese gye giba giraga bwe muboneredde. Okuyuza ebyambalo byammwe tekumala.” Mudde eri Mukama, Katonda wammwe, kubanga wa kisa era ajjudde okusaasira. Alwawo okusunguwala, akwatirwa nnyo ekisa, era addiramu aboonoonyi.
14
Oboolyawo Mukama, Katonda wammwe, anaakyusa ekirowoozo kye n'abaddiramu, n'aleka ng'abawadde omukisa, ne mubaza ebibala, ne musobola okumutonera ebirabo eby'emmere ey'empeke n'ebyokunywa.
15
Mufuuyire eŋŋombe mu Siyooni, mulangirire okusiiba, era muyite olukuŋŋaana.
16
Mukuŋŋaanye abantu mulangirire olukuŋŋaana olutukuvu. Mukuŋŋaanye abakadde, muleete abaana abato, n'abawere abayonka. N'abagole abaakafumbiriganwa, bave mu bisenge byabwe bajje.
17
Bakabona abaweereza Mukama bakaabe amaziga nga bali wakati w'omulyango gw'Essinzizo ne alutaari bagambe nti: “Saasira abantu bo, ayi Mukama! Totuleka kunyoomebwa na kusekererwa ba mawanga malala nga bagamba nti: ‘Katonda wammwe ali ludda wa?’ ”
18
Awo Mukama n'alumirwa ensi ye, era n'asaasira abantu be.
19
N'addamu abantu be n'agamba nti: “Kaakano nja kubawa eŋŋaano n'omwenge ogw'emizabbibu, n'omuzigo ogw'emizayiti, ebijja okubakkusa. Era sikyabaleka kunyoomebwa ba mawanga abalala.
20
Nja kubaggyako eggye ery'enzige eryava mu bukiikakkono. Ezimu nja kuzigobera mu ddungu: ebibinja ebikulembeddemu mbigobere mu Nnyanja Enfu. N'ebibinja ebisembayo emabega mbigobere mu Nnyanja Eyaawakati. Emirambo gyazo gijja kuwunya ekivundu. Nja kuzisaanyaawo olwa byonna bye zikoze.
21
“Totya ggwe ensi, sanyuka era ojaguze olw'ebikulu Mukama by'akoze.
22
“Temutya mmwe ensolo ez'omu ttale, kubanga omuddo ogw'omu ttale gumeze, emiti gibaze ebibala, emitiini n'emizayiti gibaze ebibala bingi.
23
Musanyuke mmwe abantu ba Siyooni, mujaguze olw'ebyo Mukama, Katonda wammwe by'abakoledde, kubanga abawa enkuba esooka mu kipimo ekituufu. Abatonnyeseza enkuba nnyingi: esooka n'eyo ejja oluvannyuma, nga bwe yagibatonnyesezanga edda.
24
Amawuuliro galijjula eŋŋaano, n'amasogolero galibooga omwenge ogw'emizabbibu n'omuzigo ogw'emizayiti.
25
Ndibaddizaawo bye mwafiirwa ebyaliibwa ebibinja by'enzige ez'eggye eddene, lye nasindika okubalumba.
26
Kale munaafunanga ebyokulya bingi, munaalyanga ne mukkuta, ne mutendereza Mukama, Katonda wammwe, abakoledde ebyewuunyisa. Abantu bange tebaliddayo kunyoomebwa.
27
Olwo mmwe Abayisirayeli lwe mulimanya nga ndi wakati mu mmwe, era nga nze Mukama, Katonda wammwe, era tewali mulala. Abantu bange tebaliddayo kunyoomebwa.
28
“Oluvannyuma, ndigabira bonna mwoyo wange. Batabani bammwe ne bawala bammwe baliranga ebirijja. N'abakadde mu mmwe baliroota ebirooto. Abavubuka bammwe balirabikirwa.
29
Era mu nnaku ezo, abaddu n'abazaana ndibagabira mwoyo wange.
30
“Ndiraga ebyamagero ku ggulu ne ku nsi. Walibaawo omusaayi n'omuliro, n'empagi ez'omukka.
31
Enjuba erifuuka ekizikiza, n'omwezi gulimyuka ng'omusaayi. Ebyo bye birikulembera olunaku lwa Mukama olukulu era olw'entiisa.
32
Era buli alikoowoola Mukama alirokolebwa, kubanga ku Lusozi Siyooni ne mu Yerusaalemu, walibaawo abaliwona nga Mukama bwe yagamba. Era mu baliwonawo, walibaawo Mukama b'ayita.”
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 3 →
All chapters:
1
2
3