bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Malachi 1
Malachi 1
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 2 →
1
Buno bwe bubaka Mukama bwe yawa Malaki okutegeeza Abayisirayeli.
2
Mukama agamba abantu be nti: “Nabaagala. Naye ne mugamba nti: ‘Watwagala otya?’ Esawu ne Yakobo baali baaluganda. Naye nayagala Yakobo, Amo 1:11-12; Ob 1-14
3
ne nkyawa Esawu. Ensozi za Esawu nazifuula matongo, ensi ye ne ngiwa ebibe eby'omu ddungu.”
4
Singa bazzukulu ba Edomu bagamba nti: “Ebibuga byaffe bizikiriziddwa, naye tujja kubizimba buggya,” Mukama Nnannyinimagye ajja kugamba nti: “Ka bazimbe, naye nja kubimenyawo. Banaayitibwanga ‘Eggwanga erikola ebibi’, era ‘Abantu Mukama b'asunguwalira ennaku zonna.’ ”
5
Abayisirayeli baliraba kino, ne bagamba nti: “Mukama mukulu n'ebweru w'ensi ya Yisirayeli.”
6
Mukama Nnannyinimagye agamba bakabona nti: “Omwana assaamu kitaawe ekitiibwa, n'omuweereza assaamu mukama we ekitiibwa. Kale oba nga ndi kitammwe, lwaki temunzisaamu kitiibwa? Era oba nga ndi mukama wammwe, lwaki temuntya? Munnyooma, naye ne mubuuza nti: ‘Tukunyoomye tutya?’
7
Munnyoomye, kubanga muwaddeyo ku alutaari yange emigaati egyonoonese. Era mubuuza nti: ‘Tugyonoonye tutya?’ Mugyonoonye, kubanga mugamba nti: ‘Emmeeza ya Mukama si ya kitiibwa.’
8
Bwe muleeta ensolo ezizibye amaaso, oba ennema, oba endwadde okuzintambirira, mulowooza nti ekyo si kikyamu? Kale ensolo ng'ezo muzitonere abafuzi bammwe. Banaabasanyukira? Banaabasiima?”
9
Kaakano mmwe bakabona, musabe Katonda atukwatirwe ekisa, kubanga mmwe mwavaako omutawaana. Waliwo ku mmwe gw'anaasiima?
10
Mukama Nnannyinimagye agamba nti: “Singa nno omu ku mmwe aggalawo enzigi z'Essinzizo, ne mutakumira bwereere muliro ku alutaari yange! Sibasanyukira n'akatono, era sikkiriza birabo bye muntonera.
11
Okuva ebuvanjuba okutuuka ebugwanjuba, abantu banzisaamu ekitiibwa. Wonna wonna bannyookereza obubaane, era bampa ebitambiro ebirongoofu. Bonna banzisaamu ekitiibwa.
12
Naye mmwe munnyooma, bwe mugamba nti: ‘Emmeeza ya Mukama eyonoonese, n'emmere yaakwo si ya kitiibwa.’
13
Mugamba nti: ‘Ebyo byonna tubikooye!’ Era ne mwesooza! Ensolo gye mwanyaga, oba ennema, oba endwadde, gye muleeta okuntonera. Mulowooza nti eyo nnyinza okugikkiriza?
14
Oyo omukumpanya, eyeeyama okumpa ennume ye ennungi gy'alina mu kisibo kye, ate n'antambirira ennema, akolimirwe, kubanga nze ndi Kabaka mukulu, era abantu ab'omu mawanga gonna bantya.”
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 2 →
All chapters:
1
2
3
4