bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Malachi 3
Malachi 3
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 4 →
1
Mukama Nnannyinimagye n'agamba nti: “Nja kutuma omubaka wange okunjerulira ekkubo, era Mukama gwe munoonya, alijja mu Ssinzizo lye nga tebamanyiridde. N'omubaka gwe mulindirira, alijja n'alangirira endagaano yange.”
2
Naye ani aliyinza okugumira olunaku lw'alijjirako? Era bw'alirabika, ani aliguma okuyimirira? Kubanga ali ng'omuliro ogutukuza ebyuma, era nga sabbuuni gwe boozesa.
3
Alituula okusala omusango, ng'ali ng'oyo alongoosa ffeeza n'amutukuza. Alitukuza bazzukulu ba Leevi, balyoke bawengayo eri Mukama ebirabo ebituufu.
4
Olwo abantu b'omu Buyudaaya n'ab'omu Yerusaalemu, ebirabo bye bawaayo eri Mukama birimusanyusa, nga bwe gwali edda.
5
Mukama Nnannyinimagye agamba nti: “Ndijja mu mmwe ne nsala omusango. Era amangwago ndirumiriza abalogo n'abenzi, n'abalayira eby'obulimba, n'abalyazaamaanya empeera y'abakozi, n'ababonyaabonya bannamwandu ne bamulekwa, n'abanyaga eby'abagwira, era ndirumiriza n'abo bonna abatanzisaamu kitiibwa.
6
“Nze Mukama, sikyukakyuka, era mmwe bazzukulu ba Yakobo kyemuva mulema okumalibwawo.
7
Mmwe, nga bajjajjammwe, muvudde ku biragiro byange, ne mutabikwata. Mudde gye ndi, nange nja kudda gye muli. Naye mwebuuza nti: ‘Tukole ki okudda gy'oli?’
8
Si kituufu omuntu okunyaga ebya Katonda. Naye mmwe munnyagako ebyange, ate ne mubuuza nti: ‘Tubikunyagako tutya?’ Mubinnyagirako mu bitundu eby'ekkumi ne mu birabo bye muntonera.
9
Muvumiriddwa, kubanga mmwe eggwanga eddamba munyaga ebyange.
10
Muleete ebitundu eby'ekkumi ebijjuvu mu ggwanika ly'Essinzizo lyange, libeeremu emmere nnyingi. Mungeze mulabe oba nga siribaggulirawo ggulu, ne mbayiwako emikisa mingi nnyo.
11
Sirireka biwuka kuzikiriza birime byammwe. N'emizabbibu mu nnimiro zammwe tegirirema kubala.
12
Olwo abantu ab'omu mawanga gonna balibayita mmwe ba mukisa, kubanga ensi yammwe eriba nnungi okubeeramu.”
13
Mukama agamba nti: “Munjogeddeko ebitali birungi. Naye mugamba nti: ‘Tukwogeddeko ki?’
14
Mwagamba nti: ‘Okuweereza Katonda tekigasa. Kigasa ki okukola by'alagira, oba okulaga Mukama Nnannyinimagye nti tunakuwadde?
15
Era kaakano abo abeekulumbaza be tuyita ab'omukisa. Aboonoonyi tebakoma ku kya ku beera bulungi kyokka, naye era bakema Katonda ne batabonerezebwa.’ ”
16
Awo abantu abatya Mukama banyumiza wamu, Mukama n'awuliriza, n'awulira bye boogera. Mu maaso ge ne wabaawo ekitabo ekyawandiikibwa okujjukirirako abo abamutya, era abamussaamu ekitiibwa.
17
Mukama Nnannyinimagye agamba nti: “Baliba bantu bange. Ku lunaku lwe ndikolerako, baliba bange ddala. Ndibasaasira ng'omusajja bw'asaasira mutabani we amuweereza.
18
Olwo muliddamu okulaba enjawulo wakati w'omutuukirivu n'omubi, wakati w'oyo ampeereza nze Katonda, n'oyo atampeereza.”
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 4 →
All chapters:
1
2
3
4