bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Malachi 4
Malachi 4
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
1
Mukama Nnannyinimagye agamba nti: “Olunaku lujja, abo bonna abeekulumbaza era n'aboonoonyi lwe balyokebwa ng'ebisasiro. Ku lunaku olwo balyokebwa ne baggweerawo ddala, obutasigalawo wadde akatundu.
2
Naye mmwe abanzisaamu ekitiibwa, obuyinza bwange obulokola bulivaayo, ne bubaakira ng'enjuba erina amaanyi agawonya mu kwaka kwayo. Muliba ba ddembe, ne mubuukabuuka ng'ennyana eziyimbuddwa mu kisibo.
3
Ku lunaku lwe ndikolerako, muliwangula ababi, ne mubalinnyirira wansi w'ebigere byammwe, kubanga baliba bafuuse vvu.
4
“Mujjukire ebyo Musa omuweereza wange bye yabayigiriza: amateeka n'ebiragiro, bye namuweera ku Lusozi Horebu, abituuse ku Bayisirayeli bonna.
5
“Olunaku lwa Mukama olukulu era olw'entiisa nga terunnatuuka, ndibatumira Eliya omulanzi.
6
Alitabaganya bakitaabwe b'abaana n'abaana baabwe, nneme okujja okuzikiriza ensi yammwe.”
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
All chapters:
1
2
3
4