bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Nahum 1
Nahum 1
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 2 →
1
Buno bwe bubaka obufa ku Nineeve, kye kitabo omuli okulabikirwa kwa Nahumu ow'e Elukoosi.
2
Mukama Katonda takkiriza kuvuganyizibwa. Mukama awoolera eggwanga, era wa busungu nnyo. Abonereza abo abamukyawa, era asibira abalabe be ekiruyi.
3
Mukama alwawo okusunguwala, era alina obuyinza bungi. Buli azzizza omusango tamuleka: amubonereza. Ekkubo mw'atambulira, liri mu kikuŋŋunta ne mu kibuyaga, era ebire ye nfuufu ebigere bye gye bisitula.
4
Alagira ennyanja n'ekalira, era emigga gyonna agikaza. Ettale ly'e Basani n'ery'oku Lusozi Karumeeli libabuse. Ebimuli by'oku Lebanooni biwotose.
5
Ensozi zikankanira w'ali, obusozi ne busaanuuka. Ettaka likka bw'alabika. Ensi yonna yeekaaka, n'abagiriko ne batekemuka.
6
Bw'asunguwala, ani ayinza okubeerawo? Ani ayinza okugumira obusungu bwe obuswakidde? Bwe bubuubuuka ng'omuliro, enjazi zaatikira w'ali.
7
Mukama mulungi: akuuma abantu be mu biseera ebizibu. Alabirira abamwesiga.
8
Abamukyawa alibasaanyizaawo ddala n'omujjuzo gw'amazzi, era abalabe be alibasindika emagombe.
9
Kiki kye muteesa okukola ku Mukama? Ajja kubasaanyaawo! Tewali amwesimbamu mulundi mulala!
10
Wadde bali ng'amaggwa agakwataganye, era ng'abanywi b'omwenge abatamidde, alibookya n'abasaanyaawo ng'ebisambu ebikaze.
11
Mu ggwe Nineeve, mwavaamu alina endowooza embi, ateesa okukola akabi ku Mukama.
12
Kino Mukama ky'agamba abantu be Abayisirayeli nti: “Wadde Abassiriya bangi era nga ba maanyi, banaazikirira baggweewo. Newaakubadde nababonyaabonya mmwe, naye sikyababonyaabonya nate.
13
Kaakano nja kumenya ekikoligo kya Assiriya ekibanyigiriza, era nkutule enjegere ze ezibasibye.”
14
Kino Mukama ky'alagidde ekifa ku mmwe Abassiriya: “Temulifuna bazzukulu balituumibwa mannya gammwe. Ndizikiriza ebifaananyi ebyole era n'ebisaanuuse ebiri mu masabo ga balubaale bammwe. Ndibasimira entaana kuba temusaanira kuba balamu.”
15
Mulabe omubaka ali ku nsozi ajja, aleeta amawulire amalungi, era alangirira emirembe! Mmwe abantu b'omu Buyudaaya, mukuume ennaku zammwe enkulu. Bye mweyama mubituukirize, kubanga ababi tebakyaddamu kubalumba mmwe. Bazikiririziddwa ddala.
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 2 →
All chapters:
1
2
3