bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Nahum 3
Nahum 3
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
1
Zikisanze ekibuga ekitemu, ekijjudde obulimba, era ekikubyeko ebinyage! Obunyazi bwakyo tebukoma!
2
Wulira enkoba ezivuga, ezikuba embalaasi ze bagoba, nga zigenda ziguluba! Wulira nnamuziga ezeewagala, n'amagaali agakubagana!
3
Abeebagadde embalaasi bataze okulwana ng'ebitala bimasamasa, nga n'amafumu gamyansa! Abafudde be bangi, emirambo butabala, giri mu ntuumu na ntuumu, abadduka kwe beekoona!
4
Ebyo byonna byasibuka ku bwenzi bwa Nineeve malaaya asikiriza ennyo, eyaloga emitima gy'abantu, n'afuga amawanga olw'obwenzi bwe.
5
Mukama Nnannyinimagye agamba nti: “Ndikubonereza ggwe Nineeve, ndikwambula osigale bwereere amawanga gakulabe gakusunge.
6
Ndikusuulako ebyenyinyalwa era ne nkunyoomoola. Ndikufuula kyerolerwa eri buli akutunulako.
7
Abakutunulako bonna balikudduka nga bagamba nti: ‘Mazima Nineeve kifuuse matongo! Anaakikaabira anaava wa? Tunaazuula wa akikubagiza?’ ”
8
Nineeve ggwe mulungi okusinga Nowamoni ekibuga ky'e Misiri? Kyali kumpi n'Omugga Kiyira, nga kyetooloddwa amazzi ku njuyi zonna. Kyali kikomeddwa na nnyanja, ng'amazzi kye kigo kyakyo!
9
Amaanyi gaakyo gaakiri mu Etiyopiya ne Misiri. Ab'e Puuti n'ab'e Libiya nabo baakiyambanga.
10
Wabula era kyanyagibwa: abantu baamu ne bawaŋŋangusibwa. Abaana baamu abato ne batirimbulwa mu buli masaŋŋanzira gaakyo. Abeekitiibwa mu kyo n'abakulembeze baakyo baasibibwa ku njegere, ne bagabanibwa abalabe nga bakubirwa akalulu!
11
Naawe Nineeve olitaga ng'omutamiivu, oliggwaamu amaanyi. Naawe olinoonya we weewogoma abalabe.
12
Ebigo byo byonna biriba ng'emiti emitiini okuli ebibala ebisooka okwengera. Emiti egyo bwe ginyeenyezebwa, ebibala bikunkumuka, ababyagala ne balya.
13
Laba abaserikale bo bali ng'abakazi: tewali bataasa nsi yo, kugigobako balabe! Omuliro gusaanyaawo emikiikiro gy'enzigi zo.
14
Weekimire amazzi, weetegekere okuzingizibwa. Nyweza ebigo byo. Samba ebbumba obumbe amatoffaali, ogapange mu kyokero.
15
Wabula ne bw'onookola ki, tewali kinaakugasa! Ojja kwokebwa omuliro, bakuttire mu lutalo wenna bakusaanyeewo, ng'ebirime mu nnimiro enzige bye zisaanyaawo. Wazaala nnyo ng'enzige!
16
Wayaza abasuubuzi bo okusinga emmunyeenye mu bungi. Naye kati babuuse ng'enzige ne bagenda.
17
Abakulembeze mu ggwe bali ng'enseenene, n'abaduumira eggye lyo bali ng'ebibinja by'enzige ezeekukuma mu nkomera ng'obudde bunnyogovu. Naye enjuba bw'evaayo zibuuka ne zigenda, tewali amanya lye zikutte.
18
Ggwe Kabaka w'Assiriya, abasumba bo nno bafudde! Abakungu bo bagaŋŋalamye. Abantu bo basaasaanidde mu nsozi, tewaliiwo abakuŋŋaanya!
19
Tewali kinaaweeza ku bulumi bw'owulira, ekiwundu kyo si kya kuwona. Bonna abawulira bw'owanguddwa, bakuba mu ngalo nga basanyuka, kubanga obukambwe bwo obutaaliko kkomo tewali gwe bwataliza.
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
All chapters:
1
2
3