bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Nahum 2
Nahum 2
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 3 →
1
Nineeve, olumbiddwa, anaakumulungula atuuse! Kuuma ekigo kyo, labirira oluguudo! Weesibe wenyweze, funvubira n'amaanyi go gonna!
2
Mukama anaatera okuzzaawo ekitiibwa kya Yakobo: kye kitiibwa ky'Abayisirayeli. Abanyazi bajja ne baaya emizabbibu gyabwe, ne bamenya amatabi gaagyo.
3
Abasajja be abazira bakutte engabo emmyufu: Abalwanyi be bambadde ebyambalo ebitwakaavu. Amagaali gaabwe gaakaayakana ng'omuliro. Embalaasi z'olutalo ziri bulindaala.
4
Amagaali gabunye ekibuga geetawulira mu nguudo. Gaakaayakana ng'emimuli, gatemagana ng'ebimyanso.
5
Abakungu bayitibwa, ne batambula nga bagwa. Abalumbi banguwako okutuuka ku kigo, bategeka okukiggunda.
6
Enzigi ez'oku ludda lw'omugga ziggulibwawo, olubiri ne lujjula entiisa!
7
Nnaabakyala n'anyagibwa, n'atwalibwa nga musibe. Abazaana be bakaaba ng'amayiba, nga bwe beekuba mu bifuba, olw'okunakuwala.
8
Abantu badduka okuva mu Nineeve ng'amazzi agava mu kidiba ekyabise. Bwe babakoowoola nti: “Muyimirire, muyimirire!” Tewali atunula mabega.
9
Munyage ffeeza, munyage zaabu! Ebyobugagga tebiriiko kkomo! Ekibuga kijjudde ebintu: buli kirungi kiri omwo!
10
Nineeve kyabuliddwa, ebyamu binyagiddwa, kisigalidde awo! Tewali alaga buzira, amaviivi gabakubagana; n'ebiwato bibakankana era abantu bonna amaaso gabapeeruuse olw'entiisa!
11
Ekibuga kiri ludda wa ekyali kitiibwa ng'empuku y'empologoma, empologoma ento mwe zaaliiranga, era mwe zaasigalanga awatali azitiisa, ng'empologoma enkulu ensajja n'enkazi zitambudde?
12
Empologoma ensajja buli kye yattanga n'ekitaagula obulere, n'ekireetera ento ezo, era n'enkazi zaayo. N'ejjuza empuku yaayo, ensolo ezitaaguddwa!
13
Mukama Nnannyinimagye agamba nti: “Ndikubonereza ggwe! Ndyokya amagaali go ne ganyooka omukka, era abaserikale bo balittirwa mu lutalo. Nditwala byonna bye wanyaga. Eddoboozi ly'ababaka bo teriiwulirwenga nate.”
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 3 →
All chapters:
1
2
3